TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Baabano abalongo abaafumbirwa abooluganda ne babalema okwawula: Abaana baabwe nabo waliwo lwe balemwa okubaawula!

Baabano abalongo abaafumbirwa abooluganda ne babalema okwawula: Abaana baabwe nabo waliwo lwe balemwa okubaawula!

By Musasi wa Bukedde

Added 15th August 2017

“Babbaffe oluusi baatutabulanga olw’okufaanagana. Wabula kino tekyatukwasanga buggya kuba twakimanya nti obuzibu tujja kubufuna anti ne mu buto abantu baatutabulanga”, bwe batyo abalongo Fatuma Babirye ne Aisha Nakato ab’emyaka 81 bwe batandika okunyumya ku bufumbo bwabwe bwe baalimu olw’okufumbirwa mu luggya olumu.

Tabula1 703x422

Abalongo, Babirye ku kkono ne Nakato .

EKIVVULU ky’abalongo (Kampala Twins Festival) ekitegekebwa Vision Group n’olupapula lwa Sunday Vision eky’omulundi ogwokuna kyengedde era ku Sunday ejja nga August 20, 2017 kinaatokota si kisaanikire ku Kyadondo Rugby Grounds mu Kampala ng’abalongo babinuka n’okuwangula ebirabo. Kissiddwaamu ssente Palamenti ya Uganda, Movit Products Ltd ne Uganda Tourism Board.

KU baneetaba mu kivvulu kino mwe muli n’abalongo Fatuma Babirye ne Aisha Nakato ab’emyaka 81 abaafumbirwa abasajja abooluganda. Bano Omusasi waffe PROSSIE KALULE yabasisinkanye ne bamunyumiza bwe baasisinkana babbaabwe n’engeri gye balemwanaga oluusi okubaawula.

“Babbaffe oluusi baatutabulanga olw’okufaanagana. Wabula kino tekyatukwasanga buggya kuba twakimanya nti obuzibu tujja kubufuna anti ne mu buto abantu baatutabulanga”, bwe batyo abalongo Fatuma Babirye ne Aisha Nakato ab’emyaka 81 bwe batandika okunyumya ku bufumbo bwabwe bwe baalimu olw’okufumbirwa mu luggya olumu.

Abalongo bano okufumbirwa mu luggya olumu kyajja oluvannyuma lwa Fatuma Babirye omutuuze w’e Mbuya okusooka okufumbiriganwa ne Badru Muwanga.

Ng’ovudde ku kufumbirwa mu luggya olumu, mwannyinaabwe Sabiiti Kulubya (kazannyikirizi wa Kabaka) ye yasooka okuwasa omuwala azaalibwa ne babbaabwe.

Mzee Kulubya agamba nti, bwe yaganza Hamidah Muzungu mu myaka gy’e 70 baakwatagana kuba yali mukyala wa mpisa, era nga babeera mu maka gaabwe e Mbuya ku kyuma kya sabbuuni bannyina gye baakyalanga nga bava e Nakawa.

Mu bantu abalala abaabakyaliranga mwe mwali ne bakoddomi be abaali bamuwadde Muzungu, olw’okuba okuva obuto abalongo beegombanga Abazungu, mukoddomi we okukwana Babirye kwali kuyisa mukka mu kisero.

BAZE NAMUSISINKANA WA MWANNYINAZE - BABIRYE

“Twali tubeera ne Jjaja azaala taata, Suzaana Mpiima e Nakawa gye twavanga okukyalira mwannyinaffe Kulubya eyali afunye amaka e Mbuya.

Mu biseera ebyo Badru Muwanga (baze) yali akola Muyenga Tank Hill ne muto we Yusuf Kironde era bwe bajjanga okulaba mwannyinaabwe Muzungu nga tubeera ffenna ekiseera kye tubeera ku bugenyi.

Nga wayise ebbanga nagenda okulaba nga Muwanga ansaba obufumbo era twategeeragana nga ne mwannyinaffe awagidde ekiteeso ekyali kizze mu ddiiro kuba yalaba nga ddala twali mu mukwano.

