TOP

Ziizino entalo Mulindwa Muwonge z'alwanye

By Kizito Musoke

Added 21st July 2017

OMUGABI Mulindwa Muwonge si ye muntu gw’obadde olinnyako n’otambula ng’odaalimba.

Muwonge 703x422

Mulin dwa Muwonge ng’akyali mulamu

Abadde atera okwogera nti; “Dawa ya moto ni moto”, ekitegeeza nti “Omuliro gwanukulwa muliro”. Abamu ku bakubi b’amasimu ababadde bamwerijjirako, ng’abaddiza omuliro ne beevuma ekyabakubisizza essimu.

Mu kwerandiza abadde awagaanya era olumu abadde akuubagana n’abantu era ng’amalirira attunse nabo n’atuukiriza erinnya lya ‘Kinanjokyankimize’, banne lye baamukazaako.

OLUTALO NE LUKWAGO

Batono ababadde bamanyi nti erinnya lya Mulindwa ery’eddiini ye Elias kubanga abadde tatera kulikozesa. Wadde babadde bafaananya erinnya ne Loodi Meeya ‘Erias’ Lukwago, kyokka babadde tebakwatagana ku nsonga nnyingi.

Mulindwa y’omu ku babadde mu ttiimu eyambako Dayirekita wa Kampala Jennifer Musisi ku nsonga ezeekuusa ku mawulire era olumu abadde asinziira ku Star FM okukolokota engeri Lukwago gy’akwatamu ensonga z’ekibuga ekikulu.

Mulindwa w’afiiridde ng’alina omusango gwe yatwala mu kkooti ng’agamba nti abakulembeze abalonde mu Kampala basaana basazibwemu kubanga etteeka mwe baalonderwa lyali kkadde ng’eppya erya KCCA teriboogerako.

Omusango guno tegukoma ku Lukwago wabula guzingiramu Bameeya okuli owa Lubaga, Kampala Central, Kawempe, Nakawa ne Makindye kw’ossa Bakansala era Pulezidenti Museveni yamala kusuubiza nti wa kwogera ne Mulindwa n’alyoka akkakkanya obunkenke.

MULINDWA MUWONGE NE NABILAH NAGGAYI

Mu musango oguwakanya abakulembeze abalonde mu Kampala mwe yazingira n’omubaka omukyala owa Kampala Nabilah Naggayi Ssempala era waaliwo akasattiro ng’akakiiko k’ebyokulonda nako kalaze nti tekeekakasa oba Nabilah ekifo akirimu mu mateeka.

Mulindwa mu mpaaba gye yateeka mu kkooti ya Twed Plaza yalaga nti Kampala yakyuka nga kati takyayinza kuyitibwa disitulikiti ezaalambikibwa nti z’ezirina okubeera n’abakiise abakyala mu Palamenti. Olutalo olwo, Pulezidenti era ye yalukkakkanya.

OLUTALO NE MMENGO

Wadde yasooka kuweereza ku CBS okuva mu 1996 era nga muwulize, wabula yatandika okulumba Mmengo n’abakungu ba Kabaka amangu ddala nga yaakeegatta ku Super FM mu 2002.

Olwo yali atandise n’okukolagana ne gavumenti era mu bimu ku bye yasimbako amannyo bwe bukumpanya bwe yalumirizanga abamu ku baweereza ba Kabaka e Mmengo.

OLUTALO NE SHEIKH MUZAATA

Wadde babadde bakwatagana ku ngeri gye bakolokota Mmengo, wabula Mulindwa ne Sheikh Nooh Muzaata Batte omwogezi w’ekiwayi ky’e Kibuli babadde tebalima kambugu.

Mulindwa abadde akolokota nnyo Muzaata era ng’ayogera lunye nti waliwo abatuma omusajja oyo okuvvoola abantu era kino abamu baalowooza nti Mulindwa abadde akolagana n’ekitebe ky’e Kampalamukadde okukolokota Kibuli.

OLUTALO LWE NE FRANK GASHUMBA

Mu 2006, Aisha Nabukeera yayokebwa era ne balumiriza muka kitaawe okubeera mu lukwe olwayokya Nabukeera. Awo olutalo lwa Mulindwa ne Gashumba we lwatandikira.

Olutalo luno lwatwala emyezi esatu nga Mulindwa alumiriza Gashumba okujingirira obujulizi obulumiriza maama omuto owa Nabukeera nti era kino yakikola agenderera kufuna luwenda lukuhhaanya nsimbi nti era bwe yamala okuzisolooza n’azeekomya.

Gashumba naye yalumiriza Mulindwa okubeera n’akakwate n’oludda olwali luvunaanibwa.

OLUTALO KU MUSOLO GWA VAT

Okuwakanya omusolo gwa VAT gwe yayogerangako nti gusindika abasuubuzi okusasula omusolo ogw’emirundi ebiri, era kyatuusa ne poliisi okumuyita ku CPS n’emukunya nga October 3, 1996.

Embeera yamwonoonekera kuba gwe baayita okubeerako by’annyonnyola baamusiibyayo era ne bamusuza mu kkomera. Omusango ogwali gumuvunaanibwa gwali gwa kukuma mu bantu muliro ng’abajeemesa okusasula VAT.

Mu kiseera ekyo, minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga yali yaakamala okufulumya ekiwandiiko nga October 1, 1996 bwe yalabulira abantu nga bwe yali ow’okukwata omuntu yenna anaasangibwa ng’akunga abantu okwekalakaasa.

OLUTALO LW’ETTAKA

Nga June 2, 1998, Mulindwa Muwonge yayitibwa Poliisi abeereko by’annyonnyola ku bigambo bye yali ayogedde ng’ayogera ku bubi obuli mu nnongoosereza mu tteeka ly’ettaka.

Baamuvunaana okusinziira ku pulogulaamu “Ekijja Omanyi” eyabeeranga ku CBS n’avumirira ennongoosereza eyali ereetebwa mu bbago ly’etteeka ly’ettaka.

Mu kiseera ekyo Pulezidenti yali akyogera lunye nti CBS yali ekuma mu bantu omuliro.

Mu March wa 1998, poliisi yamuyitako abeereko by’annyonnyola ku byali bigambibwa nti yali asussizza okwanika ebyama bya poliisi mu lujjudde.

Mulindwa yakolagananga n’abakungu ba poliisi ne bamubbira ebyama ku nsonga ez’enjawulo. Bwe yamalanga okubifuna yabitwalanga butereevu ku mpewo.

Mulindwa era abadde alwanagana n’abamu ku bagagga mu Kampala b’abadde akolokota ennyo naddala ku bufere n’obunyazi bw’ettaka ng’ayita mu pulogulaamu ‘Gafa Busa’ ku Star gy'abadde akola.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

As

Amateeka omutendesi Lampard g’atadde ku bazannyi ba Chelsea, singa yali mu kiraabu ya Uganda, singa talina muzannyi....

Rog1 220x290

Rogers Mulindwa ayogedde ku bya...

Rogers Mulindwa ayogedde ku bya Bobi Wine okufuna ssente mu America

Jip3 220x290

Bobi Wine bamusondedde ddoola mu...

Bobi Wine bamusondedde ddoola mu Amerika

Rem2 220x290

Halimah Namakula ayogedde ku nsonga...

Halimah Namakula ayogedde ku nsonga ya Rema ne Kenzo omulundi gwe ogusookedde ddala

Tip2 220x290

Halimah Namakula ayingiddewo okuva...

Halimah Namakula ayingiddewo okuva mu America yesunga mukolo gwa Rema