TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Omuvubi abajaasi gwe baayokerezza emmaali yeetugidde mu maka ga mukyala muto

Omuvubi abajaasi gwe baayokerezza emmaali yeetugidde mu maka ga mukyala muto

By Ssennabulya Baagalayina

Added 9th August 2017

OMUVUBI gwe baayokerezza ebintu bye ng’abajaasi babagoba ku mwalo gw’e Mitondo e Bukakatta mu Masaka, yeetugidde mu maka ga mukyala muto, omusawo mu ddwaaliro ly’omu kitundu.

Kuba 703x422

Poliisi ng’etwala omulambo gwa Kyeyune (mu katono).

Fred Kyeyune bwe yabadde tanneetuga yasoose kucakala ne banne mu ndongo n’abagamba nti lwe lwabadde olunaku lwe basembye okumulaba n’abagulira omwenge n’ababuulira obuzibu bw’ayitamu bukya obutimba n’amaato ge bisaanyizibwawo abajaasi abaabagoba ku mwalo.

Bwe yavudde mu ndongo yasibidde mu maka g’omusawo nga yabasanze beebase ne yeetugira mu mulyango wakati. Mukazi we n’abaana tebaategedde nti yesse.

Beekanze ku makya okumusanga ng’alengejjera ku muguwa ne bayita abatuuze.

Kyeyune yeetugidde mu maka ga musawo Annet Nabasirye ng’omwana waabwe wa myaka ebiri gyokka.

Kigambibwa nti Kyeyune ssente bwe zaamuggwaako, Nabasirye n’alekera awo okumufaako nga kino kibadde kimutabula omutwe nga kirowoozebwa nti yakomyewo n’agaana okumuggulira kwe kusalawo okwetugira mu mulyango gw’ennyumba.

Mukwano gwa Kyeyune, Ivan Mulungi yagambye nti baayawukanye ku ssaawa 9:00 ez’ekiro ng’obwedda y’abaggulira omwenge. Ssentebe wa LCI, Lukuli Aloysius Ngobya Matovu yagambye nti Kyeyune abadde musirise ng’okuva lwe yawasa musawo Nabasirye abadde ajja n’obutimba bwe n’abwanika era abadde tamanyi nti balina obutakkaanya bwonna.

Musawo Nabasirye abudaabuda abalwadde ku by’akawuka ka siriimu ku ddwaaliro lya Bukulula Health Centre IV, yategeezezza nti bba abadde n’ebbanja lya bbanka nga limusuzza bubi.

Ssente ze yeewola yazigulamu obutimba n’amaato ng’amanyi nti ajja kuzizzaayo kyokka abajaasi bwe baabyokya embeera n’etabuka.

“Abadde akyogera lunye nti ebizibu bimuyinze obungi kuba talaba waakuggya ssente nga tavuba. Kyokka nga mugumya ebbanja tulisasule mpola nga simanyi nti munda alinamu endowooza endala,”Musawo Nabasirye bwe yagambye.

Abantu bagamba nti Kyeyune okwetta yasoose kwetegeka nga yatutte ensawo mu kaabuyonjo nga mulimu engoye n’ekifaananyi kye yeekubisa ne Nabasirye n’assaamu n’akapapula okuli nnamba z’essimu z’abantu be.

Ssentebe w’eggombolola eno, Charles Muyanja ne kansala Charles Sserwanja ne Mathias Kintu baasabye Gavumenti erabe engeri gy’eyambamu abaafiirwa ebintu byabwe kuban abasinga baabaleka mu mabanja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mazike 220x290

Fresh Daddy abawala batandise okumwerippa...

OBWASSEREEBU tebuva wala naye ne Fresh Daddy manya taata wa Fresh Kid bwe yayimbye ‘Mazike’ kati takyava mu bbaala...

Soma 220x290

‘Abaami mmwe mutabangula amaka’...

ABAKULEMBEZE n’abatuuze mu tawuni kanso y’e Luuka boolese obwennyamivu olw’omuwendo gw’amaka agasasika okweyongera...

Leo 220x290

Omusibe atolose ku baserikale abatuuze...

ABATUUZE ku kyalo Kimuli mu ggombolola y’e Maanyi mu disitulikiti y’e Mityana bavudde mu mbeera ne basuulira poliisi...

Sevo1 220x290

Aba NRM mu Buganda batongozza Museveni...

ABAKULEMBEZE ba disitulikiti za Buganda eziwera 10 bakwasizza Pulezidenti Museveni ekkanzu eya kyenvu, ekyanzi,...

Tta 220x290

Eyatta owa bodaboda akkirizza okutuga...

Poliisi: Okimanyi nti obadde onoonyezebwa? Omusibe: Nkimanyi, kubanga akatambi akaatuleetera obuzibu nange nakalabako...