TOP

Museveni ne Magufuli batongozza okuzimba payipu y’amafuta

By Ahmed Mukiibi

Added 7th August 2017

OMULIMU ogw’okuzimba payipu y’amafuta eya kirommita 1,443 okuva e Hoima mu Bunyoro okugenda ku mwalo e Tanga mu Tanzania gutongozeddwa.

Bata 703x422

Pulezidenti Museveni (n’enkoofiira) ng’asika Magufuli mu mukono oluvannyuma lw’okutongoza payipu.

Pulezidenti Museveni ku Lwomukaaga yagenze e Tanga gye yeegasse ku Pulezidenti wa Tanzania John Pombe Magufuli okutema evvuunike ery’okuzimba payipu eno mu pulojekiti etuumidwa East African Crude Oil Pipeline (EACOP).

Payipu eno egenda kuzimbibwa okuva e Hoima mu Bunyoro gye basima amafuta ga Uganda okugatambuza okugatwala ku mwalo e Tanga mu Tanzania.

Gavumenti ya Uganda ne Tanzania zigenda kusaasaanya ddoola obuwumbi busatu n’obukadde 55 okuzimba payipu eno egenda okubeera ey’amasannyalaze nga gakuuma amafuta nga gabuguma mu bbanga lyonna ery’obuwanvu bwa kiromita 1,443 gye ganaagiyitamu.

Payipu eno egenda kutambuza amafuta ga bungi bwa liita 200,000 buli lunaku.

Omulimu gw’okuzimba payipu eno gusuubirwa okutwala emyaka esatu ng’abantu abakunukkiriza mu 10,000 e Tanzania ne Uganda bagenda kufuna emirimu mu pulojekiti eno.

Pulezidenti Magufuli yagambye nti ku mwalo e Tanga, abavubuka nga 4,500 be bagenda okufuna emirimu.

Pulezidenti Museveni yagambye nti Uganda erina amafuta ga bungi bwa liita obukadde mukaaga n’ekitundu n’agamba nti agamu ku mafuta gagenda kulongoosebwa mu Uganda ate amalala gatundibwe nga si malongoose nga gano ge gagenda okuyita mu payipu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funa 220x290

Square Milez ne Deborah Kandi temwekola...

ABAYIMBI Deborah Nakandi eyeeyita Deborah Kandi ne Kisaakye Micheal Joseph amanyiddwa nga Square Milez ebintu bye...

Baba 220x290

Swengere ne Maama Kalibbala bali...

HUSSEIN Ibanda amanyiddwa nga Swengere ne munnakatemba munne Maama Kalibbala bali luno.

Lap2 220x290

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka...

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka

Siralexferguson1132188 220x290

Aba ManU bampisaamu amaaso - Sir...

EYALI omutendesi wa ManU, Sir Alex Ferguson ayogedde ku mbeera eyali ttiimu ye gy'erimu n'agamba nti ekwasa ennaku....

Lop2 220x290

Bakasukidde ab’e Ntinda ebintu...

Bakasukidde ab’e Ntinda ebintu