TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Sudhir ne Kirumira boolekedde kkomera lwa buwumbi 400

Sudhir ne Kirumira boolekedde kkomera lwa buwumbi 400

By Musasi wa Bukedde

Added 11th July 2017

NNAGGAGGA Sudhir Ruparelia ne munywanyi we Godfrey Kirumira boolekedde ekkomera nga bbanka enkulu eya Uganda ebalumiriza nti beekomya ensimbi obuwumbi 400 okuva mu Crane Bank mu lukujjukujju.

Saba 703x422

Ekizimbe okwali Crane Bank ku Kampala Road.

Bbanka ya Uganda enkulu yamaze dda okuwawaabira Sudhir mu kkooti ng’okutuuka okumuggulako omusango, bamaze kumunoonyerezaako okumala ebbanga okuva lwe baggala bbanka ye eya Crane, ne bakizuula nti yagiggyamu obutitimbe bw’ensimbi n’abwekomya, ng’ezimu ku nsimbi zino zaali za bantu abaali balinayo akawunti.

Mu kunoonyereza kuno era kyazuuliddwa nti Sudhir aliko obuwumbi bw’ensimbi 50, nga zino yali ateekeddwa kuzisasula kitongole kya NSSF ng’akasiimo k’abakozi ky’ataakola, n’azeekomya era nazo bbanka Enkulu ayagala azizze.

Okusinziira ku lupapula lwa Sunday Vision olwafulumye nga July 9, 2017, Bbanka ya Uganda Enkulu yatutte omusango mu kkooti etaawulula enkaayana z’obusuubuzi nga balumiriza nti Sudhir ekifo kye nga nnannyini bbanka ya Crane yakikozesa n’avubamu omusimbi guno, ogumu ng’agusomosa ebweru w’eggwanga ne yeesirikira.

Okunoonyereza kwalaze nti Sudhir yakozesa akakodyo k’okuggulangawo akawunti ez’enjawulo ezaalaganga nti ziriko bannyinizo kyokka nga za mpeyo olwo n’assaako ensimbi oluusi nga yeefudde nti aliko b’asasula nga amakampuni amazimbi kyokka nga tegaliiyo oluvannyuma ssente zino n’aziggyako n’azitwala.

Kyazuuliddwa nti alina omuntu omu gwe yayitamu ng’alaga nti omuntu oyo yagula emigabo mu bbanka eno era abaddenga aweebwa amagoba ku migabo gino kyokka ekituufu kiri nti emigabo gino gyali gya Sudhir kennyini era ensimbi z’amagoba gaazo ye yazeesasulanga, ekintu ekimenya amateeka.

Mu October 2016, Bbanka ya Uganda enkulu yeddizza Crane bbanka oluvannyuma n’egiguza DFCU era n’abantu bonna abaabadde ne akawunti mu Crane baabazzizza mu DFCU.

Okusinziira ku Sunday Vision, June 30 omwaka guno bbanka Enkulu ng’eyita mu Crane bbanka yatutte omusango mu kkooti ng’eyagala Sudhir ne banne bavunaanibwe olw’emivuyo gino kubanga bye yakola bikontana n’etteeka erifuga zibbanka n’ebitongole ebirala ebiwola ensimbi.

EBIWANDIIKO EBIJINGIRIRE

Bbanka Enkulu mu mpaaba yaayo yategeezezza nti, Sudhir yateeka akawunti ez’empewo mu bbanka ye asobole okuziyisaako obulindo bw’ensimbi n’okulimbalimba bbanka enkulu nti ebintu bitambula bulungi.

Abalala bbanka b’enokoddeyo okubeera mu kkobaane ne Sudhir kuliko: Jitendra Sanghani, Rasiklal Chhotalal Kantaria, Godfrey Kirumira ne Mohammed Ali.

Rasik Kantaria nnaggagga w’e Kenya era ye yatandika Prime bbanka erina amatabi e Kenya n’amawanga amalala.

Bbanka Enkulu egamba nti Sudhir ng’ali wamu ne kkampuni ye eya Meera Investment, baakumpanya obukadde bwa ddoola 92 n’obuwumbi bwa siringi obulala obusukka mu 8 okuva mu Crane bbanka ku nnaku ez’enjawulo.

Bbanka Enkulu eyagala kkooti eragire Sudhir azisasule nga kuliko n’amagoba ga bitundu 12 ku 100 buli mwaka ate obuwumbi 8 abusasulireko amagoba ga bitundu 26 ku 100 era annyonnyole engeri gye yazisaasaanya.

Bbanka Enkulu eraga nti yatandika okwekengera ebikolebwa Crane bbanka n’egiteekako eriiso ejjogi okuva 2015 ng’alipoota z’ababalirizi b’ebitabo ziraga nti ebintu tebitambula bulungi n’omuwendo gwa ssente ogwessalira gw’erina okubeera nagwo nga gusse wansi w’ebitundu 50 ku 100.

