TOP
  • Home
  • Ono ye kampala
  • KCCA ekendeezezza ku masannyalaze ga UMEME n’edda ku sola: 'Tubadde tusaasaanya obukadde 200 buli mwezi'

KCCA ekendeezezza ku masannyalaze ga UMEME n’edda ku sola: 'Tubadde tusaasaanya obukadde 200 buli mwezi'

By Hannington Nkalubo

Added 16th August 2017

KCCA eyongedde okubunyisa ebitaala by'amaanyi g'enjuba ku nguudo n'eva ku bibadde bikozesa amasannyalaze ga UMEME nga bagamba nti babadde basaasaanya ssente nnyingi okugasasulira.

Kcca 703x422

Ebitaala ebiri ku luguudo lw’oku Bahai. Mu katono, Bayinginiya nga balaga Jennifer Musisi ebitaala bye batandise okuteekayo.

KCCA eragirizza ebitaala bya ‘Sola’ 750 ebitandise okussibwa ku nguudo era mu bbanga lya myezi ebiri okutuuka ku kivvulu kyayo ekya Kampala City Festival ogutundutundu gwa Kampala gugenda kuba gussiddwa ku nkola ya ‘sola’ era nga gaaka.

Mu ntegeka empya eyayisiddwa, buli luguudo olukolebwa kati lugenda kussibwako mataala ga ‘sola’ .

Ku mataala KCCA ereeteddeko kamera ezigenda okuyungibwa ku buli kikondo kya ttaala okuketta abamenyi b’amateeka mu Kampala n’okwongera okuyamba ku poliisi okukwasisa amateeka.

Dayirekita wa Kampala Jennifer Musisi Ssemakula omulimu agukwasizza kkampuni bbiri okuli; eya Trans African Supply Services Ltd ne Holly International Ltd .

Amataala gonna gatuuse era omulimu gwatandise dda okukolebwa.

ENKOLA Y’EBITAALA

Okusima kwaggwa n’okuyiwamu enkokoto mu kinnya. Enguudo okutandikira ku Kampala Road, Jinja Road , Yusuf Lule Road , Makerere Hill Road, Wandegeya, enguudo zonna eziyita mu Kololo ne Nakasero.

Enguudo ezikoleddwa mu Kawempe Lubaga ne Nakawa ssaako ppaaka za takisi n’obumu ku butale bwa KCCA naddala Wandegeya zimaliriziddwa okuzimbibwa.

Enguudo zonna zisimiddwa era abamu ku bannakampala ze babadde beebuuza ebigendererwa by’okuzisima bagenda kuzissaamu mataala ga sola.

Abakozi ba kkampuni ezaakwasiddwa omulimu basimye ebinnya bibiri .

Ekisooka bakissaamu mmanda agakolagana ne ‘Panel’ ewanikibwa waggulu okukola amasannyalaze ettaala n’eyaka.

SSENTE ezisasaanyiddwa Omwogezi wa KCCA Peter Kaujju, yagambye nti babadde [ KCCA] bakozesa obukadde 200 buli mwezi okusasulira amasannyalaze ga UMEME ku bitaala by’oku nguudo, mu butale ne ppaaka buli mwezi.

Yagambye nti ensimbi zonna bagenda kuzissa ku bintu eby’enjawulo ate ng’amataala ago tegavaako wadde okwekangamu okwawukana ku masannyalaze ga bulijjo [ UMEME]. Yagambye nti wadde ‘sola’ kitaala kya bbeeyi naye kiyamba. “Buli kimu kimalawo obukadde munaana okukigula n’okukisibayo.

EKIRWISIZZA PULOJETI

Pulojekiti y’okussa amataala ga sola ku nguudo eruddewo nnyo.

Gavumenti yawa KCCA ssente z’amataala gano egasseeyo nga Paapa ejja era abamu baali bagakazizzaako mataala ga Paapa kyokka kati emyaka gigenda mu ebiri nga tegasibwangayo.

