TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kayihura ayimirizza akulira bambega ba Poliisi e Nansana

Kayihura ayimirizza akulira bambega ba Poliisi e Nansana

By peter ssaava

Added 15th August 2017

OMUDUUMIZI wa poliisi mu ggwanga, Gen Kale Kayihura ayimirizza akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi y'e Nansana oluvannyuma lw’abatuuze okumuloopera by’akola.

Igp2 703x422

Okuva ku kkono, Gen. Kayihura, amuddiridde ye muduumizi wa poliisi e Nansana, Benard Katwalo n'akulira ebikwekweto mu Nansana Brian Katulumayo nga balambula Nansana. Mu katono ye Joel Ntabu eyagobeddwa

Joel Ntabu y'abadde akola ku kunoonyereza ku buzzi bw'emisango ku poliisi y'e Nansana era Kayihura okulangirira nga bw'amuyimirizza yasinzidde mu lukiiko lw’ebyokwerinda lwe yakubye ku Royal Gardens e Nansana-Kabumbi ku Ssande.

Abatuuze baamulopedde nti Ntabu abayisa bubi nnyo ku poliisi nga bwe babaako bye bamugambye okubakolera abasaba ssente nga tannaba kubayamba.

Bano baategezezza Kayihura nti abasibe abamu Ntabu asooka kubasaba ssente alyoke abakolere ku mpapula z’okweyimirirwa ku kakalu ka poliisi (police bond), ekintu ekimenya amateeka.

Kyihura okutuuka okumanya bino yasoose kubuuza batuuze ku ngeri poliisi gy'ekuttemu ensonga zaabwe mu kaweefube okumalawo ettemu mu bitundu by'e Nansana eribadde likudde ejjembe era wano abatuuze we baamutegeerezza ku bikolwa bya Ntabu.

Kayihura yasinzidde mu lukiiko luno n'ategeeza nti poliisi tekkirizibwa kukwata ku ssente nga teziyise mu ggwanika kuba lye likola ku nsonga zino.

“Omuserikale yenna akusaba ssente oyo aba mubbi era bwe tumutegeera tumukolako ng’amateeka bwe galagira kuba omuserikale talina lukusa kukwata wadde okusaba ssente,” Kayihura bwe yannyonnyodde abatuuze.

Gen. Kayihura yayongeddeko nti k'amaze okusiisira okumpi n'e Nansana, eby’obubbi mu b'ofiisa ba poliisi byonna byaweddewo era oyo yenna anaawatibwa waakukangavvulwa ng’amateeka ga poliisi bwe galagira.

Yakuutidde abaserikale be okuba n’empisa nga bakola emirimu gyabwe n'agamba nti olw'obukulu bw'ensonga eyo, yantozeewo ofiisi kaliisoliiso wa Poliisi mu Nansana, agaenda okulondoolanga abo bonna abatalina mpisa bakolebweko.

“Nansana police station tugezezaako okugigogola okulaba nga tewali muserikale yenna asiiwuuka. Twataddemu n'abaserikale okuva ku kitebe kya PSU nga wano nsaba RPC, DPC ne OC station okukola omulimu ogw’amaanyi okulaba nga mugogola abo bonna abasiiwuuka empisa,”Kayihura bwe yayongeddeko.

Olukiiko olwetabiddwaamu n'abatwala poliisi zonna eziri mu division y'e Nansana lwakomekkerezeddwa ku ssaawa 3 ez’ekiro.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono