TOP

Museveni azudde lwe yabatizibwa

By Ali Wasswa

Added 8th August 2017

PULEZIDENTI Museveni, mukyala we ne famire ye bakuzizza emyaka 70 bukya abatizibwa ng’omukolo gwabaddewo ku Ssande.

Wata 703x422

Omulabirizi wa Ankole Dr. Sheldon Fred Mwesigwa ng’alaga Pulezidenti (owookubiri ku kkono) ne mukyala we (ku kkono) ekitabo omuli olunaku lwe yabatizibwa.

PULEZIDENTI Museveni, mukyala we ne famire ye bakuzizza emyaka 70 bukya abatizibwa ng’omukolo gwabaddewo ku Ssande.

Museveni yabatizibwa mu kkanisa y’e Kinoni nga August 3,1947.

Pulezidenti yasinzidde ku mukolo guno n’asiima eddiini olw’okuteeka obugunjufu mu bantu n’okulwanyisa obutamanya.

Yategeezezza nti naye kennyini abadde tamanyi lunaku lwe yabatizibwa.

Yeebazizza abaatereka ebitabo ebyamulaze lwe yabatizibwa n’olunaku nnyina ne kitaawe lwe baabatizibwa n’okugattibwa mu bufumbo obutukuvu.

Wadde ng’abantu bangi baabadde tebatwala lunaku kwe baabatizibwa ng’ekikulu era tebalukuza, bannaddiini balaze nti olunaku luba lukulu mu bulamu bw’omuntu.

Omulabirizi George Sinabulya, eyali owa Central Buganda yagambye nti wadde okukuza olunaku kwe wabatizibwa si kya bulijjo, akikoze taba na musango.

Yategeezezza nti abantu batera kukuza lunaku kwe baazaalibwa nga Pulezidenti okukuza olunaku kwe yabatizibwa tekirina mutawaana.

Omulabirizi Michael Lubowa owa Central Buganda naye yawagidde eky’okukuza olunaku omuntu kw’oba abatiziddwa kuba lw’oba wayingira mu kisibo kya Kristo.

Yawabudde abantu bonna abasobola okulukuza bakikolenga buli mwaka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Jodan111 220x290

Dortmund enywezezza Sancho

Dortmund eyongedde Sancho endagaano n'emuweerako n'omusaala omusava.

Rashford111 220x290

Atendeka ManU agobye Pogba mu kukuba...

Solskjaer agamba nti Rashford y'alina okusooka okwesimba mu peneti za ManU ng'omuzannyi omulala tannagyesimbamu....

Buchanan asimbiddwa mu Kkooti y'amagye...

Omusubuuzi wa zaabu Samuel Buchanan asimbiddwa mu kkooti y’amagye n'avunaanibwa okusangibwa n’emmundu n'amassi...

Kanso1web 220x290

Olutalo e Nakawa; Bakansala ne...

AKALEEGA bikya akali wakati wa meeya wa Nakawa, Ronald Balimwezo ne bakansala kasinze kwetooloolera ku nsonga za...

Buchanan asimbiddwa mu kkooti y'amagye...

Omusubuuzi wa zaabu Samuel Buchanan asimbiddwa mu kkooti y’amagye n'avunaanibwa okusangibwa n’emmundu n'amassi...