TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Maama ayiiridde abaana be babiri amafuta n’abakumako omuliro

Maama ayiiridde abaana be babiri amafuta n’abakumako omuliro

By Musasi wa Bukedde

Added 16th August 2017

OMUKAZI ayiiridde abaana be babiri amafuta n’abakumako omuliro ne batwalibwa mu ddwaaliro nga bataaawa, olwa bba obutamulekera ssente za ka mmeeza.

Paba 703x422

Abaana abayokeddwa.

Shirat Namatovu ,28 ow’omu Koona Zooni e Kawempe yayiiridde mutabani we Milrez Okwengera 3, ne muwala we Swabulah Agutu 4, amafuta n’abakumako omuliro ng’obusungu bwavudde ku bba Benard Wandera obutamulekera ssente za ka mmeeza ez’okugula emmere.

Muliraanwa we, John Mugerwa yagambye nti yawulidde abaana nga bakaaba n’akokona oluggi kyokka omukyala n’agaana okuggulawo kwe kusamba oluggi n’asanga abaana nga bakumiddwako omuliro ng’engoye n’ebimu ku bitundu by’omubiri nga biyidde.

Yakubidde poliisi y’e Kawempe eyazze n’ebatwala mu ddwaaliro ate maama waabwe ne bamutwala mu kkomera.

Omukazi yalaajanye nga poliisi emutwala nti bba abadde amulekera 5,000/- buli lunaku ku luno teyamulekedde wadde ennusu nga talina kya kuliisa baana era mu busungu nga bamukaabirira kwe kubakumako omuliro.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip2 220x290

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu...

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu ggiya

Set1 220x290

Museveni awabudde ku nteekateeka...

Museveni awabudde ku nteekateeka y’ettaka eneegaggawaza Bannayuganda

Tip2 220x290

Abbye abaana babiri n’abatwalira...

Abbye abaana babiri n’abatwalira muganzi we

Top2 220x290

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso...

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso e South Africa annyonnyodde

Nem1 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okkozesaamu empirivuma okulongoosa omutima n'okugumya ebinywa...