TOP
  • Home
  • Ag’eggwanga
  • Sisinkana Paasita Muto eyasabira Bobi Wine: Atandise ekkanisa ku myaka 6 gyokka, asabira abantu ne bawona!

Sisinkana Paasita Muto eyasabira Bobi Wine: Atandise ekkanisa ku myaka 6 gyokka, asabira abantu ne bawona!

By Joseph Makumbi

Added 23rd July 2017

KU myaka 6 gyokka, Paasita Muto ng’amannya ge amatuufu ye Alex Kityo eyayatiikirira ennyo bwe yatandika okusabira Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) awangule akalulu ka Kyaddondo East, atandise ekkanisa.

Mwana1 703x422

Paasita Muto ng’asabira Kamulegeya. Ku ddyo, Nabayitawa ne mutabani we Kityo (Paasita Muto).

Kityo yalonda erinnya lya Paasita Muto olw’emyaka gye emimpi kwe yatandikidde okubuulira enjiri era limufudde mumanyifu nnyo okuva e Kasangati okutuuka e Manyangwa Zooni B gye bamuzaala.

Mutabani wa Ssaalongo Gerald Matovu ne Nnaalongo Grace Nabayitawa abatuuze b’e Manyangwa zooni B.

Mu maka ga bazadde be, mwe yakoze ekkanisa etuuza abantu abasoba mu 20 omuli abakulu n’abaana bonna abamukkiririzaamu okuba nti yakkako amaanyi ag’enjawulo agamusobozesa okusabira abantu.

NKOLA KATONDA BY’ANDAGIDDE;

Kityo bw’omutunuulira olaba omwana omuto n’omunyooma olw’endabika ye wabula bw’otandika okwogera naye, okizuula nti obwongo bwe bulowooza bintu bya kikulu ne by’afulumya mu kamwe, bya magezi ate nga bisengejjeddwa bulungi.

Agamba nti naye ebigambo by’akozesa okusabira abantu tamanyi gye biva wabula alabira awo nga bifukumuka bufukumusi nga kw’otadde n’ennyiriri z’ajuliza mu Baibuli ng’asabira abantu.

Yannyonnyodde nti bw’atandika okusaba awulira amaanyi munda mu ye agatuuka n’okubuulira abantu b’asabira ebibakwatako ng’olumu batulika ne bakaaba kyokka olumala okubasabira, naye kennyini aba takyajjukira byabadde ayogera.

ENGERI GYE YATANDIKA OKUSABA

Olunaku lumu nnali nneebase ne nfuna ekirooto nga ndaba Yesu bamukomeredde ku musaalaba naye nga mmuli ku lusegere nkutte ku kiwundu kye yalina mu mbiriizi ku mukono ogwa kkono era bwe baamubuuza ani gw’ayagala okugenda naye n’alonda nze.

Mu kirooto nnalaba nga tugenda mu bbanga nga tulinga abatuuse ku bire wabula ng’avaamu omusaayi mungi abantu abaali wansi ne bampita nsooke muzzeeyo wansi basooke bamusibeko ekiwundu kireme kuvaamu musaayi mungi.

Oluvannyuma nnalaba nga tuddayo wabula mu kugenda twasanga omuzimu ne ntya n’angumya mbimulekere ne neekweka mu mugongo gwe omuzimu bwe gwamulaba ne gudduka.

Ekirooto ekyo, kyampa amaanyi n’obuvumu ne ndaba nga kisoboka era sirina muntu kakibeere ekizibu kyentya kutomera era nkakasa nga nsobola okusabira omuntu yenna ate Katonda n’amukolera eby’amagero.

MAAMA WE ANNYONNYOLA

Nabayitawa nnyina wa Kityo yagambye nti; yasooka kusiba bikutiya ku nkondo n’ataayiza erudda n’erudda n’asabira omwo ne banne wabula oluvannyuma twali twebase essaawa zaali mu 11:00 ez’ekiro n’azuukuka n’atuzuukusa ffenna abaali mu nnyumba n’atugamba nti eddoboozi limugambye azuukuke asabe n’abali mu nju bonna. Ffenna twazuukuka okuggyako kitaawe.

Yasaba okutuusa obudde okukya ng’asabira ebizibu ebyali mu maka gaffe okwali ebbula ly’emmere ne kitaawe addemu afune omulimu akole.

Mu biseera ebyo, kitaawe yali amaze emyaka 6 nga takola oluvannyuma lw’okwegoba ku mulimu gye yali akola ogw’okukuuma naye nga bamuwa obusente butono.

 aasita uto ngali ne obi ine ne mukyala we abie ku lunaku lwe yalayidde Paasita Muto ng’ali ne Bobi Wine ne mukyala we, Babie ku lunaku lwe yalayidde.

