TOP

Kayihura ayimirizza abaserikale 3 e Nansana

By peter ssaava

Added 8th August 2017

OMUDUUMIZI wa poliisi Gen. Kale Kayihura ayimirizza abaserikale basatu e Nansana be yasanze nga bali mu mboozi mu kifo ky’okukola ku bantu.

Mata 703x422

Kayihura ng’ali ku poliisi y’e Nansana.

Abaserikale abaayimiriziddwa ye, AIP Agnes Ikwenya, Sgt. Margaret Andiru ne Cpl. Grace Atono, ababadde bakolera ku poliisi y’e Nansana mu ofiisi ekola ku nsonga z’abaana n’amaka.

Okuyimiriza abaserikale bano kyaddiridde Kayihura okugenda ku poliisi y’e Nansana ku Lwokutaano nga talina muserikale yenna gwategeezezza era bwe yatuuseewo n’asanga abaserikale nga bali mu kunyumya kyokka nga waliwo abantu abaagala okuyambibwa abatudde ebweru.

Kayihura yeewuunyizza okulaba ng’abaserikale batuula butuuzi mu ofiisi abantu ne babaleka nga tebabayam ku bizibu ebiba bibaleese ku poliisi.

Kayihura okutuuka okugenda ku poliisi y’e Nansana kyaddiridde okufuna amawulire g’okutemula abawala mu bitundu by’e Nansana n’asalawo yeesitule agende alabe ekigenda mu maaso mu kitundu kino.

Kayihura ku poliisi y’e Nansananga yatuukidde mu ofiisi eno nga yasanze abaserikale ba banyumya.

Tebaasoose kumulaba era yayimiridde ku mulyango okumala eddakiika nga ssatu nga tebamufaako.

Yayogedde n’abantu be yasanze ku poliisi ne bamubuulira ennaku gye bayitamu nga bazze ku poliisi okuyambibwa.

Abatuuze baamutegeezezza nti ofiisi y’ensonga z’amaka n’abaana abagikolamu batuuka essaawa ze baagala nga ne bwe babaawo tebafa ku bantu baagala kuyambibwa.

Abantu bagamba nti abakyala bwe baloopa babbaabwe nga babatulugunya abaserikale babakubira amasimu ne babasaba enguzi.

Okanda kwewuuba ku poliisi nga tebakunyega okutuusa lwebabivaako.

Abaakwatiddwa bagenda kuvunaanibwa mu kitongole kya PSU ekikwasisa empisa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Plane22 220x290

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi...

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi

Ssaavanaluvule1 220x290

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi...

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi ne batalabikako alula!

Img2247 220x290

Eyatutte omwana okumutuuma amannya...

OMUWALA aludde ng'alimba omuvubuka nga bw'alina olubuto lwe aliko omwana gw'amutwalidde wabula ne gamwesiba bwe...

Throw 220x290

Abavubira ku nnyanja Kyoga basatira:...

ABAVUBI ku nnyanja Kyoga basattira olw’amagye okulangirira nti essaawa yonna gayingirawo okufuuza envuba embi....

Malemabiriizi9 220x290

Mabirizi azzeeyo mu kkooti ku bya...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi azzeeyo ku kkooti Ensukkulumu n’ateekayo omusango ayagala esazeemu ensala y’Abalamuzi...