TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bbaasa w'essomero akubye omwana embooko 100 ku kabina n'amuyuza: Amwokyezza ne ppaasi

Bbaasa w'essomero akubye omwana embooko 100 ku kabina n'amuyuza: Amwokyezza ne ppaasi

By Vivien Nakitende

Added 9th August 2017

BAZADDE b’omwana Patience Kemigisha 13, asoma P5 ku Ndeeba Parents mu Ndeeba baddukidde ku poliisi.

Kola1 703x422

Kemigisha ng’alaga omusomesa bwe yamukubye n’amuyuza omubiri. Ku ddyo, Kemigisha ng'ali ne nnyina

Baagenzeeyo lwa musomesa kukuba muwala waabwe embooko 100 n’afuna ebisago eby’amaanyi, nga kati atambula awenyera. Kitaawe wa Kemigisha, Joseph Bahat agamba:

“Omwana wange baamukuba emiggo ku ssomero nga bamulumiriza okubba ssente z’omusomesa. Baamukubisa obukambwe obususse ne bamuleetako obuvune obw’amaanyi.

Omwana wange wa kisulo. Wiiki bbiri eziyise, nagendayo okumukyalira kyokka ng’atambula awenyera era nga si musanyufu. Namubuuza ekimutuuseeko n’anziramu nti, yeekoonye.

Olw’okuba nali mpapa, saamubuuza bingi, ne nvaayo.

Ab’essomero bwe baalabye awonyeemu, ne bamusindika ajje eka anone fiizi kyokka baamukomekkerezza obutoogera ku bya kibooko ze baamukuba! Wabula yabadde agenda okunaaba, tawulo gye yabadde yeesibye n’egwa! Nawulidde ensisi. Okukuba amaaso ku muwala wange, ng’akabina, ebisambi n’amagulu nkovu njereere.

Namubuuzizza ekyamutuuseeko, n’antegeeza nti omusomesa we Immaculate akola nga bbaasa ye yamukuba embooko 95 lwa kumubbako ssente ze 3,000/-.

Njagala amateeka ne minisitule y’ebyenjigiriza bannyambe kuba simanyi kizibu omwana wange ky’alifuna mu maaso olw’emiggo gino,” kitaawe bwe yategeezezza.

Omwana ayogedde

“Nali sirinaamu ssente ng’enjala ennuma, kuba emmere ku ssomero batuwa ntono nnyo.

Nalaba ssente mu nsawo ya bbaasa ne ntoolako 3,000/- ngule ekyokulya. Omusomesa omu yandaba ne ssente n’amutegeeza nti nze nzibye ssente ze.

Teyankubirawo naye obudde bwe bwaziba, olw’okuba asula kumpi ne ddoomu yaffe, yanzuukusa n’abaana abalala.

Yansalira embooko 150 era n’ankuba n’alagira n’abaana okunkuba. Ng’embooko 150 ze bansalira tezinnaggwaayo, nazirika era nagenda okudda engulu nga ndi wa metulooni. Nagezaako okutambula nga sisobola, n’okutuula kwagaana. Bbaasa yahhaana okwogera.

Yang'amba nti bwe nkikola ajja kunkuba emiggo egisinga ku gye yali ankubye.

Yangulira empeke ze mbaddenga mmira, era ne mu kudda awaka yahhamba nti ssinga njogera ebyaliwo ajja kuntemako engalo,” Kemigisha bw’agamba.

Oluvannyuma lw’abazadde okwekubira enduulu ku poliisi y’omu Ndeeba, poliisi yagenze ku ssomero lino ku Lwomukaaga kyokka omusomesa ayogerwako teyasangiddwaawo. Baakuttemu metulooni, Harriet Nakafeero.

Ku poliisi Nakafeero agambye nti; “Zaali ssaawa nga 6:00 ez’ekiro, omusomesa Immaculate n’azuukusa Kemigisha n’amukuba.

Nze nali nneebase ewange wabula bwe nawulira emiranga, nagenda ndabe ekituuseewo kyokka Immaculate yannemesa okutaasa omwana.

Omwana namutuukako ng’atiiriika musaayi, ng’engalo n’emikono bikubiddwa nga tasobola kukwata wadde okutambula. Omusomesa oyo yaleeta bbaketi y’amazzi okugamuyiira, ekyampisa obubi.

Nali mmugaana okukikola, n’amboggolera ate nga nange ndi mupya ku ssomero era nga nneeguya omulimu, kwe kusirika. Oluvannyuma omwana yagwa n’azirika.

Namuwujja okumala ebbanga n’alyoka adda engulu. Nasalawo okumunyiganga n’amazzi agookya era nange bahhaana okubaako kye njogera.

Yasiibanga mu kisulo okumala akaseera nga mmulabirira, kuba yali tasobola kutambula ne bamugulira empeke ze yamiranga nga bwe mmunyiga okutuusa bwe yatandika okutambula n’addamu okugenda mu kibiina.”

Poliisi eri ku muyiggo gwa nnannyini ssomero lino n’omusomesa abaatuusizza ekikolwa eky’obukambwe ku Kemigisha.

Bagguddwaako omusango gw’okutulugunya n’okutuusa obuvune ku muyizi oguli ku fayiro SD:19/04/08/17.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Netherlands1 220x290

Budaaki ewadde Uganda obuwumbi...

EGGWANGA lya Budaaki likubye Uganda enkata ya buwumbi bwa ssente bubiri, ziyambe mu kutumbuka eby’obulambuzi mu...

Mus12 220x290

Aba NRM bawonye okupangisa

Aba NRM bawonye okupangisa

Masasi1 220x290

Bakutte omujaasi ku kutta aba Mobile...

BULIJJO abantu bamulaba n’ekidomola ky’amazzi ekya kyenvu, nga balowooza nti aguliramu mmere ya bisolo.

Top31 220x290

Aba NRM bawonye okupangisa

Aba NRM bawonye okupangisa

Det1 220x290

Bakkaanyizza ku by’okutwala abantu...

Bakkaanyizza ku by’okutwala abantu ku kyeyo