TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Uhuru alangiriddwa: Abajaasi 20,000 bayiiriddwa ku nguudo mu Kenya

Uhuru alangiriddwa: Abajaasi 20,000 bayiiriddwa ku nguudo mu Kenya

By Musasi wa Bukedde

Added 12th August 2017

GAVUMENTI e Kenya eyiye amagye 20,000 mu Nairobi n’ebibuga ebirala eby’amaanyi. Abakola effujjo embooko ne ttiyaggaasi binyooka.

7db6d828fda74cd9b404232a240ea7f618 703x422

Uhuru n'omumyuka we Ruto

GAVUMENTI e Kenya eyiye amagye 20,000 mu Nairobi n’ebibuga ebirala eby’amaanyi. Abakola effujjo embooko ne ttiyaggaasi binyooka.

Kino kiddiridde akakiiko k'ebyokulonda okulangirira Uhuru Kenyatta ku buwanguzi n'obululu ebitundu 54.27 ate Raila Odinga bwe babadde ku mbiranye n'afuna ebitundu 44.74.

Amagye bagayiye okukola ku beekalakaasi oluvannyuma lwa Raila Odinga okuvaayo ne yeerangirira ku buwanguzi mu ngeri emenya amateeka.

Omusaayi gwayiise abantu ne bafa ng’abawagizi ba Raila Odinga ow’omukago gwa NASA mu bitundu ebimu nga Kawangware mu Nairobi ne Kisumu batandise okwekalakaasa.

Ab’oludda oluvuganya bakira bakiddingana lunye nti kompyuta z’akakiiko k’ebyokulonda zaakwatiddwamu omuwendo gw’obululu ogwabadde gufulumizibwa ne gukyuka okulaga nti Uhuru Kenyatta awangula ate ng’ekituufu omuntu waabwe , Odinga ye yabadde alidde akalulu.

Odinga ne banne baasinzidde ku bino ne beerangirira, era gavumenti kwe kusitukiramu neeyiwa amagye ku nguudo olw’effujjo n’okutta abantu ebyabadde bitandise mu bitundu bya Kenya eby’enjawulo.

Wabula eby’okukwata mu kalulu byawakanyiziddwa ab’akakiiko k’ebyokulonda ne kagamba nti ku tekinologiya gwe baakozesezza, tewali muntu ayinza kukwata mu kalulu kano era kye baliko kulangirira bisembayo Kenya efune omukulembeze omuggya mu bujjuvu.

ODINGA BAMUTADDEKO AKAZITO

Amawanga ag’ebweru wamu n’ebitongole ebitali bimu mu nsi yonna bivuddeyo ne bissa akazito ku Odinga aveeyo mu lwatu avumirire ebikolwa eby’okwekalakaasa ebikolebwa abawagizi be era ne bamulabula nti bw’ataakikole bino ne bigenda mu maaso, buli ekinaabivaamu kijja kussibwa ku ye.

Ye ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Wafula Chebukati olwawulidde ebyafulumiziddwa aba NASA bye baalangiridde n’abalabula ng’agamba nti akakiiko kaakulembera ke kokka akalina obuyinza okulangirira awangudde.

“Waliwo akakiiko k’ebyokulonda kamu mu ggwanga lino ke bayita IEBC. Eyeesimbyewo yenna bw’aleeta ebivudde mu kulonda gye tuli, tetuyinza kubyesigamako,” Chebukati bwe yalabudde.

Abatunuulizi b’ebyokulonda okuva mu Africa n’ebitundu ebirala baafulumizza lipooti ku Lwokuna ne bategeeza nti akalulu kaabadde ka mirembe, ka mazima na bwenkanya.

AWASINZE OKUBEERA OBUVUYO

Ebitundu poliisi gye yakubye amasasi n’omukka ogubalagala kuliko Mathare ne mu nzigotta e Kawangware mu Nairobi, Kisumu eno abantu beeyiye mu nguudo ku Lwokuna akawungeezi nga bajaganya obuwanguzi oluvannyuma lw’okuwulira ebyabadde birangiriddwa ab’oludda oluvuganya nga biraga nti Odinga aleebya.

alt=''

BBAASI EZIVA MU UGANDA ZIZZEEMU

Bbaasi eziva mu Uganda okudda e Kenya zazzeemu okukola kyokka bannannyini zo baakonkomalidde mu ppaaka ez’enjawulo nga tebalaba ku basaabaze kuba baabadde bajja musoolesoole.

Paaka ya bbaasi eya Namayiba ku Lwokuna bbaasi zaabaddewo nga zisimbye zirinda basaabaze.

Wabula ye Musa Mutagana maneja wa kkampuni ya Gateway esaabaza abantu okugenda e Kenya yagambye nti baabadde basazeewo okusooka okuyimiriza Abajaasi 20,000 bayiiriddwa ku nguudo mu Kenya okugenda mu Kenya nga bwe bakyetegereza embeera.

Kkampuni za bbaasi okuli: Dreamline , Mash Poa, Modern Coast Pather Bus Car , Moder Coast , Simba Crown ne Guardian zibadde ku bunkenke nga batya ebiyinza okuva mu kalulu bwe bajjukira ebyaliwo ku nkomerero ya 2007 n’entandikwa ya 2008.

Julius Masinde nga musuubuzi mu Uganda ne Kenya eyababde yaakadda okuva mu Kenya yagambye nti wadde abantu bali mu ssanyu n’okunyolwa olw’ebyavudde mu kalulu nga n’agamu ku maduuka maggale, ebidduka bitambula bulungi.

Yagambye nti nti gavumenti ya Kenya yatadde abaserikale ba poliisi n’amagye mu buli kifo nga paaka za bbaasi okutangira embeera eyaliwo mu kulonda kwa 2007 nate okuddamu.

Ebisale by’entambula byabadde byeyongeddemu naddala okuva e Kenya okudda mu Uganda abantu abatambula gye babadde basinga okuva nga byabadde bivudde ku ssente za Kenya 2,000 mu za Uganda 70,000/-okudda ku wakati wa 2,200 ne 2,500 eza Kenya mu za Uganda nga 85,000/- John Mutenda ssentebe w’ekitongole ekivunaanyizibwa ku bidduka ebisaabaza abantu ekya Transport Licensing Board (TLB) yagambye nti abavuzi ba bbaasi bandisoose kufa ku kya bulamu bw’abasaabaze nga tebanakola kintu kyonna kirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabuzi1 220x290

Uganda ekubye Malawi 2-0 n'ewaga...

MU Mupiira, waliwo enjogera egamba nti tewali buwanguzi bubi, wabula waliwo bw’otuuka ekiseera ng’olina okutunuulira...

Gendako 220x290

Engeri okwanjula kwa Hamza gye...

Ebika bibiri eky’Endiga n’Ekyolugave Rema mw’azaalwa byali tebimanyiganye era nga tebasisinkanangako.

Bwama 220x290

Rema annyonnyodde by'ayiseemu ng'anoonya...

Rema yabattottolera obuzibu bwe yayitamu ng’anoonya ekika kye. Nti olumu Rema yasisinkana Ssenga we Nabatanzi ku...

Laga 220x290

Rema yasoose kukolebwako mikolo...

E Kyengera mu wiiki eddirira emikolo, Rema yasoose kukolebwako mikolo gya buwangwa okwanjula Hamza, Rema yali ne...

Buuza 220x290

Embaga ya Rema eriko ebibuuza

Kirumira yagasseeko nti ennaku z’omwezi baakuzitegeeza abantu mu kiseera ekituufu; n’annyonnyola nti enteekateeka...