TOP

Gavt. eyongezza omusolo ku ddagala eriva ebweru

By Muwanga Kakooza

Added 17th July 2017

MINISITULE y’ebyobulamu erangiridde nti gavumenti eyongezza emisolo ku limu ku ddagala eriva ebweru olw’okussa mu nkola ekiragiro kya Pulezidenti Museveni eky’okutumbula ebintu ebikolebwa wano omuli n’eddagala.

Dbfszupw0aa9ap 703x422

Minisita w’eggwanga ow’ebyobulamu, Dr. Sarah Opendi  ategeezezza nti ebika by’eddagala 37 ebikolebwa wano kizuuliddwa nti biri ku mutindo era obungi bwabyo bumala bulungi n’olwekyo emisolo gy’okukebera n’okukasa ebika by'eryo ebiva ebweru byongezeddwa.

Opendi agamba nti okutandika ne August 1, ebika bino byayongezeddwa mu kampeyini ya gavumenti ey’okutumbula ebintu ebikolebwa wano.

Omusolo gw’okukebera eddagala eriva ebweru n’okulikakasa gwongezeddwa okuva ku bitundu 2 buli 100 okutuuka ku 12 buli kikumi.

Yagambye nti minisitule okufaanana n'ebitongole ebirala yalagiddwa okuyamba okutumbula ebikolebwa wano okugeza eddagala ly’ekiddukano (Oral Rehydration Salts) bye byongezeddwa era kigenda kuyamba okukendeeza ku libadde liva ebweru okujja ku katale mu Uganda.

Kyokka omusolo gw’okukebera eddagala erituweebwa abazirakisa okuva ebweru gusigadde gwa bitundu 2 buli kikumi.

Opendi agamba nti Pulezidenti yalagira Minisitule eno okuyamba abakozi b’eddagala aba wano n’abalitunda okukola emirimu.

N’agamba nti kino kigenda kuyamba abantu okufuna eddagala eriri ku mutindo era nga kino kijja kuyamba n’okufunira abavubuka emirimu  n’okuyamba eggwanga okweyimirizaawo mu by’eddagala.

Minisitule era eragidde ab’ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’eddagala ekya ‘National Drag Authority’  okulondoola eddagala lyonna eritundibwa mu Uganda okulaba omutindo gwalyo nti mutuufu.

Mu mwaka 2017/18 ekitongole kigenda kussa ensimbi ezikunukkiriza mu buwumbi busatu mu kifo ekikebera omutindo gw’eddagala ekya ‘National Quality Control Labaratory'  okulaba ng’eddagala eritundibwa liri ku mutindo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lum1 220x290

LUMAAMA Francis alabudde abantu...

LUMAAMA Francis alabudde abantu okukomya okwetundako ebinja

Seg1 220x290

Omusibe afiiridde mu kaduukulu...

Omusibe afiiridde mu kaduukulu asattiza Poliisi y'e Namanve

Mus1 220x290

Eyasibidde omwana we mu kabuyonjo...

Eyasibidde omwana we mu kabuyonjo Polisi emunoonya

Kub1 220x290

Omugagga Cameroon Gitawo ayogedde...

Omugagga Cameroon Gitawo ayogedde ekibadde kimubuzizza

Mob1 220x290

Omukozi wa Gavumenti bamuyimirizza...

Omukozi wa Gavumenti bamuyimirizza ku mulimu lwa kwambala mmini