TOP

Tukutuku baziyimirizza okuyingira mu ggwanga

By Musasi wa Bukedde

Added 19th July 2017

PULEZIDENTI Museveni awadde ekiragiro ekiyimiriza okuyingiza pikipiki ezimanyiddwa nga Tukutuku mu ggwanga.

Tukutuku2650457 703x422

Museveni ng'avuga mu 'tukutuku' bwe yabadde anoonyeza Munna NRM Sitenda Ssebalu akalulu k'e Kyadondo East

Yawadde n’ekiragiro ekirala eky’obutawa Tukutuku layisinsi era n’alagira Minisitule y’ebyentambula okussa mu nkola ebiragiro ebyo byombi.

Bino byavudde mu lukiiko lwa kabineti Pulezidenti Museveni lwe yayise okuteesa ku ngeri gye bayinza okuluη− ηamyamu ebyentambula mu Kampala.

Henry Aggrey Bagiire, Minisita omubeezi ow’ebyentambula yagambye nti, Pulezidenti ye yakubirizza olukiiko luno.

Yagasseeko nti, byabadde biteeso bya kabineti ebyayisiddwa era Pulezidenti n’alagira bitandikirewo okukola.

Bagiire yagambye nti baayisizza ebiteeso bibiri okuli obutaddamu kuyingiza Tukutuku mu Uganda n’okukomya okugaba layisinsi ezizikkiriza okukola omulimu gwonna mu Uganda okutuusa nga bamaze okwekenneenya n’okutereeza ebyentambula mu Kampala ne mu ggwanga lyonna.

Kino aba minisitule y’ebyentambula baakitegeezezza n’ekitongole kya Transport Licensing Board TLB kw’ossa eky’emisolo ekya URA.

Baminisita Monica Ntege Azuba n’omumyuka we Bagire baalagiddwa okuteekateeka enkola eneeruηηamya ebyentambula mu ggwanga lyonna n’okumalawo omugotteko mu Kampala.

Olutalo ku Tukutuku lwabalukawo wakati wa baddereeva ba takisi abakulemberwa Yasin Ssematimba n’aba bodaboda abakulirwa ssentebe wa NRM e Lubaga Abdullah Kitatta ng’aba takisi bawakanya ekya Tukutuku okubatwalako abasaabaze wabula nga n’aba bodaboda bagamba nti balina okukola.

Kino kyawaliriza minisita wa Kampala Beti Kamya okuwa poliisi ebiragiro okukwata Tukutuku ezikolera mu Kampala kubanga kikontana n’etteeka.

Wabula nga June 27, 2017 Pulezidenti Museveni yasinzidde mu kampeyini za Kyaddondo East ng’anoonyeza munna NRM Sitenda Ssebalu akalulu, n’atuula mu Tukutuku gye baamuleetedde era n’abategeeza nti bagire nga bakola nga bwe yeetegereza ensonga za Tukutuku.

Mu kabineti waabaddewo okunnyonnyola obuzibu obunaava mu kutongoza Tukutuku okuli eky’okwongera omugotteko mu Kampala n’emisolo egiva mu takisi egiyinza okwesala.

Wabula mu lukiiko luno, Pulezidenti yalagidde ezibaddewo nga zikola bazireke zigira zikola nga minisitule y’ebyentambula bwe yeetereeza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.

7900135314007387300859518542802200714280960n 220x290

Gravity Omutujju amaze n’alaga...

KYADDAAKI Gravity Omutujju alaze mukyala we mu lujjudde n’ategeeza nga bwe bagenda okwanjula mu January wa 2020...