TOP

Engeri gy’oyambala obukooti bw’abawala n’olabika bulungi

By Musasi wa Bukedde

Added 12th August 2017

OMUSONO gw’obukooti abawala bwe bambalira ku ngoye guluddewo, naye buli olukya abayiiya emisono bavumbulayo engeri ey’enjawulo gye busobola okwambalwamu.

Londa 703x422

Akakooti ak’eppeesa erimu. Ekyokubiri; Kano aka musalankwawa akambalidde ku kateeteeyi akakwata omubiri. Ekyokusatu; Akakooti nga takambaliddeeko lugoye lulala. Ekyokuna; Wano ng’ayambaliddeko jjiini ya ‘damage’.

Ensangi zino obukooti obumanyiddwa nga ‘Kemono Flow’ bwe bumu ku bwettaniddwa nga businga kwambalwa abawala abafaayo okutambula n’omulembe.

Obukooti buno businga kusuubulwa okuva mu mawanga nga China, Dubai ne Thailand era nga bukolebwa mu dizayini ez’enjawulo ezibulabisa obulungi.

Businga kwettanirwa abawala abali wakati w’emyaka 18-35, era ekimu ku birungi byabwo kwe kuba nga tebuboola sayizi ya muntu kasita ayambala akamutuuka obulungi.

Bujjira mu langi z’enjawulo, obumu buliko amapeesa mangi sso ng’obulala buliko eppeesa limu wakati.

Obukooti buno osobola okubwambalira ku buteeteeyi obumpi, empale ya jjiini, ate ng’oluusi osobola okukambala kokka nga wansi tolina ky’oyambaliddeko era n’olabika bulungi, kasita kaba nga kabikka akabina oba okutuuka ku maviivi.

Obukooti buno oluusi butungibwa nga bwa mikono miwanvu, ate obulala buba bwa mimpi oba musalankwawa.

Obukooti buno bugula wakati wa 50,000/- ne 100,000/-, okusinziira ku matiiriyo n’ekifo w’oguze.

Rema Kugonza omukugu mu by’okwambaza abantu agamba nti ‘Kemon Flow On’s’ zettaniddwa nnyo abawala abategeera ebyokwambala kubanga teziboola ngoye ng’osobola okugyambalira ku mpale ne ku buteeeteyi obukwata omubiri, n’olabika bulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kaweesitdweb 220x290

Abavunaanibwa okutta Kaweesi beeyanjudde...

Nga bakulembeddwa munnamateeka waabwe, Geoffrey Turyamusiima, okuva mu Wameri & Company Advocates beeyanjudde mu...

Katwe3web 220x290

Aba Ghetto beegaanye Butchaman...

Kawooya yagambye nti ku lunaku Museveni lwe yali e Katwe, abavubuka b’omu Ghetto e Katwe tebaayitibwa newankubadde...

Godfreybangirana678381 220x290

Kkooti eragidde ofiisa wa poliisi...

KKOOTI enkulu ewozesa emisango gy’engassi eragidde dayirekita w’ekitongole kya poliisi ekikola ku by’okugula ebikozesebwa...

Abamukubaakwatiddwa3 220x290

Poliisi ekutte 30 mu kikwekweto...

Paul Kibuuka ssentebe wa Kiggundu zooni yategeezezza nti obumenyi bw’amateeka buba ng’obukendeeramu mu kitundu...

Kawesi 220x290

Abavunaanibwa mu gwa Kaweesi beeyanjudde...

Bano baali baakwatibwa oluvannyuma lw'ettemu mu bitundu by'e Kkulambiro gye battira omugenzi Kaweesi mu 2017.