TOP

Balumirizza Ssaabalamuzi Katureebe okwekomya ettaka yiika 840

By Musasi wa Bukedde

Added 13th August 2017

FAMIRE e Luweero erumirizza Ssaabalamuzi Bart Katureebe okwekomya yiika z’ettaka 840.

Bart 703x422

Aba famire ya Gwonyoma abakaayanira ettaka lya Ssaabalamuzi Bart Katureebe (mu katono wansi)

Naye abaanukudde nti ako kabinja ka bafere abagenderera okwonoona erinnya lye n’okumuggyamu ssente ku ttaka lye.

Yabagambye nti ettaka lye bayita eryabwe n’ekyapa kye batambula nakyo kyasazibwamu dda kyokka bagenda babuzaabuza abantu nti ekyapa kituufu.

Agamba nti balowooza tasobola kuvaayo kwerwanako olwa ofiisi gy’alimu.

ENTANDIKWA

Ebiwandiiko biraga nti omugenzi Samuel Kizza Gwonyoma yafuna liizi ya myaka etaano mu 1976 ku ttaka lino eriri ku Bulooka nnamba 980, ku poloti 19, ku kyalo Kabulamugwa ekisangibwa e Ngoma mu Disitulikiti y’e Nakaseke.

Abaana b’omugenzi Gwonyoma abaakulembeddwa omusika John Bosco Walusimbi ne bannamwandu babiri okuli Ruth Kigongo ne Joyce Namuddu, baategeezezza nti bwe baafuna obuyinza obulabirira ebintu by’omugenzi tebaasooka kukitegeera nti ettaka lyabwe liriko ekyapa ekirala.

Okukitegeera nga bamaze okuliguza Godfrey Banunu.

Walusimbi yategeezezza nti emyaka gya liizi etaano gyaggwaako mu 1981 era kitaabwe teyasobola kuzza buggya ttaka olw’olutalo.

Ebiwandiiko biraga nti nga June 1, 1992, Gwonyoma yasaba bazze obuggya liizi ye ng’awa ensonga ssatu

  • Ettaka yalizimbako ebidiba by’ente mukaaga era yalissaako olukomera lwa ssehhenge,
  • Alundirako ente 275,
  • Alinako olusuku n’ennyumba.

Ebiwandiiko biraga nti mu 1995 yapangisa George Mugyenyi ku ttaka lye alundireko ente ebbanga lya myaka 10 okutangira ettaka lye obutabbibwa. Endagaano ya Mugyenyi yaggwaako mu 2005.

Kigambibwa nti Mugyenyi ye yatwala abalala ku ttaka eryo nabo babapangise.

Walusimbi yalaze endagaano eyakolebwa nga September 14, 2007 ng’eraga nti kitaabwe Gwonyoma yapangisa Omulamuzi Bart Katureebe (kati Ssaabalamuzi) ekibanja alundireko ente 100.

Endagaano eraga nti yali ya myaka esatu nga buli mwaka ateekwa kusasula obukadde busatu, kyokka ye alaga nti ekiseera ekyo yali yagula dda ettaka eryo.

Mu mwaka 2010, Gwonyoma yagwa ku kabenje ng’akyama ewuwe ne mukyala we Damalie Babirye ate ne mukwano gwe Mugyenyi naye n’afa mu kiseera ekyo.

Walusimbi yategeezezza nti baafuna ebiwandiiko ebikwata ku ttaka lyabwe nga biraga nti liizi ye yazzibwa obuggya kyokka ng’ekyapa tebannakitereeza.

“Twafuna obuyinza ne batuwa ekyapa nga tewali muntu yenna yeemulugunya nti yagula ku tatka lino.

” Yagambye nti ekiseera ekyo waliwo abantu abaali basenze ku ttaka eryo nga nabo balyekomezza.

“Olw’okwewala entalo, twasalawo ekitundu awali abantu abalala tukisaleko era twakutula mu kyapa abalala ne tubaleka ebbali ne tusigaza ettaka lyaffe nga tewali alirinako kiwandiiko kirala,” Walusimbi bwe yagambye.

Yagambye nti baalemwa okukozesa ettaka eryo ne basalawo okulitunda.

Baaliguza omusuubuzi Godfrey Banunu ku bukadde 760 era nti yakebera bulungi ettaka n’ekyapa kyabwe nga tekiriiko nkaayana yonna era nga ky’ekiri kyokka mu kompyuta.

Yagambye nti nga bamaze okuguza Banunu ettaka, kwe kubayita ku poliisi nti basaalimbira ku ttaka lya Ssaabalamuzi.