Enteekateeka zaakolebwa ne tugenda mu muzikiti gwa Nassib ne batuwoowa ne tutandika okubeera mu maka gaffe e Mbuya.

Ekiseera kye naleka omulongo wange Nakato e Nakawa tekyatugaana kwekyalira buli lwe twayagalanga ate nga ne muto wa baze naye yasigala atukyalira kuba baali baagalana nnyo ne baze.

Oluvannyuma mulamu wange Kironde yasalawo okusimba amakanda mu maka ga mukulu we olwo n’atandika okwekaliriza Nakato buli mulundi lwe yajjanga.

Ffenna twalaba nga ddala Kironde ayagala nnyo Nakato kuba ebbanga lye twali tumulabidde teyalina mukyala gwe yali awasizza.

Twayogeranya ne Nakato ne tumusikiriza okufumbirwa ‘Omuzungu’ ng’ebiseera ebyo bwe twali tubayita kuba baali bacootala.

Olw’omukwano ogwaliwo, baawoowebwa ne bakola amaka e Banda n’abaana ne bazaala,’’ Babirye bw’anyumya.

Omu ku baana Fatuma Ssekitto ow’e Bbanda yagambye nti, “Olumu kitaawe omuto Badru Muwanga yakomawo awaka nga nnyina omulongo Nakato avudde e Banda okujja okukyala, n’amusanga ku lubalaza kyokka teyamanya nti yali anyumya na mugenyi yalowooza nti mukazi we ye yali amwanirizza.

 mulongo akato ne bba ironde amuddiridde ate ku ddyo ye uwanga bba wa abirye bwe baali ku mukolo gwokutikkira omu ku baana baabwe Omulongo Nakato ne bba Kironde (amuddiridde), ate ku ddyo ye Muwanga bba wa Babirye bwe baali ku mukolo gw’okutikkira omu ku baana baabwe

 

Olulala taata yakuba essimu awaka maama Nakato n’agikwata kyokka ky’amubuukako okumalayo emboozi nga tayawudde nti yali ayogera na Mulongo mulala muganda wa mukyala we,” Ssekitto bwe yanyumizza ku ngeri ba nnyaabwe gye baatabulangamu ba bakitaabwe.

 

‘NAVAAKO AWAKA NE NKOMAWO NGA BAMAAMA SIBAAWULA’

Omu ku bawala baabwe, Aziiza Nalumansi ng’ono azaalibwa Babirye yagambye nti yazaalibwa Mbuya kyokka yalwawo okwawula nnyina ku mulongo we Nakato.

Anyumya nti, yava awaka ku myaka musanvu n’atandika okubeera ne ssenga we kyokka agenda okukomawo nga tasobola kwawula maama we mutuufu.

Yayongeddeko nti, wadde yali amaze ebbanga ng’akomyewo awaka era n’abeera ne nnyina, bwe baayambalanga ebifaanagana ng’asooka kubeetegereza nkaliriza okusobola okubaawula.

“Singa omuntu akyala awaka w’omu ku bamaama n’abuuza nnannyini mu ayinza okuvaawo ng’obubaka bw’abadde aleese abuwadde mulala.

Okumanya bamaama baafaanagana, ssinga okubira omu essimu omulala aliwo n’agikwata oyinza okukkakkana nga gw’obadde ogeya akutegedde kuba amaloboozi gaabwe nago gafaanagana,” Nalumansi bwe yannyonnyodde.

OKUSOOMOOZEBWA

  • Olw’okuba abalongo baafumbirwa wamu, abaana baabwe baalwalanga mu budde bwe bumu n’endwadde ze zimu.
  • Babbaabwe balwawo okusalawo ku nsonga nga ssekinnoomu nga basooka kwebuuza ku kiyinza okukolebwa ku nsonga ebeera eguddewo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Seb1 220x290

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde...

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde 15

Gab1 220x290

Omutaka Gabunga awummuzza basajja...

Omutaka Gabunga awummuzza basajja be

Pip1 220x290

Aba People Power bongedde okwenyweza...

Aba People Power bongedde okwenyweza

Lat1 220x290

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu...

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu eggere

Ch16 220x290

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana...

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana ne Evans