TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusuubuzi aleese bwiino ku ttaka lye bakaayanira ne nnamwandu wa Kaweesi

Omusuubuzi aleese bwiino ku ttaka lye bakaayanira ne nnamwandu wa Kaweesi

By Meddie Musisi

Added 23rd July 2017

Omusuubuzi w’e Nakasero, Sam Ssekyana agugulana ne nnamwandu w’omugenzi Felix Kaweesi ku ttaka e Luwero alaze bwiino akakasa nga bwe liri erirye nti Muky. Kaweesi ayagala kulimutwalako mu lukujjukujju.

Fa 703x422

Sam Ssekyana

Ssekyana eyazze mu ofiisi za Bukedde ku Lwokubiri yalumirizza Mukyala Kaweesi okwekobaana n’abantu abalala basatu okuli, Henry Migadde, Abubaker Kisigala ne Charles Kasozi babbe ettaka lye.

“Ettaka eryo eriwezza yiika 25 lyange wabula Kaweesi we yafiira, yali aguze ettaka eddene okumpi n’eryange kati nnamwandu ayagala kweyambisa Kisigala n’abalala atwale ettaka lyange,” Ssekyana bwe yategeezezza.

Okukakasa by’ayogera, Ssekyana yaleese ebiwandiiko ebikwata ku ttaka lino okuli n’empapula za Kkooti Enkulu mu Kampala kwe yaliteerako kaviyeti ssaako n’ekiragiro kya kkooti ekigaana omuntu yenna okubaako ky’alikolerako.

Wabula Ssekyana agamba nti wiiki ewedde, Mukyala Kaweesi yatutte tulakita n’atyoboola ekiragiro kya kkooti n’asenda ebirime bye n’emitti egiriko ng’ayagala okulisibako Ssehhenge.

Yagambye nti yadduse mangu ku poliisi y’e Luwero n’atwalayo ebiragiro bya kkooti abaserikale ne basituukiramu ne bagenda ku ttaka lino erisangibwa e Ngabo ne bayimiriza Mukyala Kaweesi okugenda mu maaso n’okusenda.

Wabula ensonda zaategeezeza nti Kaweesi we yafiira yali akolaganye ne bannannyini ttaka mu kitundu kino okuli, Migadde, Kisigala ne Kasozi ne bamuguza yiika 25 nga Ssekyana ow’ekibanja taweereddwa mukisa kwegula.

Gye buvuddeko, Ssekyana yagenze mu kakiiko akateekebwawo Pulezidenti Museveni okutawulula enkayaana z’ettaka akakulirwa Omulamuzi Catherine Bamugemeirwe n’aloopa Mukyala Kaweesi okusaalimbira ku ttaka lye.

Ku Bukedde Ssekyana yalaze lisiiti gye baamuwadde mu kakiiko ka Bamugemirwe ekakasa nti baafunye okwemulugunya kwe era ne bakuyingiza mu fayiro ezirindiridde okukolwako.

Omunyuka wa ssentebe w’ekitundu kino, Constant Kirumu yagambye nti Mukyala Kaweesi baamutegeeza ng’ettaka bwe liriko enkaayaana kyokka n’agenda mu maaso n’okusenda.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Emilian Kayima yagambye nti yabawadde ebbanga batuuke ku kaanya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi

Kuba 220x290

Minisitule efulumizza entegeka...

MINISITA w’Ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni azzizzaamu abazadde, abayizi n’abasomesa essuubi nti singa...

Kip1 220x290

Geo Steady ne mukazi we, Prima...

Geo Steady ne mukazi we, Prima omulamwa gwa Corona bagutegeera

Lab1 220x290

Fifi agabidde eb’e Ggaba eby’okukozesa...

Fifi agabidde eb’e Ggaba eby’okukozesa mu kiseera kya Kalantiini

Shutterstockeditorial10434333bm 220x290

Coronavirus: Amerika kiri bubi,...

Corona ayongedde okwewanisa abantu emitima okwetooloola ensi yonna era Pulezidenti wa Amerika Donald Trump yalabudde...