TOP

Beti Kamya ne Musisi bongedde okukoonagana

By Hannington Nkalubo

Added 19th July 2017

DAYIREKITA wa Kampala, Jennifer Musisi Ssemakula ayimirizza ekiragiro Minisita wa Kampala Beti Kamya kye yawa okwongeza emisaala gya ba Meeya ne bakansala okutandika n’omwezi guno.

United 703x422

Musisi ne Kamya

Beti Kamya ye yasoose okuwandiika ng’alagira Musisi okussa mu nkola eky’okwongeza emisaala okuva nga July 1, 2017.

Musisi naye awandiise ng’ayanukula Beti Kamya era mu bbaluwa eno ey’emiko ena, Dayirekita akirambika nti ekiragiro ky’okwongeza emisaala tekijja kukola nga Beti Kamya bw’abadde ayagala.

Kino kyongedde okulaga okukoonagana wakati wa Musisi ne Kamya okwegatta kw’ebyo ebyasooka, Musisi bwe yawandiika ng’anenya Kamya okwanjula ebbago ly’ennongoosereza mu tteeka lya Kampala nga tebamaze kumwebuuzaako nga Dayirekita.

Ebbaluwa ya Musisi yagiwandiise nga July 13, 2017 era n’aweerezaako ofiisi z’abakulembeze ezikwatibwako.

Mu bbaluwa ya Musisi yagambye nti, wadde talina mutawaana na kya kwongeza misaala kubanga obudde bungi babumala ku mirimu gya kibuga, wabula ssente teziriiwo.

Yagasseeko nti okwongeza abakulembeze abalonde ensako n’olukiiko lwa Baminisita lwakiteesaako era ne lukiyisa nga bakitaddeko akakwakkulizo nti bagenda kuyambako okusaggula abawi b’omusolo basasule emisolo.

Yannyonnyodde nti, era olukiiko lwa Baminisita lwalagira nti okwongeza emisaala gyonna mu Kampala kuteekwa kuyisibwa minisita wa Kampala kyokka ng’amaze kwebuuza ku minisitule efuga abakozi ba gavumenti ne minisitule y’ebyensimbi.

Yalambise nti minisitule zokwongeza emisaala, eteekwa okusooka okuweebwa lipooti ekwata ku by’enfuna nga bwe biyimiridde mu kitongole kya KCCA.

Musisi yawadde ensonga nti, wakati wa July 01 okutuuka July 10, omwaka gw’ebyensimbi ogwakatandika, ennyingiza y’omusolo yasse nnyo okuva ku bitundu 33 okutuuka ku bitundu 13 ku buli 100 era okusinziira ku kye baakalaba tebasobola kussa mu nkola kiragiro kye.

Ebbaluwa eraga nti wadde emyaka gy’emabega babadde balaga nti basolooza ssente nnyingi kyokka tezimala kukolera Bannakampala bye beetaaga.

Kamya teyasobose kufunika kyokka Minisita omubeezi owa Kampala, Benny Namugwanya yagambye nti Musisi ateekwa okumanya nti omulimu gwe gwa Beti Kamya ne Musisi bongedde okukoonagana kussa mu nkola biragiro ebimuweereddwa.

“Ffe tuwa biragiro era bw’aba takoze nga bwe tuba tulagidde ateekwa okutunnyonnyola lwaki kye tumugambye takisobodde olwo ne tumuwa amagezi naye tamala gakigaana bugaanyi” Namugwanya bwe yakkaatirizza.

Yategeezezza nti okutuuka okusalawo ensako eyongezebwe baasooka kutunuulira lipooti eraga ebyenfuna by’ekitongole kya KCCA ebiraga nti kisoboka bulungi.

OLUTALO LUTEMYEMU LUKWAGO NE BAKANSALA

Olutalo luno lwawuddemu Bakansala abamu ne badda ku ludda lya Kamya ate abalala ne badda ku ludda lwa Musisi.

Abamu ku Bakansala abali ku ludda lwa Musisi beebo abawagira ennyo Loodi meeya Erias Lukwaago, era nga balowooza nti Kamya okulagira emisaala gyongezebwe agezaako kuwugula Bakansala abaggye ku Lukwago.

Okwongeza emisaala kwajjira wamu n’entegeka y’okukyusa mu tteeka lya Kampala liwe bameeya ba Munisipaali obuyinza buleme kwetuuma ku kitebe kya KCCA wokka era nakyo kyaleeseewo okwetemamu wakati wa Lukwago ne ba Meeya ba Kampala.

Ssentebe w’olukiiko olugatta Bameeya ba Munisipaali za Kampala, Emmanuel Sserunjogi yagambye nti: Amazima bakansala n’abakulembeze abalonde bafuna ssente ntono ate nga bakola nnyo.

Balondoola ebikolebwa mu Kampala n’okukubiriza abantu okusasula emisolo.

Tusaba Jennifer Musisi addemu atunuulire bye tukola ne ssente ze tufuna atwongeze ku ssente nga minisita bw’agamba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...