TOP

Akutte bba mu bwenzi ne mutoowe n’atabuka

By Musasi wa Bukedde

Added 9th August 2017

OMUKAZI akoze katemba bw’akubye omulanga ogusombodde abatuuze bw’akwatirizza bba lubona ng’asinda omukwano ne mutoowe (ow’omukyala).

Pamba 703x422

Zulupa (ku kkono) ne Mpanuka. Ku ddyo, Poliisi ng’etangira Nambi okulumba bba

Suzan Nambi 38, ye yakutte lubona bba Jamali Mpanuka 40, ng’ali bukunya afutubbadde ku Christine Zulupa 22, mu kazigo.

Nambi kino tekyamumalidde, n’agenda mu maaso n’asiba kkufulu ku kazigo n’abasibiramu olwo n’anona poliisi.

“Taata w’abaana okinkoze! Buli ku makya obadde onnimba nti ogenda kukola, sso ng’osooka kw’eggweera muto wange mu kazigo?’ Nambi bakira bw’abuuza ng’amaziga bwe gamuyitamu. Bino byabaddewo ku makya g’Olwokubiri essaawa 1:30 mu kabuga k’e Kamuli.

Nambi yategeezezza nti abadde amaze ebbanga ng’awulira ehhambo nti mutoowe akukuta ne bba mu kazigo mw’asombera abasajja, kwe kwagala abaanike era ataase obulamu bwe sikulwa ng’asisinkana ne basajja banne ne beekuba oba okumutta.

Mu kukuba abenzi olube, mwe mwawulikise n’amaloboozi ng’abamu nga bagamba nti gubadde muze gwa Zulupa okwegwanyiza bba wa mukulu we ng’era nti ye yatta n’eddya lye yasooka.

Poliisi oluvannyuma ye yazze ne kabangali n’etwala abenzi okuva mu kazigo mwe baabadde basibiddwa okubataasa abatuuze abaabadde bayinza okubakolako effujjo.

Akola ku nsonga za famire ku CPS, Richard Kagoda yeebazizza Nambi olw’okukuuma obuntubulamu n’atabatuusako bulabe, kyokka n’alabula abasajja okuva ku bwenzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lim1 220x290

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako...

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako omujaasi omutwe ne gubula

Wez1 220x290

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza...

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza eri abantu be Buikwe

Fut2 220x290

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga...

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga abaana ebikolwa eby'ekikaba

Fut1 220x290

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana...

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana baganzi be

Sad1 220x290

Engeri abazadde gye bayingiza abaana...

Engeri abazadde gye bayingiza abaana mu nsonga z’obwenzi