TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Omuwala eyabadde ne Massa nga beesanyusa mu mmotoka ayogedde: 'Yannonze kkubo'

Omuwala eyabadde ne Massa nga beesanyusa mu mmotoka ayogedde: 'Yannonze kkubo'

By Musasi wa Bukedde

Added 16th July 2017

OBUJULIZI omuwala eyakubiddwa essasi ng’ali ne Massa mu mmotoka bw’awadde, bwongedde okuteeka eyali kapiteeni wa Cranes mu kaseera akazibu.

Wala 703x422

Josephine Maliza ayabadde ne Massa nga beekejja mu mmotoka. Ku ddyo Nabulime muka Massa

Poliisi esazeewo n’ekwata obujulizi buno ku katambi oluvannyuma lw’omuwala ono Josephine Maliza 25, okukkiriza okwogera buli kimu awatali kutya.

Josephine yasoose kukaluubiriza poliisi ng’ebibuuzo by’abuuzibwa abyanukula matobotobo ate olumu ng’abuzaabuza mu bugenderevu.

Sitetimenti gye yasoose okukola nayo yabadde agikookeddemu ebigambo bye yategeezezza nti abadde abissaamu okwetaasa n’okutaasa ekifaananyi kya Geoffrey Massa 31, kyokka oluvannyuma n’asalawo ayogere amazima gamufuule ow’eddembe.

Awo poliisi we yasaliddewo okumuggyako sitetimenti ey’enkomeredde era ne bamukwata ne ku katambi ng’agittottola.

Wadde mu kusooka Josephine yagambye nti abadde yaakasisinkana ne Massa enfunda ssatu, yategeezezza poliisi nti guno gwe gwabadde omulundi gwe ogwasoose okusisinkana Massa era teyasoose kumutegeera.

Abapoliisi baamubuuzizza nti, “Massa yakulonze kkubo?” n’ayanukula nti kituufu.

Bwe yabuuziddwa ku ky’emirundi esatu gye yasoose okwogera n’agamba nti awo yabadde agezaako kulongoosa kifaananyi kye n’ekya Massa baleme kulabika ng’abatalina buvunaanyizibwa era “Ssatu” yamujjidde mangu kubanga z’enfunda ze baabadde baakeesanyusaamu, poliisi we yabasangidde.

Josephine yagambye nti akola mu bbaala eyitibwa Victoria Club e Kireka era yabadde ali mu kkubo atambula atuuke w’anaalinnyira bodaboda enaamuzza e Ssonde – Namugongo gy’asula, awo Massa 31, eyabadde mu mmotoka Prado TX we yamusangidde Massa yasimattuse amasasi mu kiro ekyakeesezza Olwokuna, abaserikale ba poliisi PC Alfa Gawaya ne Augustine Atyang bwe baakubye emmotoka ye amasasi ne galumya Josephine gwe yabadde naye mu kiro nga banyumya.

Emmotoka ya Massa Land Cruiser TX nnamba UAY 627B baagitadde ku poliisi e Bweyogerere, kyokka erimu ebituli by’amasasi okuli n’agaakubye emipiira.

Abaserikale abaakubye amasasi balumiriza Massa okutomera pikipiki yaabwe UP 5134 n’agyonoona.

EBIRI KU KATAMBI K’OBUJULIZI BW’OMUWALA

Mu katambi poliisi ke yakutte, Josephine asooka kwetonda olw’ebyabaddewo kw’ossa n’obulimba bwe yasoose okwogera era oluvannyuma n’attottola bw’ati: Omusajja oyo gwe nategedde oluvannyuma nti ye Massa yasibye emmotoka ng’antuuseeko n’ambuuza nti; “Ofaayo bwe nkutwalako”.

Nnasoose kugaana naye bwe nnalabye alemeddeko ne nzikiriza ne ntuula mu mutto ogw’omu maaso ng’ankakasizza nti agenda kuntuusa eka.

Omusajja yabadde alabika ng’anyweddemu era n’ambuuza kye nnywa ne mutegeeza nti, “Club tankola bubi”.

Yabadde ng’antwala mu kifo w’anaagula omwenge kyokka oluvannyuma ate n’avuga ng’adda Namboole nga bw’agamba nti agenda kuntwala mu kafo akalimu emirembe.

