TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni alamaze e Kiwamirembe n’abawa obukadde 100

Museveni alamaze e Kiwamirembe n’abawa obukadde 100

By Rogers Kibirige

Added 16th August 2017

PULEZIDENTI Yoweri Kaguta Museveni alamaze e Kiwamirembe ne yeetondera Abafaaza n’ababiikira b’ekigo ky’e Lweza olw’emizinga gye baakubanga nga basinziira ku lusozi Kiwamirembe mu lutalo olwaleeta Gavumenti mu buyinza.

Pala 703x422

Ssentebe wa Wakiso, Bwanika (ku ddyo) ng’ayaniriza Museveni e Kiwamirembe. Emabega ye Margaret Zziwa ne Vicar wa Kampala, Charles Kasibante.

“Katonda yeebazibwe okutuwa obulamu n’eddembe, njagala okwetonda kubanga emizinga egyo egyatawaanya ab’ekigo eri wansi nange nali ngimanyiiko naye mu budde obwo tetwalina kyakukola, twalina okukozesa emizinga, kubanga abaateeka wano emizinga ndowooza Batanzania ate nange nali nabo.

Ate wali e Bwebajja we twakubira amagye g’omusajja waffe Muamar Gadhafi agaali gazze okuwagira Amin.

Noolwekyo, njagala okwetonda ku lw’abalwanyi abaatawaanya abantu abo kubanga balabika baatawaanya Abasosodooti n’ababiikira mu butamanya n’abantu ba Katonda abalala.

Ekirungi, olutalo olwo lwavaamu eddembe wadde lwalwawo naye ku nkomerero kati tulina eddembe,” Museveni bwe yategeezezza.

Okwetonda kwa Pulezidenti kwaddiridde Ssaabasumba w’essaza Ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga eyakuliddemu mmisa ng’Abakristu bajjukira amalinnya ga Biikira Maria mu Ggulu okutegeeza nga olusozi Kiwamirembe bwe luli olukulu ennyo mu ddiini y’Obukatoliki ate nga lwa byafaayo nnyo eri eggwanga lyonna.

Dr. Lwanga yagambye nti mu myaka gya 1970, olusozi luno lweyambisibwa okusimbako emizinga egyakubibwa mu kuwamba ekibuga Kampala.

Museveni yeebazizza Bannayuganda olw’okujjumbira enkola ya demokulasiya ne balonda Gavumenti ye esobola okunyweza eddembe buli luvannyuma lwa myaka etaano era n’awa ekyokulabirako ky’okudduka emisinde gy’embiro egy’okukwata akati ke yagambye nti bannansi bakakutte bulungi.

Museveni yawadde abakulira ekifo kino obukadde 100 okukikulaakulanya.

Obukadde 20 yabubawadde mu kkaasi ate 80 n’asuubiza okuzitikka Margaret Zziwa eyamubuulidde amakulu g’ekifo kino.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...