TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Town Clerk eyatuuza olukiiko okuwa Movit ettaka atuuyanidde mu kakiiko

Town Clerk eyatuuza olukiiko okuwa Movit ettaka atuuyanidde mu kakiiko

By Benjamin Ssebaggala

Added 1st August 2017

OMULAMUZI Catherine Bamugemereire atabukidde Town Clerk, David Kyasanku eyatuuza olukiiko lw’e Jinja obukubirire okuwa omugagga wa Movit, Simpson Birungi olukusa okumenya ekizimbe ky’abasuubuzi e Jinja.

Tu 703x422

Kyasanku ng’ali mu kakiiko

Amulangidde okukola emirimu mu ngeri ey’ekibogwe ng’omuntu ataasoma, okuba n’obwongo obw’ekibogwe, obutalumirwa bantu balala ne yeewuunya oba ddala akyasaana okuba ku kifo ky’ekimu e Kasese gy’ali mu kiseera kino.

Kyasanku ebibuuzo byamuyinze obuzito ekiseera ne kituuka nga bwe bamubuuza ng’asirika.

Olumu yatudde ng’ayigulizza omulamuzi n’amulagira aleme kumukikinalako olwo ne yeekuh− haanya okutuula obulungi nga bwe yeetonda “nsaba kisonyiwo oweekitiibwa omulamuzi”.

Olwamaze okumubuuza byonna bye baagala n’ayongera ebitammuka, omulamuzi kwe kumulagira agende kuba baabadde baagala kuwuliriza mujulizi omulala.

Kyasanku yasabye omulamuzi amukkirize abeeko ebigambo by’amaliriza nabyo kwe kumuwa obutikitiki 30 abyogere.

Yeebazizza akakiiko okumuwa omukisa okuyiga kuba okuyiga tekukoma n’asuubiza nti ensobi ze yakola si waakuziddamu agenda kwongera okwegendereza ng’akola emirimu gye.

Wano Bamugemereire yakyukidde Kyasanku n’amutegeeza nti ssebo tebinnaba kuggwa, tugenda kuddamu okukuyita oyongere okutunnyonnyola ku mivuyo gye wakola e Jinja.

“Nkuwa amagezi oddeyo oyongere okusoma ku bintu bye wakola okuli ettaka ly’ekitongole ky’eggaali y’omukka lye wagabira bayinvesita 58, ettaka lya NARO eryali ery’ekitongole ky’ebyobuvubi, ettaka ly’ebibira e Kimaka n’ebirala kuba kirabika mmwe abantu b’e Jinja mwasinga kukola mivuyo buli we mwakwatanga” Bamugemereire bwe yamulabudde.

Kyasanku nga yaakayingira mu kakiiko yasoose kukuba kirayiro nti agenda kwogera mazima.

Munnamateeka w’akakiiko Ebert Byenkya yamwanjulidde ensonga n’amubuuza ky’amanyi ku mivuyo gy’ettaka ku poloti 60/62 okuli ekizimbe kya Busoga Mall ekya Birungi owa Movit owa kkampuni ya Birus Property Services.

Byenkya yategeezezza Kyasanku nti okusinziira ku bye baazudde, ye nga Town Clerk ye yali ssentebe nga kanso ya Jinja etudde okuyisa ekiteeso ekyawa Birus olukusa okumenya ekizimbe, kaliisoliiso wa Gavumenti yawandiika ng’abalabula baleme kumenya ne bamujeemera era kanso yatuula bukubirire okuyisa ekiteeso mu ssaawa 24 zokka nga kiwedde mu ngeri etali yaabulijjo.

Town Clerk ateekwa okukuuma ebintu bya Gavumenti bwe yamanya nti ekizimbe kya Gavumenti kimenyebwa talina kye yakolawo kukitaasa.

Omulamuzi yamujjukizza nti bye yakola ng’okujeemera ebiragiro bya Kaliisoliiso wa Gavumenti guba musango.

Ono bwe yavuddewo, akakiiko ne kawuliriza Charles Nampendo ateekerateekera ekibuga mu kiseera kino eyategeezezza nti ofiisi yaakagimalamu emyezi 4 kyokka okusinziira ku bye yasanga mu fayiro, Birungi yafuna pulaani ng’eyisiddwa newankubadde teyalina kyapa.

Tabitha Kakuze eyali ateekerateekera ekibuga ekiseera we baaweera Birungi ekizimbe bwe baamubuuzizza omwaka mwe yamalira dipulooma ku UMI ne diguli e Makerere n’ategeeza wakati wa 2000 ne 2010.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kot1 220x290

Eyali omubaka wa Lwengo mu palamenti...

Eyali omubaka wa Lwengo mu palamenti Getrude Nakabira afudde

Faz1 220x290

Ssabasumba asindise bafaaza 8 mu...

Ssabasumba asindise bafaaza 8 mu luwummula n'akomyawo faaza Musaala

Lip2 220x290

Mungobye ku kyalo naye nja kufa...

Mungobye ku kyalo naye nja kufa n’omuntu

Sit14 220x290

Polof. Nawangwe ataddewo akakiiko...

Polof. Nawangwe ataddewo akakiiko ku mivuyo gya gawuni e Makerere

Tip25 220x290

‘Temunkuba obwavu bwe bunkoza kino...

‘Temunkuba obwavu bwe bunkoza kino