TOP
  • Home
  • Agawano
  • Poliisi ekutte 4 nga batunda pikipiki enzibe e Mpigi

Poliisi ekutte 4 nga batunda pikipiki enzibe e Mpigi

By Hussein Bukenya

Added 16th July 2017

POLIISI y'e Mpigi ekutte n'eggalira abasajja bana abaasangiddwa nga batunda pikipiki eyabbiddwa e Mbarara.

Bba 703x422

Abakwate nga bali ku Poliisi e Mpigi. EKIF: PADDY BUKENYA

POLIISI y'e Mpigi ekutte n'eggalira abasajja bana abaasangiddwa nga batunda pikipiki eyabbiddwa e Mbarara.

Abakwate baasangiddwa mu kabuga k'e Mpigi nga bagezaako okutunda pikipiki y'ekika kya Bajaji boxer nnamba UDZ 060P egambibwa okubbibwa mu bitundu by'e Mbarara.

Poliisi okukwata  abasajja bano kyaddiridde omutuuze okugitemyako nga bwe waliwo abaagala okumuguza pikipiki enzibe kyokka poliisi bwe yabasazeeko ne batandika okwerumiriza nga munnaabwe bwe yagibbye e Mbarara n'agibasanza e Mpigi, ekyaddiridde Poliisi kubakwata n'ebaggalira.

Abaakwatiddwa kuliko; Benon Tumwine (19) omutuuze w'e Mbarara, Ivan SSekanjako (20) mutuuze w'e Mpigi, Isma Birimuye (32) w'e Mpigi ne Meddie Kayemba 25 omukuumi mu kabuga k'e Mpigi.

Olwatuusiddwa ku Poliisi y'e Mpigi ne bakunyizibwa olwo buli omu n'alumiriza munnen okuba mu lukwe kyokka bonna olunwe nga basinga kulusimba ku Tumwine gwe bakira gwe bagamba nti ye yabaleetedde pikipiki eno ng'abalimbye nti yiye n'abasaba okumunoonyeza omuguzi.

Akulira poliisi y'e Mpigi, Ronald Mugarura agambye nti bamaze okuzuula nnannyini pikipiki nga mutuuze w'e Mbarara kyokka abakwate baakutwalibwa mu kkooti bavunaanibwe ogw'obubbi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lum1 220x290

LUMAAMA Francis alabudde abantu...

LUMAAMA Francis alabudde abantu okukomya okwetundako ebinja

Seg1 220x290

Omusibe afiiridde mu kaduukulu...

Omusibe afiiridde mu kaduukulu asattiza Poliisi y'e Namanve

Mus1 220x290

Eyasibidde omwana we mu kabuyonjo...

Eyasibidde omwana we mu kabuyonjo Polisi emunoonya

Kub1 220x290

Omugagga Cameroon Gitawo ayogedde...

Omugagga Cameroon Gitawo ayogedde ekibadde kimubuzizza

Mob1 220x290

Omukozi wa Gavumenti bamuyimirizza...

Omukozi wa Gavumenti bamuyimirizza ku mulimu lwa kwambala mmini