TOP
  • Home
  • Ag’eggwanga
  • Bambi Baaba Baabuwe ow'eddiini ya Serulanda: Abadde mufere oba Nabbi wa Mukama?

Bambi Baaba Baabuwe ow'eddiini ya Serulanda: Abadde mufere oba Nabbi wa Mukama?

Added 24th July 2017

FAMIRE esitudde enkundi okubanja aba Serulanda emirambo gya bazadde baabwe gye baalemera.

 Mugonza Bambi Baaba Baabuwe

Mugonza Bambi Baaba Baabuwe

Abaana abaddukayo balojja bye baayitamu okuli n’okulaba omulambo gwa kitaabwe ng’abasajja ba Joseph Mugonza bagukalirira ku ssigiri!

Abaana b’omugenzi Hajji Sad Tebandeka eyali omusuubuzi e Kyotera n’e Masaka, Mugonza n’amubuzaabuza n’amufera n’amutwalako ssente, bizinensi n’egwa n’ettaka n’alitwala basituse okubanja emirambo okuli ogwa kitaabwe ne nnyaabwe Mugonza gye yalemera

. Mugonza abadde akulira enzikiriza ya Serulanda e Sesamirembe mu Rakai, yafudde wiiki ewedde.

Azze akola ebikolobero eby’enjawulo ku bantu okuli okubafera ssente enkalu n’okubatwalako ebyobugagga ebirala.

Omwaka 2008, Pulezidenti Museveni yateekawo akakiiko akaakulirwa Polof. Nelson Ssewankambo ne kanoonyereza ku Mugonza kyokka n’okutuuka leero lipooti tefulumizibwanga mu lujjudde.

Madinah Nabacwa, muwala w’abagenzi Tebandeke ne Rehema Wannyana baamutwala ewa Mugonza nga muto.

Okubonaabona kwe yayitamu ne baganda be nga kitaabwe afudde mu ngeri etaategeerekeka n’ebiwuniikiriza bye yalabayo abinyumya bw’ati:

Natandika okutegeera obulungi nga tubeera mu mpuku ewa Mugonza, taata yali musuubuzi ng’alina amaduuka agatunza engoye okuli ggomesi ne jjoola.

Edduuka erimu lyali ku kizimbe kati okuli Centenary Bank e Kyotera, eddala nga liri Masaka mu kibuga wakati. Mugonza olumu yajjanga ku dduuka ne bamuwa engoye, olumu ng’anona ssente enkalu.

Olunaku olumu yatuma omusajja Lugemwa ne bapakira ensawo za ssente bbiri n’azitwala. Maama yabapimiranga mmita z’ejjoola z’engoye era wano Mugonza we yava okumutuuma Hajjati Nammita.

Olumu Mugonza yajjanga n’agamba taata nti abantu be tebalina kyakulya n’abawa emmere.

Ennyumba Buloola, Mugonza mw’abadde atereka emirambo gy’abaafa nga girindirira okuzuukira.

TAATA NE MAAMA BAFA

Bwe wayingiranga ewa Mugonza nga takukkiriza kukolagana na bantu balala ne bwe babeera abooluganda lwo.

Eno waaliyo essomero abaana gye baasomeranga (Kirabo P/S), olumu taata yakeera n’atutwala ku ssomero n’agenda.

Twali tukyali ku ssomero mmo- Abadde mufere oba Nabbi wa Mukama?

Mugonza ow’eddiini ya Serulanda toka n’ejja okutunona nga ne maama mwali, taata saamulaba, omusajja Musoke ye yali agivuga wano we baatutegeereza nti taata yali afudde.

Jjajja n’abooluganda abalala bajja okunona omulambo Mugonza n’abagaana okugutwala nti omugenzi yali agenze mu Ggulu era yalaama nti tewali kumuzzaayo.

Bwe baasaba waakiri okumuziikako, Mugonza n’abategeeza nti bw’anaafuna obudde ajja kubategeeza bagende naye mu nnyumba BALOOLA (gye baaterekanga emirambo) aziike nabo basobole okuziikako naye obudde teyabufuna okutuusa lw’afudde.

Mugonza yalina akakiiko ke yalonda nga bwe wabeerawo afudde batwala omulambo mu nnyumba Baloola ne beggaliramu okumala essaawa nga ttaano nga tewali avauddeyo.

Ekiseera we baatwalirayo omulambo gwa taata, omusajja Nsimawuuno yajja ng’ava mu Baloola, omukyala Lutindaggezi n’amwebaza nti, ‘mugwebale omulimu!’.

