TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Zuma atuuyana zikala: Ababaka baafunvubidde okumuggyamu obwesige

Zuma atuuyana zikala: Ababaka baafunvubidde okumuggyamu obwesige

By Musasi wa Bukedde

Added 9th August 2017

PULEZIDENTI wa South Afrika Jacob Gedleyihlekisa Zuma 75 yatuuyanye nga bwe zikala akawungeezi k’eggulo ng’ababaka ba Palamenti bafunvubidde okumuggyamu obwesige.

Zumadilemma 703x422

Zuma

Palamenti okwesimba mu Zuma kiddiridde ababaka naddala ab’oludda oluvuganya okumulumiriza nti taliimu nsa, avumaganya ofiisi y’Obwapulezidenti, talina mpisa, okulya enguzi kumusingira ebirala byonna era takyasaanira kubeera Pulezidenti.

Ababaka ba Palamenti ey’abantu 490 baatudde ku ssaawa munaana ne batandika okuteesa ku kiteeso ekiggyamu Zuma obwesige nga kyaleeteddwa akulira oludda oluvuganya Mmusi Maimane ow’ekibiina ne kiwagirwa ebibiina ebiri ku ludda oluvuganya omuli abazungu abaafuga South Afrika obumbula.

Wabula ab’ekibiina ekiri mu buyinza ekya ANC abasinga obungi mu Palamenti nga bawera 249 baafunvubidde okuwakanya ekiteeso ne basaba bannaabwe ab’oludda oluvuganya okujjukira South Afrika gy’evudde , baleme kutunuukira Zuma ng’omuntu.

Okuteesa ku kiteeso kino kwatutte kumpi essaawa bbiri oluvannyuma Sipiika Baleka Mbete n’alangirira okukuba akalulu ak’ekyama okugenda mu maaso era ababaka aboludda oluvaganya baasagambizza nga bwe bakuba akalulu kyokka aba ANC nga bali kitole okulaba nga Zuma asigala mu ntebe okumalako ekisanja kye.

Zuma yaakafugira South Afrika emyaka munaana okuva May 2009. Aboludda oluvuganya baabadde beetaaga ababaka ba ANC 50 okubeegattako olwo Zuma basobole okumusuuza entebe.

Naye bigenze okuggwa ng’ababaka 198 bagaanyi okumugoba ate 177 ne balonda okumugoba okukkakkana ng’asimattuse.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Employed 220x290

Akwana abawala n'ababba poliisi...

POLIISI ekutte omusajja agenda mu bbaala n’ebifo ebirala ebisanyukirwamu n’akwana abawala n’ababbako ebintu byabwe....

Sit51 220x290

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja...

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja kya University League

Kubayo 220x290

‘Bobi teyeewandiisanga kuvuganya...

WADDE ng’akakiiko k’ebyokulonda ke kakkiriza omubaka wa Kyadondo East, Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) okwebuuza...

Un 220x290

Abooluganda lwa Nabukenya owa Poeple...

OMUBAKA wa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine, asinzidde mu kuziika, Ritah Nabukenya...

Time 220x290

Ebipya bizuuse ku nfa ya Nabukenya...

ABAALABYE akabenje akaavuddeko okufa kw’omuwala wa People Power, Ritah Nabukenya bye boogera bikontanye ne lipooti...