TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abeepankira ku ttaka lyange nja kubakuba amasasi - Kasirye Ggwanga

Abeepankira ku ttaka lyange nja kubakuba amasasi - Kasirye Ggwanga

By Joseph Mutebi

Added 15th August 2017

MUNNAMAGYE Brig. Kasirye Ggwanga alabudde abeesimbye mu ttaka lye nti yayokezza ttulakita ekiddako kubakuba masasi.

Maga 703x422

Ttulakita basajja ba Kasirye Ggwanga gye baayokezza ku ttaka ly’agamba nti lirye. Mu katono, Brig. Kasiye Ggwanga

‘Ekyo kye mwalabyeko kikyali kituuza, oyo yenna anaagezaako okuzannyira ku ttaka lyange nja kumukuba masasi,’ Kasirye Ggwanga bwe yannyonnyodde ng’asinziira mu maka ge e Makindye mu Kizungu eggulo.

Yaweze nkolokooto nti ye tajja kuzannyisa babbi ba ttaka kuba buli kye yeetaaga okutaasa ettaka lye akirina ng’ekisinga obukulu y’emmundu.

Yagasseeko nti, oyo alowooza nti by’ayogera bya kusaaga, ajja kuloza ku bukambwe bwayo.

‘Bwe twali tuva mu nsiko emmundu twajja nazo, eyange amasasi gakyalimu, nkyamanyi okukwata ku mmanduso, ayagala okutegeera ategeere, muve ku ttaka lyange’, Kasirye Ggwanga bwe yalabudde.

Ettaka lino lisangibwa Lubowa ku lw’e Ntebe era olutalo luno lwabaddewo ku Lwamukaaga oluyise.

Yagambye nti yabadde waka omuntu n’amukubira essimu nti waliwo abasenda ettaka lye era bye yabadde akola yabivuddeko n’abaka emmundu ye ne byolera.

Omusajja eyabadde asenda yamulengeredde eri n’abuuka ku ttulakita n’adduka!

Mu busungu, Kasirye Ggwanga yawandagazza amaasi mu bbanga abaabadde okumpi ne babuna emiwabo, kwe kulagira abasajja be ttulakita ne bagiyiira amafuta oluvannyuma ne bakiteekera omuliro nga naye bw’agisasira amasasi.

Yagambye nti omuntu yennyini ayagala okumunyaga ettaka lye tamumanyi naye awulira nti waliwo Abalangira babiri abalyesimbyemu n’alabula nti bano bwe bataaliveeko, bawunya mbugo kubanga okubakuba amasasi tekimukaluubirira ng’alwanirira kikye.

“Nze kati ndi mu maka gange ngumbye nga ngo nnindirira muntu ajje anehhange ku by’ettaka lino alabe ekiddirira,’ bwatyo bwe yalabudde kyokka n’agattako nti bwe wabaawo omuntu yenna alina ekyapa ku ttaka lino, akireete kubanga ye ekyapa kye akirina kiri mu nju.

ANNYONNYOLA ENGERI GYE YAFUNAMU ETTAKA LINO

Kasirye Ggwanga agamba nti mukyala we baayawukana kati ebbanga ddene kyokka gye buvuddeko, omukyala ono yakomawo okuva mu Amerika gy’abeera n’abaana baabwe n’agula ettaka lino n’alimukwasa okulikuuma.

Alikuumye okumala ekiseera kino kyonna era balina n’ekyapa, wabula nga yakkiriza abantu ab’omuliraano balimireko kyokka yalabidde awo ng’abantu baleese ttulakita batandika okusenda kye yagambye nti tayinza kukikkiriza.

OMUKAZI OMULALA ALIKAAYANIRA AVUDDEYO

Wabula Kasirye Ggwanga abadde akyezooba n’abagezaako okusenda ettaka lye, ate ne wavaayo omukazi omulala agamba nti ettaka lino lirye bwoya era alina ebiwandiiko byonna ebirikwatako.

Okukakasa bino, Lucy Opoka yaggyeeyo ekyapa ekiraga nti ettaka lino lirye.

Opoka agamba nti Kasirye Ggwanga n’abantu abalala abaabadde bazze okusenda ettaka lino tabamanyi kubanga ye yaligula mu 2007.

Opoka yagambye nti naye yabyekangidde ku TV ng’alaba ettaka lye basenda lirye ate nga ne Kasirye Ggwanga agamba nti lirye!

Agamba nti yakitegeddeko nti ttulakita eyayokeddwa ya Denis Waakabi nti kyokka bwe yamutuukiridde okumubuuza oba amanyi enkaayana ku ttaka lino, Waakabi yamutegeezezza nti ye bwe bamuwa omulimu tabuuza bya nkaayana.

Wabula Ponsiano Lubega akuuma ettaka lya Opoka agamba nti kituufu Kasirye Ggwanga alina ettaka mu kitundu kino naye ttulakita we yabadde esenda si we wawe.

POLIISI EBIYINGIDDEMU

Wabula omwogezi wa poliisi mu Uganda, Asan Kasingye yategeezezza nti baayise Kasirye Ggwanga yennyonnyoleko ku byabaddewo era bagguddewo omusango gw’okwokya ttulakita ku fayiro nnamba SD 27/12/08/2017.

Nnannyini ttulakita eyayokeddwa, naye yawaabye ku poliisi era ayagala ttulakita ye eriyibwe.

Kyokka Kasirye Ggwanga bwe yabuuziddwa ekinaabaawo ssinga poliisi enejja okumukwata, n’agamba nti Brigadier wamagye takwatibwa poliisi akwatibwa magye.

EMIVUYO GY’ETTAKA

Pulezidenti Museveni yawalirizibwa okussaawo akakiiko kabuulirize mu mivuyo gy’ettaka omuli okusengula abantu, okubba ettaka lya gavumenti n’ebirala era abantu bangi omuli n’abakungu mu gavumenti bazuuliddwa nga baliko ettaka ddene lye bazze beekomya.

Kasirye Ggwanga yennyini naye abadde n’enkaayana z’ettaka nga mulimu ne Munnakenya eyali akaayanira ennyumba ye ey’e Makindye ng’agamba nti yagigula. Era waliwo Kasirye Ggwanga lwe yeenyigira mu nkaayana ezaalimu omugagga wa nnannyini bbeekeeri ya Tuweereza.

AMAGYE GAMUNOONYEREZAAKO

Lt. Col. Deo Akiiki, amyuka omwogezi w’eggye lya UPDF yategeezezza nti baawulidde eby’okwokebwa kwa ttulakita egambibwa nti Brig. Kasirye Ggwanga ye yagyokezza era ne batuukawo ne bagiraba.

Mu kiseera kino ekitongole kya UPDF ekikola ku by’okunoonyereza kibakanye n’omulimu gw’okunoonyereza ku nsonga eno.

Yagambye nti waliwo n’ebitongole ebirala ebiri mu kunoonyereza era bwe banaamaliriza, bajja kusalawo ekiddako.

Akiiki yagambye nti abantu tebateekeddwa kuteeka bikolwa bikyamu bya bantu ba ssekinoomu ku ggye lyonna, kuba eggye lya UPDF limanyiddwa nti lya mirembe era terikkiririza mu bikolwa bimenya mateeka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...