TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abooluganda n'abatuuze batabukidde omugagga wa Ken Group lwa kwezza ttaka: Abeesimattuddeko n'adduka

Abooluganda n'abatuuze batabukidde omugagga wa Ken Group lwa kwezza ttaka: Abeesimattuddeko n'adduka

By Paddy Bukenya

Added 14th August 2017

Abooluganda batabukidde nnannyini kkampuni ya KEN Group lwa kwefunza bintu bya jjajaabwe n'atuuka n'okubagaana okuziika ku kiggya ky'ekika.

Gaana2 703x422

Abatuuze mu lukiiko lwekyalo nga batabuse olwomugagga wa KEN Group. EBIFAANANYI BYA PADDY BUKENYA

Kigongo Edward Nakabaale, nnannyini kkampuni y'ebitabo eya KEN Group yakiguddeko abatuuze b'e Lukonge mu ggombolola y'e Nkozi mu Mpigi bwe beegasse n'abooluganda lwe ne bamutabukira nga bamulanga okweyisa nga ensolo ate nga muntu.

Mu lukiiko lwe batuuzizza e Nabusanke balumirizza Nakabaale okwefunza ebyobugagga bya jjajaabwe bye yabalekera okuli ettaka lya 'square mile' nnamba kw'asengula abatuuze nga tabaliyiridde ate abalala n'abasasula obusente obutagya mu bibanja byabwe n'abaggyako endagaano zaabwe.

mugagga akabaale ngannyonnyolaOmugagga Nakabaale ng'annyonnyola

Aboluganda lwe nga bakulembeddwamu kitaawe omuto Chrispo Ssewagudde Luzige bamulumirizza okubagobesanga emirambo gya famire n'okubagaana okuyingira mu nnyumba ya jjajaabwe Yowana Kiwekete gye yazimbyewo empya eya kalina nga bagamba nti tebagirinaako mugabo kubanga jjajaabwe teyagirekaawo so nga baasonda ensimbi mu kugizimba.

Bategezeza nti takyabakkiriza kuyingiza mulambo gwonna mu nnyumba eno ey'okubutaka era  bwategeera nti bafiiriddwa owooluganda yenna ng'asibawo ekikomera.

booluganda lwomugagga wa  roup nga balaga ekiggya kyabwe akabaale gye yabagaana okuziika abantu baabweAbooluganda lw'omugagga wa KEN Group nga balaga ekiggya kyabwe Nakabaale gye yabagaana okuziika abantu baabwe

Abatuuze bamulumirizza n'okuggala ekkubo eribatwala ku luzzi lwe bakimako amazzi.

Omugagga Nakabaale ategezeza nti ekimuleetera okugaana abooluganda okuziika ewa jjajaabwe lwa kuba  tebamuwa kitiibwa gattako okumubbako ebintu bye eby'ewaka okuli esowaani n'amaseffuliya kyokka yeegaanye eby'okusengula abantu nti bonna amala kukkiriziganya nabo oluvannyuma lw'okubaliyirira.

kikomera kyennyumba yokubutaka akabaale we yagoba abooluganda lweEkikomera ky'ennyumba y'okubutaka Nakabaale we yagoba abooluganda lwe

Wabula olukiiko lukyankalanye Nnamukadde wemyaka 70, Margret Kiryowa bw'avuddeyo n'ategeza nga Nakabaale bwe yamutwalako ekibanja kye ekya yiika 4 n'amuliyirira emitwalo 40,000/- zokka!

Kino kitabudde ne bagaana Nakabaale okwewozaako bw'atyo n'adduka.

namukadde iryowa omugagga akabaale gwe yatwalako ekibanja namuwa emitwalo 40000 ngannyonnyolaNnamukadde Kiryowa omugagga Nakabaale gwe yatwalako ekibanja n'amuwa emitwalo 40,000/- ng'annyonnyola

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sak1 220x290

Gavumenti ekakasizza enkolagana...

Gavumenti ekakasizza enkolagana yaayo n'ekitongole kya SASAKAWA okutumbula eby'obulimi

Kig13 220x290

Robert Ssekweyama alangiriddwa...

Robert Ssekweyama alangiriddwa ku butendesi bwa Kiraabu ya Doves

Ras13 220x290

Ekyabadde e Bugembe nga Bebe Cool...

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe Bebe Cool n'abakungu ba ministry ya Health gye baamaze olunaku lulamba nga...

Sat13 220x290

Pass PLE addamu mu February

Pass PLE addamu mu February

Soz1 220x290

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba...

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba P7 ebyetaaga okukolako