Okusinziira ku biwandiiko bye baatutte mu kkooti, ssente nnyingi eziri mu siringi ya Uganda ne ddoola ezaggyibwa mu Crane bbanka wakati wa 2013 ne 2016 nga bakolera ku biragiro bya Sudhir ng’omuntu.

Sudhir yawawaabiddwa wamu ne kkampuni ye eya Meera Invesitment.

Bbanka enkulu egamba nti, nga October 26, 2013 obukadde bwa ddoola 80 baabuggya mu Crane bbanka olwo ne bagenda mu maaso nga baggyamu endala eziwera obukadde bwa ddoola mwenda ku nnaku ez’enjawulo nga balaga nti zaakozesebwa kugula tekinologiya ow’omulembe akozesebwa ku kompyuta za bbanka.

December 27, 2014 baggyamu ddoola 3,500,000 endala ezisukka mu buwumbi 8.2 ne zigoberera nga bazisasula kkampuni ya Infinity Investments Limited kyokka nayo kigambibwa nti ya Sudhir.

Ddoola 990,000 baaziggya mu Crane bbanka ne bazisasula Meera Investments nga ssente z’obupangisa mu ngeri emenya amateeka wakati wa 2013 ne 2016.

Ebiwandiiko bwe binnyonnyola.

EMIVUYO MU BYAPA OKUTUDDE EBITEBE BYA CRANE BBANK

Kiteeberezebwa nti ebyapa bya poloti 48 okutudde ebizimbe bya Crane Bank amatabi ag’enjawulo, ettaka yalifuna mu ngeri eteri nnambulukufu.

Yazimba ku ttaka lino n’okulikulaakulanya ng’akozesa ssente ze yaggya mu bbanka.

Oluvannyuma yaddamu n’agenda ng’awa bbanka liizi ya myaka 49 kwe yalina okumusasula ssente ez’omuzindo obukadde 100 ku buli poloti okwo n’ogattako ddoola 6,000 eza buli mwaka (ground rent) nga bazisasula Meera Investments.

Abakugu mu kunoonyereza, bbanka enkulu be yakozesezza bakizudde nti ne kkampuni enzimbi Sudhir ze yakozesa tezaaliyo, ebiwandiiko kwe baabasasulira baabijingirira ku kompyuta za bbanka bwe baamaliriza ne babisangulako kyokka abakugu bazzeemu okufuukuuza ne bazuula ebiwandiiko bino.

SUDHIR Y’ABADDE NNANNYINI MIGABO GYONNA MU CRANE BANK

Ebiwandiiko biraga nti okuva 1995 Crane bbanka lwe yatandika, Sudhir y’abadde dayirekita era omumyuka wa Ssentebe w’olukiiko olufuzi.

Emigabo gyonna 100 ku 100 gibadde gigye bwe yalaba ebintu byonooneka n’akyusa mu ngeri ey’ekifere n’agiguza kkampuni ze n’asobola okuggya ssente mu bbanka nga tewali amukuba ku mukono.

Emigabo 47.33% yagiwandiisiza mu kkampuni ya White Sappire Ltd, egambibwa nti esibuka Mauritius nnannyini yo ye Rasiklal Chhotalal Kantaria.

Bbanka egamba nti Sudhir ye nnannyini migabo 8.83%, emirala 4% yagiwandiisiza mu mannya ga Jitendra Sanghani ate 19.83% yagiteeka mu mannya ga baaluganda ab’oku lusegere okuli omukyala n’abaana basatu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Troubled 220x290

Oulanya agugumbudde abazadde abataweerera...

Omumyuka wa sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanya agugumbudde abazadde abeesuuliddeyo ogwa nnaggamba okuweerera abaana...

Young 220x290

Abalokole batadde Gavt. ku nninga...

ABASUMBA b’abalokole batadde gavumenti ku nninga okubawa layisinsi ezibakkiriza okugatta abagole wabweru w’ekkanisa....

Kolayo 220x290

Bayisizza bajeti ya bukadde 200...

ABASUUBUZI mu Kikuubo ne Nabugabo bakungubagidde maama w’omugagga Moses Kayongo nnannnyini Mt. Zion Hotel esangibwa...

Kola 220x290

Agambibwa okubba kasooli bamukubye...

ABASERIKALE ba LDU baliko omuvubuuka gwe bakutte lubona mu lusuku ly’omutuuze ng’abba kasooli ne bamukuba amasasi...

Okutulugunya abakyala kweyongede...

Joan Nakilanda nga ono Alina emyaka 21 yafumbirwa nga alina omyeka 17 era nazala omwana we asoka neba. Oluvanyuma...