TOP
  • Home
  • Ag’eggwanga
  • Omuzungu alojja engeri Bambi Baaba Baabowe gye yamufera 1,800,000,000/- n’amuleka ng’atoba ne looni

Omuzungu alojja engeri Bambi Baaba Baabowe gye yamufera 1,800,000,000/- n’amuleka ng’atoba ne looni

By Musasi wa Bukedde

Added 18th July 2017

OMUZUNGU y’omu ku bantu abawa obujulizi ku Mugonza Bambi Baaba Baabuwe owa Sserulanda, eyafudde wiiki ewedde ng’amulumiriza ku bikolobero by’alese akoze Bjorn Francis Simensen alojja engeri Mugonza gye yamufera 1,800,000,000/- n’amuleka ng’atoba okusasula amabanja.

Bambi1 703x422

Omu ku Bazungu abaasangiddwa ewa Mugonza. .Ku ddyo, Bambi Baaba Baabuwe Mugonza eyafudde.

Bjorn yafuuka Munnayuganda ng’ensibuko ye y’e Norway, yajja mu Uganda mu 1968 ne yeegatta ku Mugonza mu gya 1980, bwe yali akyakolera mu kkampuni ya G. Campagna & Co. Steel Erectors Ltd.

Wano mu Uganda yali awasirizzaawo omukyala Sarah Male mu 1970, mukyala we yalina ekibiina ky’obwannakyewa ekya Balikuddembe Association Ltd.

Olumu mukyala we yalwala n’akomayo n’atuuka n’okutabuka omutwe.

Baabalagirira omuntu eyali ajjanjabisa obutonde kwe kugenda ewa Mugonza gwe baasisinkana e Nateete.

Yajjanjaba mukyala wange n’agenda ng’atereera oluvannyuma n’atandika okutusomesa eddiini ng’erabika erina ensibuko y’e Buyindi.

Ng’amaze okukwatagana ne Mugonza, yatandikawo kkampuni ye eya Astral Steel Products Ltd ku 6th Street mu Kampala. Awo yatandika okugendanga e Ssesamirembe buli nkomerero ya wiiki.

Oluvannyuma yamalirira okusenguka okudda e Rakai ewa Mugonza, mukyala we yasooka kugaana oluvannyuma n’amwegattako.

Yagenda kumukuuma so si kugoberera nzikiriza gye yali agenzeemu.

Kino ky’ekiseera mwe baaliira ssente zonna nga Mugonza amulimbye nti bw’asenga e Ssesamirembe buli kimu kigenda kuba nga kiteredde kuba bategeka era kuzimba ekibuga ky’obusuubuzi ekya Lake Victoria Free Trade Zone.

Ebbanga lye baamala naye yamulekera amabanja ga kawumbi kamu n’obukadde 800.

BYE YALABA EBIWUNIIKIRIZA:

Okusinza kwa Sserulanda kwatandika mpolampola okuva ku mulamwa ne batandika okutabiikirizaamu bye bayita okutambula n’omulembe.

Baatandika okuyingizaamu ebyefaanaanyiriza eby’Ekikristaayo n’awamu nga balina abakkiririza mu buwangwa. Okusinziira ku nsomesa ya Mugonza yatandika okwefuula nga Katonda.

Bino nabikkiriizaamu okumala ekiseera okutuusa lwe nazuukuka nga ndaba tuwaba. Bingi ebyakolebwanga ne ntandika okwebuuza oba ddala tukyali ku malamwa. Bino bye bimu ku byakolebwa ebyampuniikiriza:

l. Bamemba baatandika okutulagira okweyambula ne batukuba ebifaananyi nga twambadde obugoye obw’omunda. Okwo baagattako okutusalako enviiri n’enjala ne babikuhhaanya.

2. Omugoberezi yenna ng’alina okwolesa obuwulize obwekika ekyawaggulu eri Mugonza. Kino nze saakisangamu buzibu kuba twali tukimanyidde, naye olwavaayo ne ndaba obulabe obwakirimu kuba bingi bye baatukozesanga ebitajja.