Paapa yajja mu ggwanga nga November, 28, 2015 era Gavumenti yali esuubira nti nga paapa tannaba kulinnya mu ggwanga, enguudo zonna zigenda kuba zaaka kyokka tekyasoboka.

Peter Kaujju yagambye nti pulojekiti y’amataala ga sola kituufu eruddewo nnyo kyokka kyava ku kkampuni gye basooka okukwasa omulimu.

“Twawa kkampuni ya Phillips esseewo amataala gano kubanga emanyiddwa nti erina erinnya mu bintu by’amasannyalaze. Yagezaako okulagiriza ebikozesebwa kyokka tebyali bya mutindo. Byonna bye yali ereese twabigaana ne tugiragira ereete ebirala kyokka wakati mu kavuyo akaali kasoose okukolebwa ng’emenye obukwakkulizo mu ndagaano ne tugisazaamu” Kaujju bwe yagambye.

Yategeezezza nti baagiwalirizza okusasula ssente zonna ze baali bagiwadde eziwera obuwumbi busatu kubanga endagaano bwe yali egamba.

SSENTE;

Pulojekiti yonna bagibaliridde okumalawo obuwumbi musanvu. Yagambye nti ekitaala kimu kigenda kumalawo obukadde munaana.

Amataala ga sola bagabaliridde nga mu myaka 15 tegagenda kuba na kizibu era ku bumu ku bukwakkulizo kkampuni gye zibawadde, amataala kuwangala myaka mingi.

Kaujju yagambye nti amataala baagatandika dda ku nguudo zino. Twagassa ku luguudo lwa Kabakanjagala, enguudo z’e Kibuli, e Kawempe n’akatale ka USAFI.

ABA UMEME BOOGEDDE

Omwogezi wa umeme Stephen Illongole yategeezezza nti amasannyalaze g’ebitaala by’oku nguudo ge gamu ku ge basinga okusasuza ssente eza wansi era KCCA bw’egamba nti gabadde ku buseere eba tetunuddeeko ku miwendo mirala.

Yagambye nti ebisale by’amasannyalaze agakozesa ebirala buli yuniti bagisasuza 150/- n’okukka wansi okusinziira ku nkozesa bw’efaanana.

Yagambye nti KCCA esaana ennyonnyole abantu nti bbeeyi si yabagobye ku UMEME wabula etuusizza kiseera kyayo okukyusa okuva ku UMEME edde ku ‘sola’.

Yagambye nti okugenda kwa KCCA tekigenda kugikosa kubanga abantu abalina obwetaavu ku masannyalaze bangi nnyo ate nga kimanyiddwa nti amasannyalaze agali mu ggwanga tegamala bakwongera okuzimba amabibiro amalala.

EBIBONEREZO;

Ebitaala byonna KCCA byeragirizza birina enkola ey’omulembe egenda okubikuuma nga birondoolwa kamera ezibiyungiddwaako.

Kamera zino zigenda kuyungibwa ku za poliisi mu kibuga nga tezikoma ku kulondoola bitaala byokka naye n’abamenyi b’amateeka ku nguudo ezo naddala abategeka okwekalakaasa nga poliisi tebakkirizza.

Omuntu okukwatibwa ng’asumulula ekitaala agenda kuggalirwa ebbanga lya myaka ebiri oba okusasula engassi ekubisa mu ssente z’ekitaala emirundi ena.

Ekitaala kimu kibalirirwa mu bukadde munaana era okukikubisaamu emirundi ena, akwatibwa aba agenda kusasula engassi ya bukadde 32 oba omulamuzi ayinza okukuwa ebibonerezo byombi.

Nnannyini dduuka akwatibwa ng’aguze ekitaala kino aggyibwako layisinsi era taddamu kukkirizibwa kukolera mu Kampala okuggyako ng’akyusizza omulimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...