TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisita Otafiire bamuyiiridde amazzi e Namboole

Minisita Otafiire bamuyiiridde amazzi e Namboole

By Moses Kigongo

Added 24th July 2017

“LWAKI Pulezidenti Museveni atuyisaamu amaaso? Lwaki buli lwe tumuyita atusindikira babaka? Bino bye bimu ku bibuuzo ebyabade bibuuzibwa bassentebe ba disitulikiti nga tebannayiira Kahinda Otafiire mazzi n’okumuwogganira abaviire.

Naba1 703x422

Minisita Otafiire ng’atobye, ate wansi ng’omuserikale amufulumya

Otafiire ye Minisita w’ensonga za Ssemateeka. Bassentebe baabadde mu kisaawe e Namboole mu lukiiko lwabwe ku Lwomukaaga gye baabadde bayise Pulezidenti Museveni okubaawo ate n’abasindikiramu Otafiire.

Emu ku nsonga ze baabadde baagala okubuulira Pulezidenti ya kubongeza misaala.

Ba ssentebe ba disitulikiti beegattira mu kibiina kya “Uganda Local Government Association” (ULGA) era kye kyategese omukolo guno.

Olwalabye Otafiire ne batandikirawo okuwoggana n’okumutuma eri mukamaawe(Museveni) akomye bbo kye baayise okubayiisaamu amaaso nga tajja ku mikolo gyabwe ng’ate agenda ku gy’okutongoza obumotoka bwa tukuku n’egy’abasamize.

Minisita Otafiire yasoose n’abatunuulira wakati mu luyogaano nga ssentebe waabwe ow’e Lwengo Godfrey Mutabaazi bw’abawooyawooya.

Kyokka effujjo lyeyongedde ne bamuyiira amazzi abaserikale ne baggya mangu ne bamufulumya nga talinnya.

 wapoliisi ngagezaako okukkakkanya bassentebe bamagombolola e amboole abaabadde bacoomera minisita ahinda tafiire Owapoliisi ng’agezaako okukkakkanya bassentebe b’amagombolola e Namboole abaabadde bacoomera minisita Kahinda Otafiire.

Bukedde bwe yayogeddeko ne ssentebe waabwe, Godfrey Mutabaazi yavumiridde ekikolwa ekyakoleddwa okukola effujjo ku minisita omulamba okumuyiira amazzi n’agamba nti kyabaswazizza era bakivumirira.

Yayongedde nti Pulezidenti alina emirimu mingi noolwekyo tayinza kubeera buli wamu nga nkuba.

“Kikyamu abakulembeze okweyisa ng’abantu abatasomye n’okulowoozesa abantu nti bw’oba oliko obutakkaanya bwonna obumalawo na kukola ffujjo.

Pulezidenti ajja kutusisinkana essaawa yonna ng’afunye akalembereza era ensonga zaffe ajja kuziwulira”. Mutaabazi bwe yategeezezza.

Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano, Emiliano Kayima yagambye nti Poliisi ekyetegereza akatambi akalaga nga bayiira minisita Otafiire amazzi.

Nti abo bonna abanaalabikiramu bagenda kuyitibwa ku poliisi bannyonnyole lwaki baakoze effujjo ku mubaka wa Pulezidenti n’okumutyoboola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...