TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kato Lubwama akuba bulatti mu gw'obutasoma ogwamuwawaabirwa

Kato Lubwama akuba bulatti mu gw'obutasoma ogwamuwawaabirwa

By Musasi wa Bukedde

Added 7th August 2017

OMUBAKA Kato Lubwama (Lubaga South) akuba bulatti, omulamuzi Steven Kavuma bw’agaanye okuva mu musango gwe nga Habib Buwembo bwe yasaba ng’alumiriza omulamuzi okuba ne kyekubiira.

United703422 703x422

Omubaka Kato Lubwama (wakati) nga yeetegereza ebiwandiiko ebyamuweereddwa e Makerere ku yunivasite gye buvuddeko

Looya Isaac Ssemakadde awolereza Habib Buwembo aludde ng’akissa ku mulamuzi Kavuma nti tasobola kusala musango gwa Kato mu mazima kubanga amulinako akakuku.

Buwembo yawawaabira Kato Lubwama ng’ayagala aggyibwe mu palamenti ng’agamba nti ebiwandiiko bye si bituufu.

Ssemakadde agamba nti okusinziira ku misango gy’abadde awoleza mu maaso ga Kavuma, egisinga agigoba nga ne mu guno bwe kijja okuba singa taguvaamu.

Leero, omulamuzi Kavuma awadde ensala ye n’agaana okuguvaamu.

Agambye nti yalayira obutaba na kyekubiira ng’asala emisango era nga kino ky’agenda okugenderako.

Ayonngeddeko nti walina okubaawo ensonga ey’amaanyi eggyisa omulamuzi mu musango naye Ssemakadde tagirina.

Kavuma agambye nti amateeka tegakkiriza muntu aleese musango kwerondera mulamuzi.

Mu musango guno, Kato Lubwama yajulira ng’awakanya ensala y’omulamuzi wa kkooti enkulu Margret Oguli eyakkiriza Buwembo okuleeta omusango oguwakanya obuyigirize bwe yadde ng’ekiseera mwe yalina okuguleeta kyali kyayitako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Yawenemunnengabakongolaenkoko1webuse 220x290

Mu kusala enkoko mwe ntandise bizinensi...

Emirimu gye nayitanga egy'abacaafu n'abataasoma mwe nfunye ssente ezinnyambye okutandika bizinensi endala n'okwetuusaako...

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo

Annotation20190722170617 220x290

Omwana eyattibwa aziikuddwa: Eyamutta...

Omwana eyattibwa aziikuddwa: Eyamutta abadde yamuziika mu nju

Annotation20190722170129 220x290

Ssentebe asobezza ku bazukulu be...

Ssentebe asobezza ku bazukulu be 2: Poliisi eyazizza amakaage ng'adduse

Dem2 220x290

Omukazi atuludde abasajja entuuyo...

Omukazi atuludde abasajja entuuyo