TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Janet Museveni ayambalidde abasawo abatayagala kukolera mu byalo

Janet Museveni ayambalidde abasawo abatayagala kukolera mu byalo

By Muwanga Kakooza

Added 4th August 2017

MINISITA w’ebyenjigiriza Muky. Janet Museveni ayagala gavumenti esseewo kawefube ow’enjawulo ow’okutendeka abasawo abakola ku ndwadde z’okutabuka emitwe ng’agamba nti zeeyongedde nnyo ennaku zino.

Janet1 703x422

Ssentebe w’ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo by’abannansi n’abazaalisa Hajati Mariam Walusimbi (kkono) ng’akwasa Muky. Janet Museveni ebyavudde mu bigezo by’abasawo abaamaliriza dipuloma ne satifiekeeti mu bwa nnansi n’obuzaalisa.

MINISITA w’ebyenjigiriza Muky. Janet Museveni  ayagala gavumenti esseewo kaweefube ow’enjawulo ow’okutendeka abasawo abakola ku ndwadde  z’okutabuka emitwe ng’agamba nti zeeyongedde nnyo ennaku zino.

Muky. Museveni era asabye abasawo obuteesulubabba kugenda kukolera mu byalo ng’agamba nti abantu baayo nabo babeetaaga nnyo ng’ab’ebibuga.

Ategeezezza nti kyabuswavu abantu abamu okulowooza nti baasoma nnyo, baakitalo tebasobola kukolera mu byalo n’asaba omuze gukome.

Bino byonna abyogeredde ku mukolo gw’okufulumya ebigezo by’abasawo abasoma obwannansi n’obuzaalisa ogubadde ku kizimbe kya ofiisi ya Pulezidenti mu Kampala.

Ebigezo bino ebya dipuloma ne satifikeeti bitegekebwa ab’ekitongole ekibivunaanyizibwako ekya ‘Uganda Nurses and Midwives Examination Board' era okusinziira ku muwandiisi waakyo, Hellen Mukakaliisa Kataratambi, abayizi 4,326 be babituula.

 bamu ku basoma obwa nnansi nga bali ku mukolo Abamu ku basoma obwa nnansi nga bali ku mukolo.

Kuliko  aba dipuloma  497 nga kw'abo 439 baabiyise, 43 baabigudde 'fulaati' ate 15 ne batabituula.

Ku satifikeeti, abayizi 3,829 be baatuula 3,502 ne bayita ate 268 ne babigwa kya bugazi.

Ssentebe w’ekitongole, Mariam Walusimbi agambye nti amatendekero g’abasawo galina okutandika okusomesa abantu ebikwata ku ndabirira y’abantu abatabufu b’emitwe.

Muky. Museveni asibiridde abasawo entanda nti omulimu gwabwe gutwalibwa ng’okuyitibwa okuva ewa Katonda n’olwekyo basaanidde okugumira okukolera mu bitundu ebyewala.

Asiimye empisa mu matendekero g’abasawo ng’agamba nti tatera kuwulirayo kwekalakaasa.

Ayongeddeko nti abasawo tebatera kubulwa mirimu n’akubiriza abayizi okukwettanira okusoma obusawo n'obwannansi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Erias Lukwago alabudde abavubuka...

Erias Lukwago alabudde abavubuka abatava ku WhatsAapp ne Facebook

Hop2 220x290

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa...

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa

Jip1 220x290

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde...

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde obutwa

Kop2 220x290

Awonye okwokebwa abayizi be

Awonye okwokebwa abayizi be

Agaba 220x290

Amagye gazudde ebipya ku ttemu...

ABEEBYOKWERINDA bazudde ebirala ku ngeri omusawo wa IHK, Catherine Agaba gye yatemuddwaamu oluvannyuma lw’ennaku...