TOP
  • Home
  • Diaspora
  • Bannayuganda 11 babakwatidde e Thailand lwa njaga

Bannayuganda 11 babakwatidde e Thailand lwa njaga

By Musasi wa Bukedde

Added 18th July 2017

BANNAYUGANDA 11 bakwatiddwa mu ggwanga lya Thailand lwa kuyingira mu ggwanga eryo mu bukyamu.

Aaaaaaasmall703422 703x422

Minisita w'eggwanga ow'ensonga z'ebweru, Okello Oryem ng'ayogera engeri Banayunganda 11 gye baakwatiddwaamu Poliisi y'e Thailand ne baggalirwa

BANNAYUGANDA 11 bakwatiddwa mu ggwanga lya Thailand lwa kuyingira mu ggwanga eryo mu bukyamu.

Ekiwendo kino ekyakoleddwa poliisi ng’eri wamu ne bakomando b’ekitongole ekirwanyisa okukozesa ebiragalalagala, kyakwasizza Abafirika 16 nga baasangiddwa mu kifo ekisanyukirwamu ekya RCA Entertainment mu kibuga Bangkok.

Okubakwata, baabadde ku muyiggo gw’Abafirika abangi abeegumbulidde okuyingira ensi eno mu bukyamu, era nga bangi babeera batambuza biragalalagala.

Abeebyokwerinda obwedda bafuuza buli muzigo ku kizimbe kino ekya kalina.

Baagenze okukkakkana nga bakutte omusajja omu ow’e Ethiopia, abakazi 16, Bannayuganda 11, Abatanzania 4 n’omuntu omu enzaalwa y’e Syria.

Ekitongole kya The Narcotics Suppression Bureau, ekirwanyisa ebiragalalagala kye kyafulumizza eggulire lino ku mukutu gwakyo omutongole ogwa Facebook.

Okello Oryem, minisita omubeezi ow’ensonga z’ebweru w’eggwanga, yategeezezza nti yabadde tannamanyisibwa kukwatibwa kw’abantu bano, kyokka n’ategeeza nti Uganda tewagira bikolwa bya bumenyi bw’amateeka.

Yavumiridde bannayuganda abalina enkola y’okugenda mu mawanga amalala ne bazzaayo emisango.

Yategeezezza nti abantu ab’ekika kino babeera boonoona erinnya lya Uganda era beetaaga kusibwa.

Yagambye nti wadde kimanyiddwa nti buli munnayuganda bw’agenda ebweru, alina okwewandiisa ku kitebe kya Uganda ekimuli okumpi, kyokka bangi tebakikola era ne bwe bafuna obuzibu kye bava batayambibwa mu bwangu.

Abeebyokwerinda baagambye nti bonna abaakwatiddwa baatwaliddwa ku kitebe ekivunaanyizibwa ku bantu abayingira mu ggwanga basoyebwe kajjojijjoji w’ebibuuzo.

Baabakebedde okuzuula oba nga balina ebiragalalagala ne beekebejja n’omusulo.

Abakwate bonna tewali gwe baasanzeemu biragalalagala, kyokka 16 baalemeddwa okunnyonnyola engeri gye baayingiramu ensi eyo.

Lt. Gen. Natthorn Phrosunthorn, akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku bantu abayingira mu Thailand, yagambye nti bakyafuuza abagwiira abaayingira eggwanga eryo mu bukyamu.

Omwezi oguwedde Abafirika 20 baakwatibwa olw’okuyingira ne viza enkyamu mu ggwanga lino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Drssempangieyasingaanidwamumakagenanyonyolawebuse 220x290

Abaana Abakaramoja basomesebwe...

Ssempangi awabudde gavumenti ku baana b’e Karamoja abasibira ku nguudo n’ategeeza nga bwe batundibwa abazadde okujja...

Chozenbeckyclearwebuse 220x290

Abayimbi beesunga kusanyusa badigize...

Abayimbi ab'amannya bali mu kuwawula maloboozi olw'okwesunga okuyimba mu Kyepukulu ekiwagiddwa Vision Group ne...

Lukiikombalirira7 220x290

Buganda eyisizza embalirira yaayo...

OBWAKABAKA bwa Buganda buyisizza embalirira y’Omwaka 2019/2020 ng’eno ya nsimbi 121,079,490,880/- nga kweyongera...

Samba 220x290

Omusika atunze ebiggya ku 1500/=!...

PULOFEESA Kiwanuka Ssemakula amaziga gaamuyunguse bwe yatuuse ku butaka gy’asibuka ng’amalaalo ga kitaawe gaatundibwa...

Kub2 220x290

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza...

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza abavubuka okuyingira obulimi n’obulunzi