 

Natulika ne nkaaba nga ndaba buli ekiri awaka omwana ky’asabira. Okuva olwo embeera yagenda ekyukamu waayita wiiki ssatu kitaawe n’afuna omulimu.

NASOOKA KULOWOOZA NTI ATABUSE OMUTWE

Ssaalongo Gerald Matovu kitaawe wa Paasita Muto yagambye nti, bwe yazuukuka okusaba ekiro, yasooka kulowooza nti omwana we atabuse omutwe kyokka oluvannyuma yagenda adda mu mbeera.

“Bwe yazuukusa abantu okusaba nze saazuukuka n’ambatiza erinnya ly’endiga eyabula era bwe yagenda mu katale e Gayaza okusabira abantu yabagamba nti mu nnyumba alinamu endiga eyabula era nalwa ddaaki ne nzikiriza okusaba.” Matovu bwe yagambye.

ATANDIKA EKKANISA;

Bwe yamala okutuzuukusa ne tusaba nga wayise ebbanga yampita n’ang'amba nti ayagala mmuwe galagi ateekemu ekkanisa ne mugamba nti mulimu enkoko, embuzi, n’obutiko n’ambuuza ku obutiko, enkoko, embuzi ne Katonda kiki kye nsinga okwagala ne mugamba nti Katonda kwe kunziramu nti kati nno mpa galagi.

Era ebintu byonna twabiggyamu n’ateekamu ekkanisa n’agituuma n’erinnya, ‘God is Able Church Manyangwa.’

Oyo gw’olaba tamanyi kusoma naye alina mukulu we, Rhodin Kamya gwe yawa omulimu gw’okumusomera Bayibuli era bw’abeera abuulira alina engeri ennyiriri za Bayibuli gye zimujjiramu mu mutwe n’amusaba azimusomere.

Famire yaffe tuli Bakatoliki era gye baatugattira ne mu bufumbo, tubadde tetugwa mmisa ebbanga lyonna naye okuva lwe yatandika ekkanisa twakyuka kati tulina kusabira wano.

EBY’AMAGERO BIMUTUNZE;

 

Wadde obuwanguzi bwa Robert Kyagulanyi Ssentamu ku kifo ky’omubaka wa Kyaddondo East bwabadde busuubirwa, n’essaala za Paasita Muto toyinza kuzibuusa maaso.

Nnyina wa Kityo yagambye nti, olunaku Bobi Wine lwe yeewandiisa, mutabani we yawulira abantu boogera ku Bobi Wine n’ababuuza y’ani n’abuuza oba baagala awangule akalulu n’abalagira bafukamire bamusabire.

Okuva olwo yatandika okusabira Bobi Wine nga tannaba na kumusisinkana.

Olwamusisinkana n’asimbula essaala eyawuniikiriza abantu abaali beetabye ku lukung'aana luno era mu bantu abatono Bobi Wine be yayingidde nabo mu Palamenti okumulayiza kwe kwabadde Paasita Muto kati gwatwala nga Nabbi we ow’ebyamagero.

ABAMUSOMESA BAMWEWUUNYA;

Paasita Muto asoma P.1 ku Bright Future P/S e Gayaza.

Omukulu w’essomero lino Eddie Kigozi yagambye nti, wanjawulo nnyo ku baana abalala be balina ku ssomero n’ategeeza nti, yeeyisa nga muntu mukulu wadde eby’emisomo gye tebinnaba kutereera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe

Omwala2webuse 220x290

Ab'e Kansanga beeraliikirivu olw'omwala...

Abatuuze e Kansanga mu Makindye beeraliikirivu olw'omwala ogwasalamu ekkubo gwe bagamba nti gwandigwaamu abaana...

Babaka1 220x290

Sipiika tuyambe naffe baagala kututta...

ABABAKA ba Palamenti musanvu baddukidde ewa Sipiika nga balaajana nti waliwo ababalondoola abaagala okubatta nga...

Kasasiro11webuse 220x290

Ab’obuyinza batadde amateeka amakakali...

Kasasiro mu kibuga Mukono yeeraliikirizza abakulembeze n'abatuuze ne basaba Gavumenti ebayambe

Besigye1 220x290

Poliisi e Jinja ezzeemu okulemesa...

POLIISI e Jinja ezzeemu okukwata eyaliko pulezidenti w’ekibiina kya FD, Dr. Kizza Besigye n’emuggalira ku poliisi...