TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abanyarwanda ababeera mun Uganda bakedde kulonda

Abanyarwanda ababeera mun Uganda bakedde kulonda

By Joseph Mutebi

Added 3rd August 2017

OKULONDA kwa pulezidenti wa Rwanda kutandise na bbugumu, bannansi baayo ababeera wano mu Uganda abasoba mu 7,000 bwe baakedde ku Lwokuna okukuba akalulu.

Electionsinrwandabyjmutebi2 703x422

Abanyarwanda nga basimbye ennyiriri ku kitebe kya Rwanda mu Uganda okulonda pulezidetni ku Lwokuna ku makya.

Basabye bannaabwe abali ku butaka amagezi okulonda n’obwegendereza ate mu mirembe.

Okulonda e Rwanda kwakubaawo olwaleero (Lwakutaano) nga August 4, 2017.

 banyarwanda nga basimbye ennyiriri ku kitebe kya wanda mu ganda okulonda pulezidetni ku wokuna ku makya Abanyarwanda nga basimbye ennyiriri ku kitebe kya Rwanda mu Uganda okulonda pulezidetni ku Lwokuna ku makya.

Abantu basatu okuli Paul Kagame eyaakafuga Rwanda emyaka 16, Frank Habineza ne Phillippe Mpayimana be bavuganya ku bwapulezidenti.

Okulonda mu Uganda kwabadde ku kitebe kya Rwanda ekisangibwa okumpi n’essomero lya Kitante P/S mu Kampala era kyakedde kukwatirira Abanyarwanda ababeera kuno.

Amabasada wa Rwanda mu Uganda, Frank Mugambage yategeezezza nti olw’ebyokwerinda basazeewo okulonda kuno mu Uganda kubeere ku kitebe kyabwe wokka era Abanyarwanda bonna ababeera mu Uganda wadde Gulu bavuddeyo ne bajja ne balondera wano.

Yagambye nti baasooka kwewandiisa, olwo akakiiko k’ebyokulonda e Rwanda ne bakaweereza amanya g’abalonzi ne kasunsulamu abantu era be basuubirwa okulonda.

 

Okulonda mu Uganda kwatandise ku ssaawa 1:00 ey’oku makya.

Amateeka gabalagira okukoma okulonda ku ssaawa 12:00 ez’akawungeezi wabula asangibwa mu layini essaawa zino nga ziweze, ajja kukkirizibwa okulonda kasita essaawa 6:00 ez’ekiro tezituuka nga tannalonda.

Yagambye nti ekirungi emirundi gyonna okulonda kw’e Rwanda okuzze kubeerawo mu Uganda, kubadde kwa mirembe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...

Ganja2 220x290

Ebintu 15 by’okola n’oganja ewa...

Edith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abaagalana n’abafumbo akuwa ebintu 15 byoyinza okukola okusobola okuganja n'okunyweza...

Condoms 220x290

Kkondomu ezirimu ebituli zisattizza...

Bannayuganda abettanira kkondomu za Life Guard baweereddwa amagezi okwekenneenya kkondomu ze bagula nga tebannazikozesa....

Thumbnailunaiemerypoints 220x290

Martin Keown anyiizizza aba Arsenal...

Martin Keown, omu ku bazibizi abaayitimukira ennyo mu Arsenal era nga yali mu ttiimu eyawangula Premier nga tekubiddwaamu...

Gareth Bale ali ku yoleke

Gareth Bale ali mu kattu olw’abawagizi ba Real Madrid abaanyiize olw’okulaga nti ttiimu eno y’ekoobera mu bintu...