TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyapangisiddwa okutta omuntu yasasuddwa emitwalo 20 gyokka!!

Eyapangisiddwa okutta omuntu yasasuddwa emitwalo 20 gyokka!!

By Moses Lemisa

Added 7th August 2017

OMUKOZI wa kkampuni enkuumi eya Tiger Security Group Limited eyapangisiddwa okutta omuntu baamusasudde emitwalo 20 okutuukiriza omulimu.

Tta1 703x422

Bruhan (ku ddyo) agambibwa okupangisa Omala (ku kkono) nga yeewozaako. EBIFAANANYI BYA MOSES LEMISA

Yabadde waakwongerwa 100,000/- ng’omulimu agumaze. Kyokka n’abakulira kkampuni eno bagambye nti beetegefu okuyamba ku poliisi okumuwaako obujulizi kubanga y’avunaanyizibwa ku bikolwa bye ng’omuntu, kuba si nkola ya kitongole kyabwe.

Joseph Owulo, omu ku baddukanya kkampuni eno ekozesa Alex Omala yategeezezza nti beetegefu okuwa poliisi obujulizi bwonna kuba bbo tebakkiriziganya na bamenyi b’amateeka.

mmundu mala gye yakozesezza okukuba essasiEmmundu Omala gye yakozesezza okukuba essasi

“Omala eky’okumupangisa agende atte omuntu yakikoze ku bubwe ng’omuntu so ssi kkampuni era ffe tuli beetegefu okukolagana ne poliisi okulaba ng’avunaanibwa.

Kkampuni yaffe eriwo kukuuma bantu n’ebintu byabwe, si kumenya mateeka. Omusango bwe gumusinga oba bw’aguwangula tetukyamwetaaga, agobeddwa,” Owulo bwe yategeezezza.

Ku Lwokubiri akawungeezi, Alex Omala omutuuze w’omu Katanga mu munisipaali ye Kawempe ng’akolera mu kkampuni ya Tiger Security Group Limited esangibwa e Ntinda, yalumba Claire Nimusiima 25, ku mulimu w’addukanyiza ‘mobile money’ e Wandegeya n’ekigendererwa eky’okumutta kyokka essasi ne litamukwata bwatyo Nimusiima n’adduka.

 imusiima eyasimattuse okufa Nimusiima eyasimattuse okufa

 

Omala yakwatibwa poliisi y’omu Kimwanyi eduumirwa Lonah Kamugisha eyamwongerayo e Wandegeya.

Omala ng’ali ku poliisi yategeezezza nti waliwo mukwano gwe Bruhan Hakim omuzimbi eyamuwadde ddiiru y’okumuttira muganzi w’e Nimusiima ng’era baateesa amusasula emitwalo 30, n’amusasulako 20.

Bruhan naye yakwatiddwa kyokka ne yeegaana okupangisa Omala. Bagguddwaako omusango ku fayiro SD REF:63/02/08/2017.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

See1 220x290

Hamza ne Rema baalaze kiraasi etabangawo:...

BULI eyabadde atuuka mu kifo omukolo gwa Rema ne Hamza ng’alabirawo ssente ezaayiiriddwaamu n’obutetenkanya. Baatimbye...

Yambala 220x290

Ebyambalo ku mukolo gwa Rema byamazeewo...

Patience Kentalo eyakuliddemu ttiimu eyayambazza Rema yagambye nti kibatwalidde emyezi mukaaga okulowooza n’okuteeka...

Wada 220x290

Obunkenke nga Hamza ayambaza Rema...

Akamwenyumwenyu kaabadde ka kiyita mu luggya omukyala bwe yazudde nti engalo ateeka ku nkyamu era n’amuwenyaako...

Tunda2 220x290

Abooluganda batabuse n’omuzzukulu...

ABOOLUGANDA batabuse lwa muzzukulu kutunda ttaka lyabwe okuli n’ebiggya nga tebamanyi.

Goba 220x290

Omukubi w'ebifaananyi bamugobye...

Aboolukiiko olufuga zooni ya Kazo Central 1 mu munisipaali y’e Nansana batabukidde Jamir Aligaweesa omukubi w’ebifaananyi...