Emmotoka yagivuze ne yeetooloola mu nkulungo, n’agisimba ku kataka era olwo zaabadde ssaawa nga 7:00 ez’ekiro.

Yambuuzizza amannya gange ne mulimba nti bampita Barbara era nange ne mubuuza agage n’annimba nti ye Alex Gonza omusuubuzi w’omu Kampala. Yabadde ayambadde ekiwale ekimpi n’omujoozi.

Wakati mu kunyumya nga buli omu abuulira munne ebimukwatako, Massa yasise omutto gw’emabega n’agwebasa nga bw’ahhamba nti ayagala twesanyuseemu.

Nnasoose kugaana wabula n’ambuuza, “Oli mwana muto?” era kwe kuddamu nti ndi muntu mukulu naye mbadde sikyetegekedde.

Yalemeddeko era okukkakkana nga tutandise okunyumiza ddala eby’ekikulu.

Twesanyusizza enfunda ssatu, wabula twabadde tukyawummudde abaserikale ne bajja nga bali ku pikipiki. Massa yayambadde engoye nange ne nnyambala.

Abaserikale baakonkonye emmotoka nga batulagira tuggulewo era nabadde ngezaako okuggulawo, Massa n’assaamu “Lock”. Essaawa olwo zaabadde nga 9:00 ez’ekiro.

Massa yavudde mu mbeera n’abuuza abaserikale, “Mutwagaza ki? Emmotoka gye mukoonako mumanyi ebbeeyi yaayo?” Yagisimbudde omulundi gumu wabula n’atomera pikipiki ya poliisi n’egwa wansi, awo kwe kwongeza sipiidi.

Amasasi awo we gaatandikidde okuvuga era erimu ne linkuba, kyokka saasoose kutegeera nti nfunye obuzibu. Bwe yatuuse ku kkubo erikyama ku Well Spring (Kakajjo – Bweyogerere), yeekanze owa bodaboda kwe kutomera ekifunvu.

Baatusiseemu ne tuleetebwa ku ddwaaliro lya Ggwatiro. Akagatto akaasigadde mu mmotoka kange, wabula akawale si kange kirabika ka Massa yeerabidde okukambala mu kupapa.

Sitetimenti ya Massa yalaze nti yabadde ava Mukono ng’alina ssente nnyingi mu mmotoka era waliwo emmotoka gy’ateebereza okuba ey’ababbi eyabadde emulondoola.

Yasanze omuwala e Bweyogerere n’asalawo amutwaleko, bwe yatuuse e Namboole n’ayimiriramu abuzeebuze abaabadde bamulondoola.

Yeekanze alaba pikipiki eyabaddeko abasajja babiri ne bagimukiika ne bamulagira aggulewo emmotoka era kwe kusimbula ng’abayita babbi. Ekyazzeeko masasi, oluvannyuma emmotoka n’emulemerera n’atomera ekifunvu.

Omwogezi wa poliisi Emillian Kayima yagambye nti ng’oggyeeko emisango okuli ogw’okwonoona pikipiki n’okweyisa mu ngeri etajjansa, bagenda kwebuuza ku muwaabi wa gavumenti ku bujulizi obuliwo ku ky’okugezaako okutomera omuserikale, aggulweko ogw’okugezaako okutta omuntu.

Massa yasambira Cranes emyaka 12 n’afuuka ne kapiteeni wa ttiimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lum1 220x290

LUMAAMA Francis alabudde abantu...

LUMAAMA Francis alabudde abantu okukomya okwetundako ebinja

Seg1 220x290

Omusibe afiiridde mu kaduukulu...

Omusibe afiiridde mu kaduukulu asattiza Poliisi y'e Namanve

Mus1 220x290

Eyasibidde omwana we mu kabuyonjo...

Eyasibidde omwana we mu kabuyonjo Polisi emunoonya

Kub1 220x290

Omugagga Cameroon Gitawo ayogedde...

Omugagga Cameroon Gitawo ayogedde ekibadde kimubuzizza

Mob1 220x290

Omukozi wa Gavumenti bamuyimirizza...

Omukozi wa Gavumenti bamuyimirizza ku mulimu lwa kwambala mmini