TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kopolo Kute owa Ebonies akwatiddwa lwa kuwamba muntu

Kopolo Kute owa Ebonies akwatiddwa lwa kuwamba muntu

By Joseph Makumbi

Added 9th August 2017

OMUZANNYI wa katemba nakinku mu kibiina kya The Ebonies David Kute akwatiddwa ku bigambibwa nti yeenyigidde mu kuwamba omuntu n’ekigendererwa ky’okumugoba ku ttaka ku mpaka.

Wamba 703x422

David Kute ng'ali ku Poliisi

Kute yakwatiddwa ku Mmande akawungeezi oluvannyuma lwa muvabulaaya okumuggulako omusango ne banne abalala abatannakwatibwa ku poliisi ya Kampalamukadde ng’abalumiriza okumuwamba.

David Lubanga yatutte omusango oguli ku fayiro SD 85/05/08/2017 ng’alumiriza nti, Kute n’abantu abalala okuli muganda we Chris Musoke baapangisizza abantu ne bamuwamba ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde.

Lubanga yagambye nti, mu 2003, kitaabwe Christopher Zziwa Musoke eyali akola mu bbanka enkulu yakwata eby’obugaggabye byonna n’abiwa nnyaabwe Alice Deborah Nakangu Musoke abaana n’abalekera ettaka eryali e Kauku ku lw’e Ntebe.

Yagasseeko nti, mu mwaka gwa 2007, yafuna ekirowoozo ky’okusimba emiti kubanga ettaka ly’e Mukono ku kyalo Nakabago nalyo nnyina yali alitunda.

Yagambye nti yakubira mugandawe Chris Musoke bagatte ssente baweze obukadde 40 bagule ettaka wabula ne yeerema.

Yagaseeko nti ettaka yalyegulira naasimbako emiti kika kya Pine wabula olw’obutakkaanya ne muganda we, yapangisa abantu ne bagenda n’amafuta ga petulooli ne bagasiba ku miti nga bataddeko emiguwa nga baagala bookye ekibira kya yiika 5 kweyali asimbye emiti.

“Katonda mulungi omuliro tegwakwata era ne bantegeeza ne hhenda ku poliisi y’e Mukono ne nzigulawo omusango CRB 147/2017 wabula omusango poliisi y’e Mukono yaguvulunga.” Lubanga bwe yategeezezza.

Yagambye nti, muganda we agezezzaako ebbanga ddene okulaba nga yezza ettaka kwe yasimba emiti era bangi baagezezaako okuliguza ng’abalemesa okutuusa lwe yasazeewo ayokye emiti gye yasimbako.

Yagambye nti nakyo bwe kyagaanye, kwekusalawo amuwambe naasindika abantu ku Lwomukaaga nga August 5 ku ssaawa 2:00 ez’ekiro era wakati mu byebaali banyumya mu Lusoga lwatategeera bulungi, abawambi we baaleteramu erinnya lya Kute.

Yagambye nti, oluvannyuma lw’okumuzunza okumala ekiseera, baamusula e Nakawa ne bamulagira adde ewuwe naagamba nti mu kunoonyereza kweyakoze yakizudde nga mugandawe y’abadde abateekamu ssente.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namaalwa1 220x290

Omukungu agobye ffamire ye mu muka...

OMUKUNGU wa gavumenti agobye ffamire ye mu maka. Kigambibwa nti agawasirizzaamu omukyala omulala.

Magogo1 220x290

Magogo bw'aba yalya enguzi tadda...

MUNNAMATEEKA Fred Muwema agambye nti emyezi ebiri FIFA gye yasibye Moses Magogo ng'akkirizza omusango gw'okutunda...

Haruna11 220x290

Embaga za ba Celeb; Tukuleetedde...

Ddala kituufu omuyimbi Haruna Mubiru awasa balinawo?

Rolex0 220x290

Ab'e Jinja beesunga kivvulu kya...

Omanyi ekivvulu kino kye kimu ku bisinga okukwatayo mu ggwanga wabula 'Abeyidinda' baludde nga beemulugunya lwaki...

2 220x290

Aba KCCA babakuutidde okuba abalambulukufu...

Abakozi b’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuteekerateekera ekibuga Kampala ekya KCCA bakubiriziddwa okubeera abalambulukufu...