TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Waabaddewo okusika omuguwa mu kuziika omubaka wa Iganga

Waabaddewo okusika omuguwa mu kuziika omubaka wa Iganga

By Musasi wa Bukedde

Added 10th July 2017

FAMIRE ya Grace Hailat Kaudha, abadde omubaka omukazi owa disitulikiti ye Iganga etabuse ne bba w’omugenzi ng’entabwe eva ku kifo kye balina okumuziikamu.

Kaudha1703422 703x422

Omugenzi Kaudha

BYA KIZITO MUSOKE NE IVAN WAKIBI

Okuva omubaka lwe yafa ku Lwokutaano ekiro mu ddwaaliro lye Kawempe, wajjawo obutakkaanya ku kifo omugenzi gy’alina okuziikibwa.

Eno y’emu ku nsonga eyayongezesezzaayo okuziika okutuuka ku Ssande, wadde ng’okuziika kwali kusuubirwa ku Lwamukaaga engeri omufu gy’abadde Omusiraamu.

Omulambo olwatuusiddwa mu maka ga Abdul Rahim Toto, bba w’omugenzi era omusuubuzi omututumufu mu kibuga Iganga, aba famire y’omusajja ne batandika okugamba nti bagenda kumuziika mu limbo esangibwa mu Nabidongoa Zooni.

Kyokka aba famire ya Magumba, abazaala omugenzi nabo baakumye olumbe mu Nkono Zooni mu maka gaabwe nga bagamba nti omuntu waabwe balina kumuziika ku biggya bya bajjajjaabe e Magogo mu ggombolola ye Nawaninvi mu disitulikiti y’e Iganga.

Enjuyi zombi zaakedde mu nteeseganya ezaamaze ekiseera, kyokka ng’obwedda famire zonna ziri waazo. Obwedda kye bamala okukkaanyako nga batuma Farouk Nakyoma, mwannyina w’omugenzi n’azzaayo obubaka.

Wabula oluvannyuma aba famire ezaala omubaka Kaudha baawangudde n’aziikibwa ku biggya bya bajjajjaabe e Magogo ate omwana gwe baamulongoosezzaamu n’aziikibwa mu limbo ye Nabidongoa.

Emikolo gy’okusabira abagenzi gyabadde ku ssomero lya Iganga Municipal Council Primary School nga Mufti wa Uganda, Sheikh Shaban Ramathan Mubajje ye yakulembeddemu okusaba.

KADAGA AZZIZZAAYO AMABUGO

Sipiika Rebecca Kadaga ye yabadde omukungubazi omukulu, kyokka yawaliriziddwa okuzzaayo amabugo ge yabadde azze nago n’ategeeza nti ayagala famire ne bba w’omugenzi basooke bakkaanye ku ngeri y’okulabiriramu omwana Ali Amal ow’emyaka ebiri eyasigadde.

Ezimu ku ssente ze yasigazza ze yabadde yeetisse mwabaddemu eza Pulezidenti Museveni obukadde 20, akabondo k’ababaka ba Palamenti abava mu Busoga 20,000,000/-, Karamoja Parliamentary Caucus 1,500,000/-, Teso Parliamentary Caucus 3,400,000/-, akabondo k’ababaka ba UPDF 1,000,000/-, ne ssente z’ababaka abalala.

Omwana yaziikiddwa ku ssaawa 4:00 ez’enkya ate maama n’aziikibwa ku ssaawa 10:00 ez’olweggulo.

Ababaka ba Palamenti abaasobye mu 100 beetabye mu kuziika, awamu ne baminisita.

OMUGENZI BAMUBBULEMU OMUZIKITI - MUKULA

Capt. Mike Mukula, amyuka ssentebe wa NRM atwala ekitundu ky’obuvanjuba yawaddeyo obukadde butaano ng’amabugo. Yennyamidde olw’omuwendo gw’abakyala abafi ira mu ssanya mu Uganda.

Yasuubizza okuwaayo obusawo bwa seminti 100 buyambe mu kuzimba omuzikiti mu Iganga ogunabbulwamu omugenzi.

Abdul Rahim Toto, abadde bba w’omugenzi yagambye nti baasisinkana ne Kaudha mu 2005 ne bawoowebwa mu butongole mu 2009 oluvannyuma lw’okukyala.

Mu Palamenti Kaudha abadde atuula ku kakiiko akakwasisa amateeka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Awar 220x290

Owa Bukedde awangudde engule

Bannamawulire n’abayimbi bawangudde engule mu mpaka za Rising Star Awards

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.