TOP

Engeri taata wa Nnaabagereka gy’avudde mu kaduukulu

By Musasi wa Bukedde

Added 14th August 2017

JOHN Luswata okuyimbulwa mu kkomera kyaddiridde enteeseganya ez’amaanyi nga famire ye esala entotto okulaba bwe bafunamu obukadde 28 okuzisasula omusajja eyamututte ku poliisi ng’azimubanja.

Panda 703x422

Amaka ga Luswata mu katono

Bya Godfrey Sempijja

.................................................................................

Ssente zino zaava mu poloti, Luswata gye yatunda emirundi ebiri.

Omusango gwagguddwaawo ku fayiro nnamba SD Ref 46/28/07/17. Luswata ye taata wa Nnaabagereka Sylvia Nagginda.

Okuva lwe yakwatiddwa ku Lwokutaano mu ttuntu, famire ye ebadde mu kusala ntotto engeri gy’ayimbulwamu.

Enkiiko ezaataasizza Luswata Nnaabagereka teyazeetabyemu naye ensonda okuva mu famire zaatutegeezezza nti obwedda ebigenda mu maaso babimutegeeza ku ssimu.

Famire yasoose kwetemamu ng’abamu tebaagala kudduukirira mukulu Luswata nga bagamba nti ayitirizza okwetaba mu buvuyo bw’ettaka mu bitundu by’e Nkumba ne Kasenyi, kitaabwe Nelson Ssebugwawo gye yalina ettaka eddene, kyokka ne bakkaanya nti olw’obulungi bwa famire ya Ssebugwawo n’ekitiibwa kya Nnaabagereka, basale amagezi agamuggyayo.

Luswata yakwatibwa ku Lwokutaano ng’avunaanibwa okutunda ettaka ery’empewo n’aggalirwa ku Poliisi y’e Mpala e Ntebe.

Dr. Ian Ssendawula, omutuuze w’e Kitende ku luguudo lwe Ntebe ye yagenze ku poliisi n’aloopa abooluganda basatu okuli; John Luswata Ssebugwawo (taata wa Nnaabagereka), Edmund Ssebugwawo n’omulala eyategeerekeseeko erya Steven.

Dr. Ssendawula agamba nti ku ntandikwa ya February wa 2017, yatuukirira abooluganda abo abasatu ne bamuguza poloti y’ettaka eweza obugazi bwa fuuti 100 ku 100 ku bukadde 28 nga kuliko n’ekyapa.

Ettaka lino lisangibwa ku kyalo Bufulu-Nkumba, okuliraanira ddala ekikomera ky’amaka g’omutaka, omugenzi Nelson Edmond Nkalubo Ssebugwawo eyali jjajja wa Nnaabagereka.

Kyokka ekyaggya Ssendawula enviiri ku mutwe, agenda okudda ku ttaka lye baamuguza oluvannyuma lwa wiiki bbiri, n’asangako abazimbako.

Eyali azimba yamutegeeza nti wano yali yagulawo dda, era ng’abantu be bamu be baamuguza. Bwe yatuukirira abaamuguza, baasalawo okutuuza olukiiko nga famire ya Ssebugwawo, kyokka baagenda okwekenneenya ekyapa nga tekikwatagana na poloti gye baali batunze.

Oluvannyuma lw’okukizuula ng’eby’ekyapa tebikwatagana, Dr. Ssendawula yabasaba bamuddize ssente ze asobole okunoonya ettaka eddala ly’agula.

Kyokka abakwate baatandika okumubuzaabuza nga bwe bamutegeeza agumiikirize kuba baali bajja kumufuniramu ettaka eddala.

Dr. Sendawula baamutumidde ababaka ab’enjawulo okutuusa lwe yakkirizza ne batuula ne bakkaanya.

Luswata yaweereddwa ennaku musanvu zokka okunoonya obukadde 28 azimusasule era ekyo bwe kimulema agende asimbibwe mu kkooti avunaanibwe okutunda ettaka ery’empewo.

ENKAAYANA KU TTAKA LY’OMUTAKA NELSON SSEBUGWAWO

Guno si gwe mulundi ogusoose omukulu Luswata okufuna obuzibu mu by’ettaka.

Azze abeera mu misango egy’enjawulo egikwata ku kutunda poloti ku ttaka lya kitaawe era ensonga emirundi mingi ziggweera ku poliisi nga bakaayana nabo bamuwawaabidde.

Omutaka Ssebugwawo naye we yafiira ng’alina abantu bangi bagugulana nabo ku ttaka lye abamu ng’abavunaana kulyesenzaako mu bukyamu.

Famire eno kumpi ye nnannyini ttaka ly’e Nkumba lyonna okuli n’ebyalo ebirala nga Bunono ne Katabi okutuukira ddala e Kasenyi ku mwalo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab1 220x290

Gavumenti efulumizza ebiragiro...

Gavumenti efulumizza ebiragiro ebipya ng'emizannyo gizzeemu

Kat1 220x290

‘Teri kukyusa’

‘Teri kukyusa’

Tip1 220x290

Admin FC eyagala Big League

Admin FC eyagala Big League

Byekwaso 220x290

Byekwaso w'emifumbi ateekateeka...

KAFULU wa Uganda mu muzannyo gw’okusiba emifumbi ali mu keetalo nga yeetegekera okugattibwa mu bufumbo obutukuvu...

Tip1 220x290

Omusajja anzigyako abaana

Omusajja anzigyako abaana