Yayanukula nti, ‘omulimu tegubadde mwangu, amasavu gakyannemedde ku mikono!’ Ssaakitegeera kubanga twali tetukkirizibwa kulya nnyama wadde ekintu eky’omusaayi.

Nakitegeera luvannyuma nga tuli mu kakiiko akabuuliriza Byakuleka n’ategeeza nti baabaaganga emirambo ne bagiggyamu ebyenda ne babifumba mu kasuwa.

Olumu nali nva ku ssomero ne mpitira ku nnyumba Baloola gye bataatukkirizanga kugenda.

Nakunukkiriza ne nnigiza mu kadirisa awaali akatimbe akawenjuddwaako ne nnengera taata nga bamuyimirizza mu nsonda, bamusibye enkutu nga waliwo essigiri eriko omuliro.

Yali atiisa nga n’amannyo gali kungulu yenna akakanyadde!

Bwe natuuka eka ne mbinyumiza maama n’atulika n’akaaba. Waayita ekiseera nga taata afudde ne maama n’alwala n’azimba olubuto.

Mukulu wange Siraje Tebandeke ne Dr. Ssali baali baagala okumutwala mu ddwaaliro Mugonza n’abagaana, yamulabula nti bw’agenda mu maaso n’okulya abava ebweru bye bamuleetera ajja kwabika olubuto afe!

Okumuwonya yatulagira ffenna aba famire tugende tutyabe enku, omukulu aleete ensekese 15, abato ensekese 10 buli omu, yatulagira okugenda mu kiraalo Hajji Sad kye yaleka tugobe ente ssatu tuzimutwalire ne tubikola.

Olunaku lwakya nga maama asigaddeko kikuba mukono, Mugonza yalagira bamuteeke mu mmotoka bamutwale mu mpuku. Eno yamalayo ennaku ntono n’afa.

Yatulagira tumusaalire, omulambo ne bagutwala mu Baloola. Okutuusa leero tetumanyi gye yateeka mirambo gya bazadde baffe wadde okulaba ku malaalo gaabwe.

Minisita Kasolo (akutte ekiwandiiko) ng’asisinkanye nnyina wa Mugonza wamu ne muto we.

EBYOBUGAGGA BYE YATWALA

  • Yalagira mwannyinaffe Budallah Kateregga gwe yali atuumye Beebuda Baddadda awase omuwala. Omuwala yali ayita muka Mugonza ssenga. Nzijukirako yamulagira atwale ente 12 okwali ezirina eggwako nga ziva kw’ezo taata ze yaleka.
  • Kateregga bwe yalwala, maama wa Mugonza gwe twayitanga Tweyanze n’atulagira tutwaleyo ente emu ne ssente 150,000/-. Oluvannyuma jjajja Namabira yamutwala mu ddwaaliro e Biikira gye yafi ira, bwe baamutwala okumuziika ewaffe aba Mugonza ne bakola olutalo ne batwala omulambo.
  • Bazadde baffe nga bafudde, abooluganda baagabana ebintu ffe Mugonza n’atulabula nti tetugeza ne tukwata ku bintu eby’ebweru ebyaffe biri Ssesamirembe.
  • Ettaka yiika 63 eryali erya taata nalyo yali alitutte, bwe nakula ne ndinunula.

ENGERI GYE YAFERANGAMU

Ekitundu ky’e Sesamirembe gye yali ategeka okuzimba ekibuga Lake Victoria Free Trade Zone waali wagazi ng’alinamu ebifo eby’enjawulo. Yateranga okufuna ekifo mu kisaka ne basaawayo n’okumuzimbirayo obusiisira mw’abeera. Eno yakumangayo ebyoto.

Ebifo mwe yabeeranga kuliko; Mweyanjale, Nabaganja, Kyakasalaga, Bukaala era yalina empuku entono mwe yatuulanga.

Eno yagibeerangamu yekka n’olumu okutwalayo abamu abatono ennyo be yeesiga nga gy’asalirawo eby’ensonga.

Eyabeeranga ewa Mugonza nga bw’amuloota kibeera kyamagero, akeera n’akinyumiza banne ne basanyuka n’eηηoma ne zivuga.

Olumu abavubuka baateesa bagezese oba ddala abeera alondoola bye bakola kubanga yagamba nti buli we bali abeera abalaba.

