TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Raila Odinga addukidde mu kkooti ku by’akalulu

Raila Odinga addukidde mu kkooti ku by’akalulu

By Musasi wa Bukedde

Added 17th August 2017

RAILA Odinga yeefukuludde n’addukira mu kkooti ensukkulumu okuwakanya obuwanguzi bwa Uhuru Kenyatta ku bwapulezidenti wa Kenya.

C111a580e9174d5997f3a6a40439e2b818 703x422

Raila Odinga ng'ayogerera mu lukung'aana lwa bannamawulire. Yagambye agenda mu kkooti kuwakanya byava mu kalulu

Okusooka yali agaanye okugenda mu kkooti okuwaaba wabula eggulo yasinzidde mu lukung'aana lw’abaamawulire n’ategeeza bw’asazeewo okutwala omusango mu kkooti ensukkulumu balage ensi yonna abakulembeze abaleeteddwa kompyuta.

Odinga yavuganyizza ku bwapulezidenti bwa Kenya ku tikiti y’omukago gwa NASA ng’attuka ne pulezidenti Uhuru eyajjidde ku mukago gwa Jubilee.

Uhuru yafunye obululu 8,203,290 (bye bitundu 54.27 ku buli 100) Odinga n’afuna 6,762,224.

Eggulo Odinga yagambye nti tebagenda kukkiriza Kenya kufuuka ekisaawe ky’omupiira eky’okuzannyiramu oba eggwanga ery’okuzannyiramu katemba w’ebyobufuzi.

Agamba nti ebivudde mu kulonda ebitali bitongole bingi ebyayingizibwa mu kompyuta z’akakiiko k’ebyokulonda kubanga empapula ezaaliko obululu tezaakubibwa bifaananyi kuzigatta ku bululu obwaweerezebwa.

Yagugumbudde abaatunuulira okulonda abaava mu nsi yonna nti baasuula obuvunaanyizibwa bwabwe okulondoola oba ebikoleddwa bituufu ne badda mu kukoma ku NASA ekkirize ebivudde mu kulonda nga n’ekyenkomeredde tekinnaba kufunibwa.

Yennyamidde olwa gavumenti ya Uhuru okutulugunya n’okutta abantu abaavuddeyo okulaga obutali bumativu bwabwe n’ebyavudde mu kulonda so nga baabadde bateeka mu nkola eddembe lyabwe eribaweebwa ssemateeka.

Odinga yagambye nti bajjukira ettemu erizze likolebwa ku bantu ab’enjawulo mu kulonda n’ebyo ebyakulembera omwali okutta Chris Msando eyali omukugu w’akakiiko ka IEBC gw’alumiriza nti baamutta ne bamuggyako omukono olwo ekinkumu kye aba jubilee ne bakikozesa okubba obululu.

Yategeezezza nti bagenda kukungubagira abantu baabwe abattibwa, okulangirira ebiseera eby’okusirika we kyetaagisa bakube ehhoma n’okukozesa engeri zonna ezooleka obutali bumativu bwe balina.

Yawadde ekyokulabirako nti mu Amerika waaliyo okwekalakaasa nga balangiridde Donald Trump era mu kiseera kino wakyaliyo okunoonyereza okukolebwa okuzuula oba ddala akalulu akaaleeta Trump mu buyinza tebaakakwatamu.

Yakiggumizza nti Bannakenya tebeetaaga kukozesa ffujjo okufuna eddembe wabula omukago gw’akulembera gwakukozesa amakubo gonna ageddembe okuwakanya ebikyamu ebikolebwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kt1 220x290

Poliisi ekoze ekikwekweto ku zi...

Poliisi ekoze ekikwekweto ku zi loogi n'egwa ku basinda omukwano

Cap1 220x290

AbaKulembeze mu kalungu batuuzizza...

AbaKulembeze mu kalungu batuuzizza olukiiko okutema empenda z'okulwanyisa COVID-19

Pop13 220x290

Poliisi etandise okunoonyereza...

Poliisi etandise okunoonyereza ku musirikale waayo eyakubye abaana be amasasi

Kafeera 220x290

Leero luno!

NG’ENSI eri ku bunkenke bw’ekirwadde kya Coronavirus, abamu ku Bannayuganda batandise okubiteekamu omuzannyo bo...

Gaali 220x290

Ono booda agiyita mmotoka?

ONO taata w’abaana ekiragiro kya Pulezidenti eky’emmotoka eza buyonjo okutikka abantu basatu yakifunye bulala....