TOP

DP efunidde Kyuma kya Yesu looya amuwolereze

By Muwanga Kakooza

Added 8th August 2017

DP efunidde omuvubuka William Ntege amanyiddwa nga ‘Kyuma kya Yesu’ balooya abamuwolereza mu musango gw’okugwa omubaka Simeo Nsubuga mu malaka ng’amulanga okuwagira okukyusa Konsityusoni eggyibwemu akawaayiro akayinza okukugira Pulezidenti Museveni okuddamu okwesimbawo.

Simeo0703422703422 703x422

DP efunidde omuvubuka William Ntege amanyiddwa nga ‘Kyuma kya Yesu’ balooya abamuwolereza mu musango gw’okugwa omubaka Simeo Nsubuga mu malaka ng’amulanga okuwagira okukyusa Konsityusoni eggyibwemu akawaayiro akayinza okukugira Pulezidenti yenna awezezza emyaka 75 obutaddamu uddamu okwesimbawo.

Kyuma kya Yesu awerenemba n’omusango mu kkooti e Mubende ng’agambibwa nti yasinziira ku mukolo gw’okukuza amattikira ga Kabaka e Buwekula n’agwa omubaka Simeo Nsubuga mu malaka ng’amuliriza nti y’omu’’ kubabasibyeko’’  Pulezidenti Miuseveni.

Ssabawandiisi wa DP Gerald Siranda ategeezezza nti  ekibiina kisindise munnamateeka wakyo  Richard Lumu okwegatta ku bagenda okuwolereza gwe yayise ‘mutabani wa Uganda omuvumu’  Kyuma kya Yesu.

DP yalangiridde gye buvuddeko nga bwe yataddewo ekibinja kya balooya okuwolereza omuntu yenna anaakwatibwa mu kampeyini y’okulwanyisa okukyusa Konsityusoni okuggyamu akawayiro akakwata ku myaka 75 ayagala obwa Pulezidenti bw’eggwanga gy’alina obutasussa.

Pulezidenti wa DP Nobert Mao naye yategeeza gye buvuddeko  nti wadde tebawagira kikolwa kya kulumba na kukubagana na muntu awagira kawayiro kukyusibwa kyokka obubalagaze bwa Kyuma kya Yesu ne banne bwe balina ku pulezidenti babutegeera bulungi.

Siranda yanenyezza omulamuzi olw’obutakiriza kuta Kyuma kya Yesu kweyimirirwa. Ebyo nga biri awo DP etegeezezza nti bafunye munnateeka agenda okuwabira poliisi olw’okutulugunya abantu baayo abalala munaana abalumiziddwa mu kampeyini ya ‘k’ogikwatako’.

Era omusawo agenda kubeekebejja. Bagambye nti bagenda kuwa famile y’omutembeeyi Basemera  eyafudde ng’abaserikale ba KCCA bamugobanya mu Kampala munnamateeka esobole okuliyirirwa.

Ne basomooza loodi meeya Erias Lukwago obutakoma ku kuvumirira kikolwa kino kyokka wabula akalew akatiisa olw’ekikolwa kino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....