TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Nnamwandu wa Kaweesi attunka n’abaagala okubba ettaka ly’omugenzi

Nnamwandu wa Kaweesi attunka n’abaagala okubba ettaka ly’omugenzi

By Musasi wa Bukedde

Added 15th July 2017

NNAMWANDU w’omugenzi Andrew Felix Kaweesi attunka n’abantu b’alumiriza okugezaako okubba ettaka bba lye yaleka aguze.

Kaweesi703422 703x422

Omugenzi Kaweesi

Kaweesi nga tannafa yali aguze ettaka eriwerako yiika 25 ku kyalo Ngabo – Lukomera mu disitulikiti y’e Luweero wabula waliwo abalikaayanira era nnamwandu Annet Kaweesi kati b’attunka nabo.

Omusuubuzi Samuel Ssekyana ow’e Nakasero mu Kampala, agamba nti ettaka lino lirye era ayagala akakiiko k’Omulamuzi Catherine Bamugemereire kayingire mu nkaayana zino kalung’amye ku nnannyini ttaka omutuufu.

Kyokka Nnamwandu wa Kaweesi agamba nti Ssekyana ne bannde baagala kukozesa mukisa gw’okufa kwa bba okumutwalako ettaka ly’omugenzi lye yaleka aguze mu mateeka era nga teririiko nkaayana yonna naye n’asaba be kikwatako bamutaase.

Wabula Ssekyana agamba nti Annet Kaweesi ng’ali wamu n’abantu abalala okuli Henry Migadde, Abubaker Kisigala ne Charles Kasozi baatutte tulakita wiiki ewedde ne basenda ebirime n’okusigula emiti gye.

Ssekyana yatutte ebiwandiiko ebikwata ku ttaka lino mu kakiiko ka Bamugemereire okuli n’ekiragiro kya kkooti Enkulu mu Kampala ekigaana omuntu yenna okubaako ky’akolera ku ttaka lino okutuusa ng’emisango egiri mu kkooti giwedde.

Okusinziira ku Ssekyana, yasooka kuwawaabira Migadde, Kisigala ne Kasozi mu kkooti ng’abavunaana okusaalimbira ku ttaka lye nga tabawadde lukusa era kuno kkooti kwe yasinziira okuyimiriza ebikolebwako byonna.

Wabula Ssekyana agamba nti abantu bano abasatu baakozesa olukujjukujju nga beeyambisa famire ya Kaweesi okuvvoola ekiragiro kya kkooti ne basiba ssengenge ku ttaka lino.

Ssekyana agamba nti omugenzi Kaweesi we yafi ira yali aguze ettaka mu kitundu wabula ssi lye lino lye bakaayanira.

Kyokka oludda lwa Annet Kaweesi lugamba nti ettaka Kaweesi lye yagula lye lino, wabula Ssekyana ayagala kukozesa mukisa gwa kuba nti Kaweesi yafa alitwale.

Ye omumyuka wa Ssentebe w’ekitundu kino, Constant Kilumu era nga y’omu ku baabaddewo wiiki ewedde nga nnamwandu wa Kaweesi atutte ttulakita okusenda yagambye nti baamutegeezezza ng’ettaka bwe liriko emisango mu kkooti kyokka n’agenda mu maaso n’okusenda.

“Ttulakita ezasenze zaavudde ku ffaamu ya Nnamwandu Kaweesi era naye kennyini yabaddewo, Poliisi yamaze kujja n’emulaga ekiragiro kya kkooti,” Kilumu bwe yategeezezza.

Okusinziira ku Kilumu, Kaweesi we yafi ira yali aguze yiika ezisoba mu 100 mu kitundu kino.

Bwe twayogedde n’omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Emilian Kayima yagambye nti Mw. Ssekyana yamutuukirirako nga yeemulugunya ku nnamwandu n’amuwa amagezi okusisinkana naye batuuke ku nzikiriziganya.

Kayima yagambye nti Nnamwandu wa Kaweesi amumanyi ng’omuntu akkiririza mu mateeka era atasobola kuvvoola kiragiro kya kkooti kyonna nti naye asuubira nti abaatutte ttulakita okusenda bandiba nga be bakikoze mu bukyamu.

Wabula Ssentebe w’ekyalo kino, Tom Nsubuga yagambye nti kituufu Nnamwandu wa Kaweesi yabadde asindise ttulakita okusenda nti kyokka bwe baamunnyonnyodde yakitegedde era enteekateeka eno n’agisazaamu.

Nsubuga yagambye nti enkaayana ku ttaka lino ziri wakati wa Ssekyana nga ye wa kibanja ne bannanyini ttaka okuli, Migadde, Kisagala ne Kasozi abagambibwa nti be baaguza omugenzi Kaweesi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agende 220x290

Kkooti egobye egimu ku misango...

KKOOTI y’e Nakawa egobye omusango gw’obuyeekera ogwali gwaggulwa ku basajja 14 abagam- bibwa nti beenyigira mu...

Kola 220x290

Boofiisa ba poliisi Muhangi ne...

EYALI akulira ekitongole kya Flying Squad, Herbert Muhangi abadde amaze emyaka ebiri mu kkomera ng’avunaanibwa...

Na 220x290

‘Mukebere nnamba z’essimu okuzuula...

AKAKIIKO akavunaanyizibwa ku by’empuliziganya mu ggwanga aka Uganda Communication Commission (UCC) kalagidde abakozesa...

A1 220x290

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral...

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral & Cocktail Party’ e Munyonyo ebyana gye byalagidde emisono n’emibiri nga bwe balya...

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.