Omu yalimba nti yaloose Mugonza ng’amwambaza akakomo era yagenda okukeera ku makya ng’akalina ku mukono. Kino Mugonza yakisanyukira nnyo era kimu ku byamagero bye yawandiikako mu katabo ke.

Olumu yeewaana nti aliraba ku mulambo gwe ajja kubeera waamukisa kubanga ye si waakufa. Bwe naddukayo ne ntandika okulya ennyama, enkoko n’ebirala saafa so nga yali atugambye nti tujja kufa.

Bwe yamanya nti ηηenze mu ofi isi z’ebyettaka okulondoola ettaka lya taata n’ankubira essimu n’aηηamba nti agenda kumbuulira erinnya mwe nnina okuwandiika ettaka eryo, bwe nagaana n’agezaako okuntiisatiisa.

Kibonwomu bwe yayitangawo ga batugamba nti oyo Bambi Baaba y’ayiseewo kyokka nagenda okufuluma ebweru nga mbiraba biyitawo buli kiseera.

Waaliwo omukolo gw’akagolomolo gwe baakoleranga e Bukaala nga beegezaamu okugenda mu Ggulu.

Yakkirizangayo bantu bakulu naye nga buli avaayo adda akaaba. Yazimbanga obusenge obufunda oyo agenze okukayitamu ne bamutulugunya mu ngeri ez’enjawulo.

Olumu yatugambanga okuzibiriza tunyige amaaso olumala ne bakubuuza ky’olabye, abamu nga bawa obujulizi nti balabye abamu ku baafa be baali nabo nga bali mu Ggulu.

Obulwadde nga bumugonzezza yatumira Dr. Ssali bamusondere ku ssente bamutwale ebweru okumujjanjaba.

Amerika yaferayo abadde takyasobola kuddayo kubanga yabaguza poloti ez’empewo mu kibuga kye.

Omukutu Mugonza gw’abadde asima atambuliremu okuva mu nnyumba mw’abadde asula okutuuka we basabira.

 

KATIKKIRO AKYEKOKKOLA SERULANDA

Katikkiro Charles Peter Mayiga yagambye nti enzikkiriza eno egwa mu ttuluba ly’ebidiinidiini ebifaanana ng’ekya Kibwetere ekyatta abantu abasukka 1,000 mu March wa 2000.

Yagambye nti ekidiini kino kyetaaga kuwera kubanga kiteeka obulamu bw’abantu n’ebyobugagga bwabwe mu katyabaga ate kituusa obulumi ku bagoberezi ne famire zaabwe.

Mayiga lwe yagenda mu kakiiko ka Polof. Sewankambo yategeeza aba famire yaabwe nga bakulembeddwa kitaabwe omugenzi Cyprian Mukasa lwe baagenda ewa Serulanda okunonayo ebisigala bya mwannyina Tereza Nanziri Bukenya.

Yannyonnyola akakiiko nti mwannyina Nanziri baali bamuziise ewa Serulanda, bwe baagenda okunonayo omulambo ne bagugaanira.

Ensonga baazitwala mu kkooti e Masaka n’ewa ekiragiro ne baziikulayo ebisigala bye n’omwana we ne babiziika e Nsambya Kalisizo.

OWOOLUGANDA LWA MUGONZA AYOGEDDE

George Nsubuga yategeezezza Bukedde nti Mugonza kojjaawe, era muzzukulu wa Lozio Kulazikulabe ne Veronica Nakalanzi (bagenzi) ab’e Lubumba- Kyannamukaaka mu Masaka be bazaala Mugonza.

Agamba nti bye bagamba nti Mugonza yaziikula amalaalo ga kitaawe bamuwaayiriza kubanga ye bwe yagenda ku kiggya we baaziika bajjajjaabe baamulaga amalaalo nga weegali.

Yannyonnyodde nti azze awulira bingi ebyogerwa ku Kojjaawe kyokka ebisinga bikyamu kubanga ye ewa Mugonza yatuukayo ne bamunnyonnyola bye bakola nga bw’alaba ebinnyonnyolwa bingi bikontana ne bye boogera.

Nsubuga yategeezezza nti mu kiseera kino abeera Kawaala mu Kampala akola gwa butembeeyi.

Okubeera nti kojjaawe tebagenda kumuziika tekimwewuunyisa kubanga baamunnyonnyola nti omuntu afudde bwe bamuziika ne bamuyiwako ettaka libeera limuzitoowerera bo kye bava basima akannya akatono ne bawummuzaawo omufu ne bazimba okugulumira ku ntaana ye.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo