TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kadaga ayambalidde Gavt' ku kwonoona obutonde bw'ensi.

Kadaga ayambalidde Gavt' ku kwonoona obutonde bw'ensi.

By Muwanga Kakooza

Added 17th August 2017

SIPIIKA Rebecca Kadaga ayambalidde minisitule y’obutonde bw’ensi n’alumiriza nti tekoze kimala kussaawo kaweefube ow’enjawulo okusimba emiti n’okukuuma obutonde.

Speaker703422 703x422

Kadaga

Yabadde atongoza pulojekiti ya ‘Rotary Mission Green Project’ egenderera okutumbula obutonde bw’ensi  ku kkomera e Luzira   mu Kampala n’agamba nti minisitule  yandibadde ku mwanjo mu kusimba emiti n’okulwanirira obutonde kyetakoze bulungi.

Kadaga yategeezezza nti minisitule tesaanidde kuba mperekeze mu kukuuma obutonde wabula erina okuba nga y’ekulembera. N’awa eky’okulabirako nti palamenti yayisa etteeka ly’ebibira eriragira okussaawo  ensawo y’okukuuma obutonde bw’ensi kyokka nga tessibwangawo.

Dayirekita w’obutonde bw’ensi mu minisitule eno ,Paul Mafabi,yasuubizza nga minisitule bw’egenda okugaba endokwa z’ emiti akakadde kamu. Kyokka  Kadaga n’agamba nti endokwa akakadde kamu kokka ntono  n’agamba nti Ethiopia esimba emiti obukadde 12 buli mwaka  era Uganda yetaaga kawefube ow’enjawulo ng’ono.

Yategeezezza nti obujjulizi webuli nti ekyeya kyeyongera mu nsi olw’okutema emiti.

" Emmotoka ezitisse enku n’ensawo z’amanda ezirabwa ku nguudo kabonero akalaga okwonoona kw’obutonde bw’ensi," Kadaga bwe yannyonnyodde.

Gavana w’ekibiina kya Rotary , Keneth Mugisha, yagambye nti atambulira ku mulamwa gwa kukuuma butonde bwansi n’agamba nti baakwatagana n’ekitongole ky’amakomera okutuukiriza kino kuba kye kimu ku bisinga okukozesa enku.

Ekibiina kya Rotary kino kyagala kusimba emiti obukadde 23.

Omuduumizi w’amakomera, Dr. John Byabasaija, yategeezezza nti amakkomera  mu Uganda galimu abasibe 55,600  nga beeyambisa ttani z’enku emitwalo munaana okubafumbira emmere.

Ekitongole kyetaaga obuwumbi bubiri okufuna sigiri ezikekkereza enku.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....