TOP

Ebizibu Zari by'ayitamu n'obuvunaanyizibwa bwe yeetisse

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd July 2017

ZARI Hassan bwe yavudde e South Afrika n’agenda e Kayunga n’atuula ku malaalo ga taata w’abaana be teyalowoozezza nti yeereetera buzibu.

Yita 703x422

Zari ng’atudde ku malaalo ga Ssemwanga.

Ng’amaze okwekubya ebifaananyi ku malaalo gano amakole ng’atadde n’obubaka ku bifaananyi bye yassizza ku mikutu gya social media nti, wadde wagenda sikwerabiranga, abantu baatandise okumulumba obutaba na mpisa abalala nga bwe bamulangira okukolera ‘show biz’ oba kiyite okweragira mu by’ennaku, okweraguza n’ebirala.

Abadde tannatereera ate nnyina, Halima Hassan n’afa era wandisuubidde nti abantu bandimukwatiddwa kisa okumusaasira olw’ekikangabwa naye ate baayongedde kumutabukira.

OMULAMBO BAASOOSE GUKWATIRA MU DDWAALIRO

Byatandikidde ku ddwaaliro e Nakasero nnyina gye yafiiridde nga babanja ssente ate nga tezirabika era omulambo okugubateera zaamaze kuggwaayo.

Bamulekwa mu kwogera mu lumbe ku kyalo Kalama mu ssaza ly’e Busujju, beebazizza abaabasondedde ssente ze baagambye nti zaabadde obukadde 50 ezajJanjabye maama waabwe.

Beebazizza abasama ababeera e South Afrika, mikwano gya Zari, ab’ekika n’abantu abalala.

Amasomero ga Ivan Ssemwanga aga Brooklyn Colleges e South Afrika gaawaddeyo ssente za Rand ez’e South Afrika 25,000.

YALAAMA KUMUZIIKA WA MUKUZA

Okusabira omwoyo gw’omugenzi n’okumuziika byabadde mu maka ga Hajji Senior Matovu eyali omukozi mu kitongole ky’amakomera ekya Prison era gye yalaama okumuziika.

Matovu y’omu ku baakuza maama wa Zari era yamusiima n’asalawo aziikibwe ewuwe.

EBIZIBU BYA ZARI EBIRALA

Ebizibu ebirala Zari by’ayitamu n’obuvunaanyizibwa bwe yeetisse kuliko:

  • Obutakkaanya ne famire ya Ssemwanga. Bwe yali tannafa, Zari ne famire ya Ssemwanga baalina obutakkaanya obwasajjuka nga Ssemwanga afudde ne mu lumbe e Nakaliro mu Kayunga, Herbert Luyinda yagaana Zari alangirirwe nga nnamwandu.
  • Wadde mu lukiiko lwa famire olwatuula nga bamaze okuziika okusalwo ku nzirukanya y’emmaali y’omugenzi bakkiriziganya okukolagana ne Zari, abamu ku booluganda kino baakiyita kiguumaaza nti olaba omukyala oyo yalemwa kukolagana ne Ssemwanga olwo ate abasikaabe!
  • Wabula omu ku mikwano gya famire ya Ssemwanga ataayagadde kumwatuukiriza mannya yategeezezza nti olw’embeera ya ssente, abamu ku booluganda lw’omugenzi baasabye Zari bakwatagane okulaba ng’abawa ku buyambi nga Ssemwanga bwe yali akola.
  • Zari alina abaana bataano nga ku bano, abasatu ba mugenzi Ssemwanga.
  • Olw’okuba mufumbo ew’omuyimbi Diamond Platnamz ono alina obuvunaanyizibwa okulabira abaana bano ekyenkanyi ekitali kyangu naddala ng’ali mu maka g’omusajja omulala.
  • Zari y’omu ku balabirira amasomero ga Brooklyn Colleges aga Ssemwanga e South Afrika wabula gye buvuddeko yategeeza ng’obuvunaanyizibwa bwe bumuyinze olw’emirimu emingi gy’alina ku masomero gano agasangibwa mu bibuga eby’enjawulo ate ng’alina n’ebirala bingi by’ateekeddwa okukola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’