Banunu gwe baaguza ettaka yagambye nti azze yeekubira enduulu mu ofiisi ez’enjawulo nga tayambibwa era ensonga yazitutte mu kakiiko k’omulamuzi Bamugemereire nga August 7, 2017 bamuyambe.

SSAABALAMUZI ANNYONNYODDE

Ebiwandiiko bya Ssaabalamuzi biraga nti ettaka yaligula nga December 1, 2005 okuva ku mugenzi George Mugyenyi ku ssente obukadde 280 era ekyapa aba famire ya Gwonyoma kye batambuza kkooti yalagira ne kisazibwamu.

Omulamuzi okuligula yasooka kwetegereza bulungi nti Mugyenyi ye nnannyini ttaka lino.

Endagaano eraga nti olukiiko olufuga ettaka ku disitulikiti y’e Luweero oluyitibwa Luweero District Land Boad lwatuula nga August 11, 2003 ne lusalawo awatali kwetemamu ne luwa Mugyenyi ettaka eryo era ebiwandiiko byonna weebiri.

Ekiteeso kwe baaweera Mugyenyi ettaka kiri ku ‘minute 45’ (ekiteeso 45).

Oluvannyuma Mugyenyi yaguza Ssaabalamuzi Bart Katureebe ettaka era endagaano zaakolebwa ekyapa kikyali mu mitendera gy’okukifulumya.

Mu 2006, ekyapa kyafulumira mu mannya ga George Mugyenyi. Mu 2007, ettaka lyazzibwa mu mannya ga Bart Katureebe kuba yali yaligula dda mu 2005.

Ssaabalamuzi Katureebe yagambye nti Gwonyoma yagenda okufa nga tebalina mbiranye yonna era nga naye akimanyi nti ettaka lirye.

Yategeezezza nti ekizibu kyava ku muguzi Godfrey Banunu n’abaana kubanga bwe baalaba nga kitaabwe afudde ne batandika okukebera ebiwandiiko kyokka ne batagoberera bulungi abatudde ku ttaka baagendako batya.

Yagambye nti baalaba empapula eziraga nti taata waabwe yali asabye ettaka kyokka ne batakebera oba baali baamuwa.

Yagambye nti omugenzi alabika yamala ebbanga nga tazzizza buggya liizi ye ate George Mugyenyi yali yalisaba dda era ng’akakiiko kaalimuwa dda.

Yategeezezza nti olw’okuba tebaafaayo kunoonyereza, baakozesa olukiiko olufuga ettaka ensobi ne babawa ekyapa ate ng’ettaka liriko ekyapa ekyasooka okukolebwa mu 2006.

“Ekyapa kya Mugyenyi gwe nagulako kyafuluma mu 2006 ate ekyabwe baakibawa mu mwaka 2012 nga bakimanyidde ddala nti nze nnannyini ttaka kyokka nga bakikola okwagala okukozesa ebiwandiiko ebikadde okwagala okunzigyako ssente nga balowooza nti nja kutya.”

Yagambye nti omugenzi we yafiira nga ye alimazeeko emyaka etaano ate nga liriko ennyumba ye ey’obuwangaazi era nga lyonna yalisiba ffaamu nga liriko n’ente ezisoba mu 500.

Yagambye nti olw’okuba baagala kumwonoona, eyagula ettaka eryo ayinza atya okusanga ebyobugagga ebyobuwangaazi ku ttaka n’atakola wadde okunoonyereza okumanya oba ettaka teririna bwannannyini! Omubaka Luttamaguzi Ssemakula yagambye nti ky’amanyi nti

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sky2 220x290

URA eggaddewo SkyLight Arcade abasuubuzi...

WAABADDEWO akassattiro mu kibuga abasuubuzi abakolera ku kizimbe kya Sky Light Arcade bwe baasanze ng'amaduuka...

Ssaavabazigu1 220x290

Abagambibwa okubba Abachina e Nkoowe...

ABAVUBUKA abagambibwa okubbisa eryanyi nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti Enkulu etuula...

Sooto2 220x290

Embeera ya Ppaaka Enkadde: Okw'enkuba...

Enkuba bw'etonnya Ppaaka enkadde fuula nga kiraalo kya nte!

Kubbiri6 220x290

Olutalo lwa Ssennyonga ne Kakande...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga aguze ekizimbe okumpi n'ekkanisa ya Nabbi Samuel Kakande ku bbiri e Mulago, embiranye...

Kabz 220x290

Kabushenga asiimye KCCA FC

"Kino kigenda kumpaliriza okulaba emipiira gya KCCA nga ntandiika n'ogwa CAF Confederations Cup.