TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri omuvubuka gye yaggye muganzi we mu bbanka n'amufumita n'amutta

Engeri omuvubuka gye yaggye muganzi we mu bbanka n'amufumita n'amutta

By Joseph Makumbi

Added 3rd August 2017

OLUKWE lw’okutta omuwala Fahima Natoolo omukozi wa Tropical bank lwabadde luwanvu, nga muganzi we yasoose kupangisa kazigo gye babadde basisinkana, oluvannyuma gye yamuttidde.

Lumba1 703x422

Natoolo ne Okoth ku kabaga ke baabaddeko nga tannattibwa. K u ddyo Natoolo nga bw'abadde afaanana

Natoolo 29, abadde akolera mu ttabi lya Tropical bank ery’e Masaka, yasisinkana Andrew Okoth ku yunivasite e Kyambogo bombi gye baali basoma, ne batandika okwagalana.

Omukwano gwabwe gwakula era okukkakkana, Natoolo n’afuna olubuto, n’azaala omwana kati aweza emyaka etaano.

Abaagalana baasalawo beeyanjule mu bazadde bafumbiriganwe mu butongole, era baakola enteekateeka ne batuukirira abakulu okubategeeza ku nsonga zino.

Kyokka mwannyina wa Natoolo, Mubarrak Kaweesi, yategeezezza nti bo nga aba famire baasaba Okoth asooke kusiramuka balyoke bamuwe omuwala kubanga abazadde baagaana okufumbiza muwala waabwe omusajja atali Musiraamu.

Okoth yagaana okukyusa eddiini era aba famire ya Natoolo obufumbo ne babugaana, kwe kusalawo muwala waabwe ne bamugabira omusajja omulala omusiraamu, nga mu kiseera ettemu lino we lyabeereddewo, yabadde bweru wa ggwanga ng’agenze kusuubula.

ENGERI OKOTH GYE YALUSEEMU OLUKWE

Okoth omukozi mu kitongole kya UMEME, alina amaka e Ntinda, kyokka mu ngeri etetegeerekeka, yamatiza Natoolo ne baddamu okwagalana mu bubba.

 azadde ba atoolo nga basobeddwa Bazadde ba Natoolo nga basobeddwa.

Okoth yali yapangisa omuzigo ku kyalo Nabwojo, e Kyaliwajjala-Namugongo, mwe babadde basisinkananga mu biseera ebigere.

Natoolo abadde yebbanga okuva e Masaka gy’abadde akolera n’ajja mu muzigo guno era nnannyini nnyumba, Isma Nfanjala yategeezezza nti Okoth abadde yaakapangisaawo emyezi ebiri emabega.

Omukuumi ku mayumba gano, Juma Tihago yategeezezza nti, abantu bano abadde atera okubalaba nga bazze nga bayingira mu muzigo guno kyokka nga ye akimanyi nti bafumbo wabula ng’ennaku ezimu tebasulamu.

Agamba nti nga bulijjo, bazze ku Ssande mu biseera eby’akawungeezi mu mmotoka ya Natoolo ekika kya Progres nnamba UAR 062F ne bagisimba wabweru ne bayingira mu nnyumba.

“Oluvannyuma lw’ekiseera, nawulidde amaloboozi ng’abantu bano bayomba n’okugalangatanya ebintu kyokka saakifuddeko. Oluvannyuma lw’eddakiika nga ziizo, amaloboozi gaasirise era nagenze okulaba ng’omusajja afuluma ng’asimbula mmotoka ng’agenda!” Tihago bwe yannyonnyodde.

ABA FAMIRE BATANDIKA OKUNOONYA

Oluvannyuma, aba famire baatandise okunoonya omwana waabwe ne bategeeza poliisi e Masaka.

Omukuumi yatandise okuwulira ekivundu n’atemya ku poliisi eyazze n’emenya oluggi n’esanga ng’omulambo gwa Natoolo gugahhalamye mu kitaba ky’omusaayi.

 oliisi ngetwala omulambo gwa atoolo e ulago Poliisi ng’etwala omulambo gwa Natoolo e Mulago.

Omulambo gwasangiddwaako ebiwundu ebiraga nti omutemu yamufumise ebiso ebiwera era nga yasoose kumukuba ppaasi ku mutwe eyamuleseeko ekiwundu eky’amaanyi era byonna ebyakozeseddwa mu ttemu lino poliisi yabikuhhaanyizza n’ebitwala.

Okoth bwe yamaze okutta muganzi we, yafunye ebiwundu ku mikono era yavuze mmotoka y’omugenzi n’agenda ku ddwaaliro eriyitibwa Lydda Medical Centre n’afuna obujjanjabi bw’ebiwundu oluvannyuma mmotoka yagisudde awo n’abulawo nga n’okutuusa kati tamanyiddwa gy’ali.

Poliisi yasaasaanyizza amawulire era aba famire we baategeeredde nga bwe waliwo omulambo gw’omukazi ogusangiddwa e Kyaliwajjala, kwe kusitukiramu ne bajja era bwe baatuuse, ne bakizuula nti ye muntu waabwe gwe baakoma okulaba ku Ssande.

Omuwandiisi ku LCI ey’ekitundu, Eric Ssentongo yategeezezza nti buvunaanyizibwa bwa bannannyini mayumba agapangisibwa okumanya kalonda akwata ku bapangisa baabwe kubanga Okoth babadde tebamumanyi mu kitundu ng’ennyumba eno agikozesa mu kyama.

Omwogezi wa poliisi ya Uganda, Hassan Kasingye yategeezezza nti bali ku muyiggo gwa Okoth asimbibwe mu mbuga z’amateeka ku ttemu lino.

Akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi y’e Kira, Mari Serino Mulema yategeezezza nti bagguddewo fayiro y’omusango, nnamba SD/13/04/08/2017, era we bwazibidde omulambo gwabadde gukyali mu ggwanika e Mulago.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190718192802 220x290

Okwogera kwa Pulezidenti Museveni...

Okwogera kwa Pulezidenti Musevebni eri eggwanga. Tuli mu maka g'Obwapulezidenti e Nakasero

Massagebeingdonewebuse 220x290

By'olina okutunuulira nga tonnakola...

Nakola masaagi ne ntemwako okugulu era ntambulira mu kagaali - Dr. Karuhanga

Omukubayizingalikobyanyonyolawebuse 220x290

Abawala abazaddeko mubazze mu masomero...

Abawala abazaddeko okudda mu masomero kyakuyigiriza abalala obutakola nsobi n'okubudaabuda abafunye obuzibu bwe...

Teekawo1 220x290

Akakiiko ka bannamateeka kasazizzaamu...

OLUKIIKO olufuzi olwa bannamateeka ba Uganda Law Society olukwasisa empisa lusazizzaamu ekibonerezo ky'emyaka ebiri...

Club 220x290

Vipers bagitutte mu kkooti lwa...

KIRAABU ya Vipers bagitutte mu kkooti lwa kukozesa akabonero kaayo (logo) nga tebasasudde yakakola. Era eyabawawaabidde...