TOP

Omuwala eyabadde ne Massa ayogedde

By Musasi wa Bukedde

Added 15th July 2017

OMUWALA eyakubiddwa essasi ng’ali ne Massa mu mmotoka attottodde ebyabaddewo wabula by’ayogedde ne byawukana n’ebiri mu siteetimenti Massa gy’akoze ku poliisi.

Ganja 703x422

Omuwala ng'ali ku kitanda. Ku ddyo, Massa (wakati) ng’asanyukira ggoolo ne bazannyi banne bwe yali akyasambira Cranes.

Josephine Maliza 25 yagambye nti yabadde Kireka era Geoffrey Massa 31, we yamusanze okuliraana Bbanka ya DFCU.

Baasoose kucakalirako mu bbaala eyo, oluvannyuma ne boolekera e Namboole we baasimbye ne batandika okunyumya.

We baatuukidde e Namboole ng’essaawa zisusse mu 6:00 ez’ekiro ekyakeesezza Olwokuna. Josephine yattottoledde poliisi nti abadde yaakasisinkana ne Massa enfunda ssatu era omukwano gwabwe nga gutandika butandisi.

Bino yabitadde mu siteetimenti aba poliisi gye baamuggyeeko, bwe baamusanze mu ddwaaliro ly’e Ggwaatiro gy’ajjanjabirwa. Yagambye nti wakati nga bali mu mboozi yaabwe, abaserikale ba poliisi babiri bazze ne babakiika pikipiki mu maaso era ekigendererwa kyabwe kyabadde kya kuggya ssente mu Massa.

Omuwala ono yayongedde okunnyonnyola nti Massa mu kwekengera ebigendererwa by’abaserikale bano yasazeewo asimbule mmotoka aveewo, wabula omu ku baserikale n’ayongera okumukiika pikipiki era kwe kugikoonako katono.

Yavuze ng’agenda mu maaso era ekyaddiridde masasi agaakubye omukazi ono okumpi ku kabina okumpi n’ekisambi.

Mu kiseera ekyo nabo baabadde badduka balowooza nti bano bandiba abazigu abeerimbika mu byambalo bya poliisi era ebyembi amasasi ne gakuba omupiira, emmotoka n’ebalemerera n’etomera ekifunvu e Bweyogerere mu Kakajjo okuliraana akatale k’ebirime.

Yagambye nti baataasiddwa ebisawo ebibeera mu mmotoka (air bags) ebyavuddeyo nga bafunye akabenje ne bibawonya ne batakosebwa nnyo.

Yagambye nti abaserikale tebaakomye ku kumukuba ssasi wabula baayongedde n’okumukuba nga bamusika mu mmotoka ne bamwambula n’engoye zonna.

Wabula okufaananako ne Massa eyasoose okweyita Alex Gonza ng’atuuse ku ddwaaliro ly’e Ggwaatiro, n’omuwala ono yakyusizza amannya emirundi esatu.

Yasoose kweyita Suzan Muyiza, oluvannyuma ne yeeyita Barbara wabula oluvannyuma n’awaayo amannya ga Josephine Maliza era abeera Kireka okumpi ne Bweyogerere we baafunidde obuzibu.

Bwe baabatuusizza ku ddwaliro lya Ggwatiro, Massa yatwaliddwa mu kasenge nnamba 4 ku ludda awajjanjabirwa abeesobola obulungi (Private Wing) ate omukazi ne bamuteeka mu kisenge 25 ku ludda awajjanjabirwa ab’olukale era w’akyajjanjabirwa.

Lipooti Dr. Joseph Katumba gye yakoze ku poliisi yalaze nti Massa yafunye ebiwundu ku mutwe ne mu kyenyi ate Josephine baamulongoosezza kubanga essasi eryamukubiddwa lyabadde lisigadde mu mubiri.

MASSA AKOONAGANYE NE MUGANZI WE

Mu siteetimentu Massa gye yakoze ku poliisi e Bweyogerere yategeezza nti yabadde ava Mukono ku ssaawa nga 8:00 ekiro ng’alina ssente mu mmotoka wabula ne yeekengera abantu ababadde bamugoberera nga bali mu mmotota.

Yavuze n’abaleka kwe kusanga omuwala eyabadde ku kkubo nga talina ntambula n’amutwalako.

Bwe yasimbudde ne wayitawo akaseera n’alaba ng’ababadde bamuwondera bajja n’ayongeramu emisinde n’abaleka n’amanya nti abawonye.

Bwe yatuuse e Namboole ne yetoolola enkulungo emirundi egiwerako asobole okubabuzaabuza oluvannyuma n’ayimirira kyokka yagenze okulaba ng’abasajja bamukiise pikipiki mu maaso.

Yalowoozezza nti abaabadde bamuwondera be bazze, kwe kusimbula mmotoka.

Yasimbudde adduke yagenze okuwulira ng’amasasi gavuga n’ayongera okugenda yagenze okulaba ng’omupiira guweddemu omukka n’eyabadde mu mmotoka ng’akaaba nti bamukubye ekintu.

Akkiriza nti pikipiki yagitomedde kyokka mu butanwa kubanga yabadde alowooza yeetaasa bazigu.

Emmotoka ya Massa ey’ekika kya Land Cruiser TX nnamba UAY 627B ekyali ku poliisi kyokka Bukedde mu kwogera ne Massa ku ssimu obwedda yeegaana nti ssi ye nannyini mmotoka eyo era n’asoomooza poliisi erage ennamba yaayo.

Poliisi yasoose kubikka ku nnamba ya mmotoka wabula ku Lwokutaano Bukedde n’afuna ekifaananyi ng’ennamba eno erabika. Marjolie Nabulime mukazi wa Massa ow’omu maka e Kisaasi naye yagaanidde bba nti bye bamwogerako bamusiiga nziro.

MASSA BAMUGGUDDEKO EMISANGO ESATU

Poliisi yagguddewo emisango esatu ku Massa okuli okweyisa mu ngeri etasaana mu kifo eky’olukale, okutomera n’alumya abaserikale ba poliisi nga bali ku mulimu n’okwonoona pikipiki ya gavumenti UP 5134.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Emilian Kayima yagambye nti beetaaga Massa bongere okumubuuza akana n’akataaano ku byabaddewo.

Ku kya Massa okwegaana, yamusoomoozezza alage ffeesi ye, ensi erabe oba teriiko biwundu bye yafunye bwe yeekonye ku mmotoka ng’atomedde ekifunvu.

Massa azanyidde Cranes emyaka 12 era y’abadde Cranes okutuusa lwe yawummudde omwaka guno.

Abaserikale abaakubye mmotoka ya Massa amasasi agaalumizza Josephine kuliko PC Alfa Gawaya ne Augustine Atyang abagambibwa nti badduse n’emmundu gye baakozesezza okukuba ekiro ekyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...

Jangu 220x290

Maama alaajanira omwana we gwe...

ABATUUZE abaakedde ku muyiggo gw’okunoonya omwana wa mutuuze munnaabwe abadde yabula wiiki bbiri, baakubiddwa encukwe...

Kolayo 220x290

Ebizuuse ku babbi be battidde e...

OMU ku babbi abana abattiddwa e Mutundwe abadde muvuzi wa sipensulo era bangi baasoose kumugaanira olw’enneeyisa...