TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Abatawagira Uhuru baasuze beekalakaasa oluvannyuma lw'okumulangirira ku Bwapulezidenti

Abatawagira Uhuru baasuze beekalakaasa oluvannyuma lw'okumulangirira ku Bwapulezidenti

By Musasi wa Bukedde

Added 12th August 2017

AKAKIIKO k’ebyokulonda e Kenya aka IEBC olwamaze okulangirira Uhuru Kenyatta okuwangula akalulu, abawagizi ba Raila Odinga ne batandikirawo okukola effujjo mu bitundu ebitali bimu.

Kenyaunrest 703x422

Abamu ku baabadde bookya ebintu.

Mu kiro ekikeesezza Olwomukaaga, abantu okuva mu ggwanga lya Odinga (Luo) oba Abajaluwo ne batandika okwokya ebintu by’abo abava mu ggwanga lya Kenyatta erya Abakikuyu.

Omuliro gwasuze gwaka mu bintu by’ekibuga ekikulu Nairobi naddala ebirimu omugotteko oba biyite Ghetto nga kuno kuliko Kibera ne Mathare.

Poliisi eyabadde yabeetegekedde edda yabatimpudde ssaako n’okuzikiriza ebintu ebyabadde bikutte omuliro.

Yagobaganye nabo n’okukuba amasasi mu bbanga n’ekwatako abawera 60 n’ebaggalira.

Okwawukano n’akalulu ka 2007 akaalimu okuyiwa omusaaayi n’okukola effujjo, ku mulundi guno Uhuru n’ekibiina kye ekya Jubilee baalabise nga beetegese okwang’anga abakozi b’effujjo ssaako n’entegeka okulemesezza ddala okwekalakaasa okubaayo.

Baatandise na kulwisaawo kulangirira bivudde mu kulonda nga kino baakikoze bakigendereddwa okusobozesa okusaasanya amagye ne poliisi mu bitundu byonna, okwenyweza okubega abo bonna abaakola effujjo.

Yadde ssemateeka waabwe abawa eddembe okulangirira mu nnaku musanvu, bwagenda okukya ku Lwokusatu ng’omuwanguzi ategeerekese naye baasazeewo okulwisaawo, okukkakkanya embeera.

Ekirala, obwedda abakwatibwako mu kwekalakaasa nga bakangavvulwa nnyo era abasoba mu bantu musanvu battiddwa.

Beekutte n’abatunuulizi b’ebyokulonda okwabadde eyaliko minisita wa Amerika ow’ensonga z’ebweru John Kerry, eyaliko pulezidenti wa South Afrika Thabo Mbeki n’abalala abaasazewo okwogera olulimi lumu nti tewaabadde kubbira.

Ekyo bwe kyawedde baasazeewo okussa akazito ku Raila Odinga nti buli aneekalakaasa bujja kuba buvunaanyizibwa bwe ssaako n’ebintu ebinaayonooneka.

Kuno emikutu gy’amawulire e Kenya egy’amaanyi okuli Citizen, NTV, KTN n’empapula z’amawulire byazasazeewo okutayogera ku beekalakaasi n’okukola effujjo ne bakumalamu amaanyi.

Ng’ebyo byonna babimaze, akulira akakiiko k’ebyokulonda Wafula Chebukati ng’asinziira ku kitebe kyakakiiko kano e Bomas mu Nairobi yategeezezza nti Uhuru obwapulezidenti yabuwangulidde ku bululu 8,203,209 nga buno bwenkana ebitundu 54.27 ku 100.

Ate Raila Odinga bwe babadde bavuganya ennyo nga yeesimbawo mu mukago gwa NASA (National Super Alliance) yafunye obululu 6,762,224 nga buno bwenkanankana ebitundu 44.74 ku buli 100.

Ng’amaze okuweebwa satifi - keeti emukakasa nga Pulezidenti omulonde, Uhuru yeebazizza Katonda, omumyuka we William Ruto ne bannansi ba Kenya bonna okumwesiga ne gavumenti ye okuddamu okubawa ekisanja ekirala okuddukanya Kenya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsamb6webuse 220x290

Abeddira Engabi balabuddwa ku kufumbiriganywa...

Omukulu w'ekika ky'Engabi Ensamba, Alysious Lubega Magandaazi avumiridde bazzukulu ba Nsamba abeewasa nga beekwasa...

Hosp81webuse 220x290

Bakansala basimbidde eky’okuddiza...

Bakansala mu lukiiko lwa munisipaali ya Mukono baagala eddwaaliro lya Mukono waakiri lireme kusuumusibwa bwe liba...

Weblweranew 220x290

Tetuzze kugoba balimira mu Lwera...

Dayirekita wa NEMA, Dr. Tom Okurut yatangaazizza nti abakugu baabwe baasooka kwekenneenya ttaka lino nga tebannawa...

Rwe11 220x290

Bannalwengo boogedde ku bulamu...

Bannalwengo boogedde ku bulamu bwa Getrude Nakabira

Love 220x290

Nnannyini ssomero bamusimbye mu...

ASADU Wamala nannyini ssomero lya Wamala Mixed SS e Mpigi leero azzeemu okusimbibwa mu maaso g”omulamuzi Moureen...