TOP

'Ababagoba ku ttaka mubasibe emiguwa'

Added 2nd August 2017

MINISITA wa guno na guli, Haji Abdu Nadduli alagidde abantu abagobwa ku byalo basibe abagobaganya emiguwa, bamukubire ajje abakoleko.

 Haji Nadduli (ku ddyo) ng’ayogera eri abagobwa ku ttaka e Mpunge mu Mukono.

Haji Nadduli (ku ddyo) ng’ayogera eri abagobwa ku ttaka e Mpunge mu Mukono.

Bano bagobwa ku byalo 11 ku 20 ebikola eggombolola y’e Mpunge mu disitulikiti y’e Mukono.

Alice Nampiima ssentebe wa NRM mu ggombolola yategeezezza nti ebyalo bino kuliko; Mengo, Katale, Buzu, Mbale, Mpunge, Wansinga, Mbazi, Lulagwe ne Muvo. “Nkwatibwa ennaku okulaba ng’abantu abakaddiyidde ku ttaka lino nga baziiseeko n’abantu baabwe ate bagobaganyizibwa.

Ettaka lino lya Gavumenti (Public Land)naye abantu be tutamanyi nga ffe abakulembeze bavaayo n’ebyapa nga n’ettaka gye liri tebamanyiiyo ne batiisatiisa okugoba abantu.

Ntambudde ofiisi okuzimalayo ze nsuubiramu obuyambi nga ntya nti abantu bano bwe babagoba olwo 2021 obululu bwa Pulezidenti Yoweri Museveni ndibunoonya mu miti!” Nampiima omwennyamivu bwe yategeezezza.

Yanokoddeyo abagagga omuli Henry Ssaabaganzi eyaliko omukozi ku disitulikiti y’e Mukono, Brenda Nabukenya, omubaka wa Buvuma, Robert Migadde n’abalala.

Ssentebe wa NRM mu disitulikiti y’e Mukono, Hajji Twahir Ssebaggala yategeezezza Nadduli nti ng’ekibiina ekiri mu buyinza, baasalawo okulwanirira abantu bano okulaba nga tebagobwa mu bukyamu.

Ssebaggala yagambye nti, baatuuka n’ewa Minisita omubeezi ow’amazzi mu ggwanga, Ronald Kibuule n’abasindika ewa Nadduli naye eyasitukiddemu.

Abatuuze beekokkola obukulembeze okuviira ddala ku kyalo, oweggombolola, ssentebe wa disitulikiti Andrew Ssenyonga n’omubaka waabwe Johnson Muyanja Ssenyonga be baagambye nti babatuukiridde enfunda eziwera naye tebabayambye.

Edward Ssemutumba yagambye nti, bo ng’abantu ba wansi tebabalabamu mugaso, batinkiza na bagagga abaagala okubagoba nga tebayise mu mateeka.

Minisita Nadduli yagumizza abatuuze nti, tewali agenda kubagoba ku bibanja byabwe nga gavumenti ya Museveni y’eri mu buyinza.

Yabasabye okukomya okutuula obutuuzi ng’abagagga babagobaganya n’abasaba okukwata omu ku bagagga anaddayo okugenda gye bali ng’abagoba bamusibe ku miguwa olwo bamuyite amukoleko!

Yasuubizza okukuhhaanya fayiro zonna ezikwata ku nsonga z’abatuuze abagobaganyizibwa azitwale mu kakiiko akabuuliriza ku nsonga z’ettaka akakulirwa omulamuzi Catherine Bamugemereire, kazibuulirizeeko

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Munnayuganda abadde amansa ...

“Bannayuganda abasukka mu 20 be baakafa Corona e South Africa okuli; Caroline Nantongo abadde amanyiddwa nga Hajjati...

Gav't etumizza ekyuma ekyey...

GAVUMENTI etumizza ekyuma ekifulumya kemiko ezeeyambisibwa mu kukebera obulwadde bwa Corona n’endwadde endala....

Male Mabirizi

Mabirizi attunse ne Ssaabaw...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi asabye kkooti ya East Africa ezzeewo ekkomo ku myaka gya pulezidenti kubanga palamenti...

Kabaka tebagenda kumukongoj...

KABAKA Mutebi II si wakukongojjebwa ng’Obuganda bukuza amatikkira ge ag’omulundi ogwa 27 olw’okutya okusasanya...

Ow'emifumbi eyagobeddwa mu ...

OMUZANNYI w’emifumbi Geoffrey Lubega eyagobeddwa mu nyumba olw’okulemererwa okusasula ensimbi z’obupangisa adduukiriddwa....