TOP

Abaana ba Zigoti bali 52 n’abakazi 11

By Kizito Musoke

Added 9th August 2017

OLUVANNYUMA lwa Mmengo okukkiriza olumbe lwa Enock Kisuule Kato Zigoti okwabizibwa, abakyala bongedde okwesowolawo ne baleeta abaana b’omugenzi nga kati baweze 52.

Bala1 703x422

Abaana ba Zigoti (mu katono) abaalagibwa mu kuziika.

Kino kirinnyisizza omuwendo gwa bamulekwa okuva ku 28 abaalangirirwa mu kuziika Zigoti mu December wa 2016 ne batuuka ku 52.

Abaana si be beeyongedde bokka, ne bannamwandu baweze 11, okuva ku mukaaga abaasooka okulangirirwa.

Kyokka Samuel Kasanvu, muganda w’omugenzi yategeezezza nti bamulekwa, amanyi 28 kyokka enzigi zikyali nzigule eri omukazi yenna ayinza okuba ng’asirikidde omwana wa Zigoti.

Ensonda mu famire zaategeezezza nti okuva Zigoti lwe yafa, waliwo abantu abazze nga basonga mu baana ab’enjawulo nga bagamba nti ye yali abazaala.

Kyokka abakazi ab’enjawulo abagambibwa nti Zigoti yabazaalamu olwawulidde nti olumbe lukkiriziddwa ne beesowolawo ne baleeta abaana b’omugenzi, si kulwa ng’omusaayi guzaawa.

Kasanvu yategeezezza nti, “omuwendo gwa bannamwandu gwali gusukka mu mukaaga kyokka abamu baafa, kale tuyinza okugamba nti bali mukaaga”.

Okweyongera kw’omuwendo gw’abaana waliwo abakitunuulidde ng’ekiyinza okwongera ku lutalo lw’okukaayanira ebyobugagga by’omugenzi.

Ensonga enkulu ebadde esibye olumbe kwe kuba ng’abaana abamu babadde baagala kusooka kukkaanya ku nzirukanya y’ebyobugagga by’omugenzi.

NNAMWANDU OMU Y’ALI MU BINTU

Mu kiseera kino ebyobugagga bya Zigoti byonna birabirirwa nnamwandu Rose Kato.

Ebyobugagga ebyogerwako ye; kkampuni ya Zigoti Coffee Works Limited (ZICOFE) egula, okusunsula n’okutunda emmwaanyi.

Woteeri ya ENRO esinga obunene mu kibuga Mityana, kkampuni ya Kato Investments Ltd. etunda omwenge gwa Nile Breweries okuva e Bulenga ku lw’e Mityana okutuuka e Kagadi ne Kibaale, kkampuni y’emu ekola enguudo mu disitulikiti ez’enjawulo.

Rose Kato, obuyinza bw’okuddukanya ebintu bwamuweebwa bamulekwa ne bannamwandu nga Zigoti yaakafa.

Bakkaanya nti olw’okuba y’abadde asinga okutambula n’omugenzi y’asaanidde okugira ng’addukanya bizinensi zonna okumala ekiseera, ebintu bigabanyizibwe ng’olumbe luwedde okwabya.

Abaana nga bakulemberwa mutabani wa Zigoti omukulu, Eria Mulaliira babadde bawakanya eky’olumbe okwabizibwa nga bagamba nti basooke batereeze enzirukanya y’ebyobugagga bya kitaabwe.

Babadde baagala ku nnamwandu Rose Kato bagatteko amannya g’abantu abalala babe nga be bavunaanyizibwa ku byobugagga by’omufu.

Ensonga eno yatuusa Steven Sempewo, omukulu w’essiga lya Ndibaddukirawa omuva Zigoti mu Kika ky’Ennyonyi - Nakinsige okuwandiikira Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayingire mu nsonga eno.

Katikkiro ensonga yazikwasa, minisita w’ebyobuwangwa, Denis Walusimbi eyasisinkanye aba famire ne batuula mu nsonga. Oluvannyuma Katikkiro wa Buganda yawandiise ebbaluwa ng’akkiriza olumbe luno lugende mu maaso n’okwabya.

Mu bbaluwa ya Katikkiro wa Buganda gye yawandiise ku Mmande nga August 7, 2017 yalaze nti ensonga ezikaayanya aba famire za bya bugagga, ezitali za nnono.

Baakizudde nti ekirungi omusika tewali yabadde amuwakanya, kuba omugenzi yamwogera nga mu lwatu era abaana bonna nga bamumanyi.

Ebbaluwa era yalaze nti abaasaba okuyimiriza olumbe si bannyumba ya mugenzi, wabula b’aluggya n’olunyiriri lw’omugenzi. Kyokka ensonga y’okukkiriza okwabya olumbe yawakanyiziddwa abaana.

Waliwo abeesitudde ne bagenda e Mmengo ne beemulugunya, nti okusalawo tekwabaddemu bwenkanya kuba mu kufulumya ebbaluwa y’olumbe abawakanya tebaategeezeddwaako.

Kyokka baategeezeddwa nti ensonga z’olumbe ne Ssaabasajja yabadde azitegeddeko era nga yakkirizza okulwabya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tta 220x290

Eyatta owa bodaboda akkirizza okutuga...

Poliisi: Okimanyi nti obadde onoonyezebwa? Omusibe: Nkimanyi, kubanga akatambi akaatuleetera obuzibu nange nakalabako...

Pastorbugingo2703422350250 220x290

Bugingo asekeredde abaamututte...

Bugingo yasinzidde mu kusaba kw’omu ttuntu n’ategeeza nti tewali agenda kumugaana kwogera. Era ye talina muntu...

Abasumba 220x290

Abasumba bye baatudde ne basalawo...

ABASUMBA abakulira abalokole mu Uganda batudde ne bateesa ku nsonga za Paasita Aloysius Bugingo. Olukiiko lwakubiriziddwa...

Dpp 220x290

Omuwaabi wa Gavt. awadde ebiragiro...

OMUWAABI wa Gavumenti omukulu Mike Chibita asiimye okunoonyereza okwakoleddwa ttiimu ya Vision Group omuli ne Bukedde...

Teddybugingoaloysius 220x290

Enkambi ya Teddy evuddeyo ku by'obugagga...

ENKAMBI ya mukyala wa Bugingo ow’empeta Teddy Naluswa Bugingo etangaazizza nti, Teddy takkaanyangako kugabana byabugagga...