TOP

Afeze omusuubuzi obukadde 15

By SHAMIM NABUNNYA

Added 17th July 2017

OMUKAZI agambimbwa okubba emmotoka mu Kampala bazzeemu okumukwata ng’afeze omusuubuzi n’amubbako ttivvi oluvannyuma n’amuwa ceeke enfu.

Tinda 703x422

Nampinga baamukutte lwa kufera musuubuzi.

Racheal Nampinga 39, owa Blue Homing birds e Muyenga yatwaliddwa ku poliisi y’e Katwe oluvannyuma lw’okufera omusuubuzi Kasim Lule ku dduuka lya Capital Central mu Kampala.

Nampinga omutuuze w’e Kisaasi mu Kitosi Zooni yakwatiddwa e Kisubi mu mmotoka ye ng’agenda ku kisaawe e Ntebe okulinnya ennyonyi ave mu ggwanga.

Poliisi yamukiise kabangali yaayo n’atwalibwa ku poliisi e Katwe. Kasim Lule omusuubuzi wa ttivvi ku dduuka lya Capital Central yategeezezza poliisi nti; “Nga April 4, 2017, mukwano gwange Sandra yajja ne Nampinga ne nnamwandu wa Kafeero, Robinah Bisirikirwa okugula ttivvi. Nampinga yantegeeza nga ssente bwe zitali zaabuliwo.

Namuwa ttivvi 11 nga zibalirirwamu 15,500,000/- n’ampa ceeke kyokka bwe nagenda mu bbanka ya KCB ne bantegeeza nti akawunti ye tekuli ssente era bagibanja! Nakubira Nampinga essimu ne mmutegeeza nti ceeke gye yampadde nfu.

Yanziramu nti tajja kunsasula era ssente nzeerabire kubanga alina abanene mu Gavumenti siyinza kumusobola.

Nagenze ku poliisi y’e Katwe ne nzigulawo omusango ku fayiro nnamba SD: 37/29/06/2017.

Poliisi yamulinnye akagere okutuusa lwe yamukutte,” Lule bwe yategeezezza. Gye buvuddeko Nampinga yakwatibwa ekitongole kya Flying Squad e Katwe mu bubbi bw’emmotoka ng’omusango guli ku fayiro nnamba GEF 105/2016 kyokka n’ateebwa ku kakalu ka poliisi.

Nampinga bwe yatuusiddwa ku poliisi y’e Katwe, yategeezezza nti Lule tamumanyi era n’edduuka lye talimanyi.

Yagambye nti Lule agenderera kumwonoonera linnya. Nampinga akuumibwa ku poliisi y’e Katwe ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

No Matching Document

Emboozi endala

Lum1 220x290

LUMAAMA Francis alabudde abantu...

LUMAAMA Francis alabudde abantu okukomya okwetundako ebinja

Seg1 220x290

Omusibe afiiridde mu kaduukulu...

Omusibe afiiridde mu kaduukulu asattiza Poliisi y'e Namanve

Mus1 220x290

Eyasibidde omwana we mu kabuyonjo...

Eyasibidde omwana we mu kabuyonjo Polisi emunoonya

Kub1 220x290

Omugagga Cameroon Gitawo ayogedde...

Omugagga Cameroon Gitawo ayogedde ekibadde kimubuzizza

Mob1 220x290

Omukozi wa Gavumenti bamuyimirizza...

Omukozi wa Gavumenti bamuyimirizza ku mulimu lwa kwambala mmini