3. Baatulabulirawo nti buli anaagezaako okudduka okuva ewa Sseruranda yali wa kufa. Waaliwo abantu abaafa mu ngeri etategeerekeka naye baabiyisa mu nkukutu sirina bikwata ku nsonga eno bimala.

4. Mugonza yantegeeza nti waliwo abantu abamu abayinza okusaddaakibwa olw’okutuukiriza obulombolombo bw’enzikiriza ye. Ekiseera kino mukyala wange yali anfuukidde eriggwa mu kigere, nga takkiririza mu nzikiriza yaffe naye nga taseguka tubeera naye. Okukkiriza kwange gy’ali kwali kunnyikidde, olumu Mugonza yantegeeza nti mukyala wange yalina okufa era saakiwuliramu buzibu.

5. Olumu baatabula eddagala eccaafu nga batabikamu ettaka n’obusa bw’ente. Baatulagira okugendanga tubyevulungulemu n’okunywako akatonotono. Mugonza bwe yampita okwenyigiramu nali musanyufu kwali ng’okukola akalombololombo. Baatukuutira okutwala ekiseera nga tetunaabye era n’engoye ze tubaddemu tetwalina ku zisuula kubanga zaali za mukisa.

6. Olunaku olumu nafuna akabenje ku luguudo lw’e Mbarara, Mugonza yandagira okunaaba amata nga bwe bansomera essaala

7. Ekiro ekimu twayinzanga okusula nga tuyimba, tuzina twetoloola emirambo gya bammemba abaafa nga mu kiseera ekyo batwalibwa ng’abatuukirivu. Bwe baanaazanga emirambo ng’amazzi bagatereka naye simanyi kye baagakozesanga.

8. Waalingawo okusika omuguwa okwamaanyi okuva mu behhanda z’abantu abafiiridde ewa Seruranda nga baagala okutwala emirambo gy’abantu baabwe okugiziika. Ekyabakaluubirizanga kwekuba nti omuntu yakolanga endagaano ng’akyali mulamu n’akkiriza nti alina okuziikibwa ewa Sserulanda.

9. Nze nalabirirako omulimu ogw’okukola ssanduuku mu byuma bye twayokya ne ‘wolodingi’ n’eterekebwa mu mpuku.

10. Munnange gwe nali naye nga kyenkana tuli baaluganda, yakakibwa okutwala ekibinja ky’abantu abaamuwebwa ku malaalo ewaabwe ne basimula ebisigala by’abafu.

Kuno kwaliko kitaawe ne muganda we, baabireeta mu mpuku ne baddamu okubipanga bulungi ne babitereka mu ssanduuku ey’edabirwamu.

Abooluganda omusango baagutwala mu kkooti ne baguwangula, ebisigala baabibaddiza ate ye munnaffe ne bamusiba emyezi mukaaga.

11. Abagoberezi baabakakanga okuwasa abakazi abasukka mw’omu, nze kaabulako katono amaka gange gasaanewo mu mbeera eno. Bwe neegomba omukazi omu ku betwali nabo mu nzikiriza eno eyali yakatwegattako Nasobola okusigala ne mukyala wange, ekitali kyangu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sak1 220x290

Gavumenti ekakasizza enkolagana...

Gavumenti ekakasizza enkolagana yaayo n'ekitongole kya SASAKAWA okutumbula eby'obulimi

Kig13 220x290

Robert Ssekweyama alangiriddwa...

Robert Ssekweyama alangiriddwa ku butendesi bwa Kiraabu ya Doves

Ras13 220x290

Ekyabadde e Bugembe nga Bebe Cool...

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe Bebe Cool n'abakungu ba ministry ya Health gye baamaze olunaku lulamba nga...

Sat13 220x290

Pass PLE addamu mu February

Pass PLE addamu mu February

Soz1 220x290

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba...

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba P7 ebyetaaga okukolako