TOP

Enjawukana tuzizze ebbali - Lumumba

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd August 2017

ENJAWUKANA mu bakulembeze ba NRM e Kalungu, zitiisizza ssaabawandiisi w’ekibiina Justine Kasule Lumumba nti zandibawanguza okulonda kwa LCV okugenda okuddibwamu.

Paka 703x422

Lumumba ng’akwasa Kyabaggu bendera ya NRM.

Lumumba yeesitudde n’agenda ku kitebe kya disitulikiti e Kalungu basalire wamu amagezi ku ngeri gye bagenda okweddiza ekifo kino.

Kyokka kaweefube teyavuddemu bibala nga bwe kyabadde kisuubirwa, olw’abamu obutakakasa nti enjawukana bazitadde ku bbali.

Munsisinkano eno eyategekeddwa Hajji Twaha Kiganda, ssentebe wa NRM mu disitulikiti, Lumumba yeewuunyizza abamu ku bakulembeze b’ekibiina abagundiivu, okuvaayo ne bawagira abatali mu kibiina.

Yabasabye nti wadde balina ensonga zaabwe ng’abantu basooke bazisse ku bbali bawagire Richard Kyabaggu owa NRM, bwe baba nga balina omutima ogulumirirwa enkulaakulana mu kitundu kyabwe n’ebiseera by’ekibiina eby’omu maaso.

Yabalabudde nti okubeegayirira kunaatera okukoma kuba ekibiina kikooye abantu abalemedde mu ntalo ezikizza emabega, nga n’abakulembeze bakooye okuvumwa buli lwe bawangulwa.

Minisita w’obulimi, obulunzi n’obuvubi, Vincent Ssempijja owa Kalungu East y’omu ku bakulembeze b’ekitundu abaabadde mu nsisinkano eno, n’awabula nti okwerumaaluma kuno tekufiiriza Kyabaggu yekka ng’omuntu wabula Kalungu efiirwa buli lwe bazibikira amakubo Gavumenti mwe yandiyise okubaweereza.

BASONZE KU BA NRM ABAKUKUTA N’OLUDDA OLUVUGANYA

Abamu ku bagundiivu abasongeddwamu olunwe, ku mivuyo mu NRM e Kalungu, ye Umar Lule Mawiya, ng’ono abeera ku mbiranye ne Minisita Ssempijja ku kifo kya Kalungu East.

Oluwangulwa asigala asiga obukyayi mu bawagizi nga bagamba nti kye kibalemesezza okwegatta ne bakolera wamu ng’ekibiina, era akalulu konna mu kitundu kino kabeera ka kweraga lyanyi wakati wa Ssempijja ne Muwaya wadde nga bombi ba kibiina kimu.

Anthony Yiga ne Joseph Mugagga bavuganya munna DP, Joseph Ssewungu mu Kalungu West, kyokka omu bw’agwa mu kamyufu ka NRM, tavaayo kulagira bawagizi be beegatte ku munne awangudde,nga kino kye kizze kiyamba Ssewungu n’abalala okubayitako enfunda eziwera.

Abalala kuliko bassentebe b’eggombolola, Ernest Munene owa Kyamuliibwa ne David Ssegawa ow’e Lwabenge, bakan

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...